Search Course
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa
Course Description
Omusomo guno gukozesebwa okuyamba ekkanisa okutuukiriza omulimu gwayo. Omusomo gukkaatiriza ekkanisa ey’omukitundu okubeera entabiro, okulaga nti enjiri gwe mulimu gw’Ekkanisa, n’okuba nti enjiri eyo erina okufuula ekkanisa kyeri.
What You'll Learn
Course Objectives
(1) Okunnyonnyola enjiri kyetegeeza olw’ekikula n’engeri ekkanisa gye yakolebwa
(2) Okwekenneenya enjigiriza enkulu ezenjiri
(3) Okutendeka abakkiriza mu nkola ezokubuulira enjiri eziri mu nkola
(4) Okutegeera obuvunaanyizibwa bwe kkanisa obw’obuyigirizwa
(5) Okutegeeza n’okunnyonnyola omulimu gw’obuyigirizwa
(6) Okuyiga enkola ezaddala ez’okukulembera ekibiina ekitono mu buyigirizwa
(7) Okuteekawo olujegere lwa masomo agajja okukozesebwa mu kuyigiriza abantu abapya abakyuse
Introduction
Ebinnyonnyola Omusomo
Omusomo guno gukozesebwa okuyamba ekkanisa okutuukiriza omulimu gwayo. Omusomo gukkaatiriza ekkanisa ey’omukitundu okubeera entabiro, okulaga nti enjiri gwe mulimu gw’Ekkanisa, n’okuba nti enjiri eyo erina okufuula ekkanisa kyeri. Nga ebikulu mu njiri binnyonnyolwa, omusomo guno gutereeza ensobi ez’enkola eziriwo kati ezitaleetera mwonoonyi kukyuka okwamazima n’okutambulira mu bulamu Obukristaayo. Bwe kityo, omuyizi ajja kuyigirizibwa okuzimba obuweereza bwe.
Amasomo ag’omusomo guno agasinga gasobola okusomesebwa nga emitwe emijjuvu eri ebibinja bya bantu eby’enjawulo. Ekyokulabirako, essomo lisobola okukozesebwa okuyigiriza enkola ey’okubuuliramu enjiri.
Mu musomo guno, abayizi bayiga engeri y’okufuulamu abalala abayigirizwa. Shepherds Global Classroom yawandiika nefulumya ekitabo ekiyigiriza abayigirizwa naddala nga kikozesebwa ku bakkiriza abapya. Ekitabo kino ekyessomo ly’obuyigirizwa, Okusimula Amasomo G'obuyigirizwa, wekiri okuwanula okuva ku mutimbagano gwa shepherdsglobal.org. Buli limu ku masomo 26 mu Okusimula Amasomo G'obuyigirizwa lirimu ebiruŋŋamya omusomesa ne byabayizi.
Ebigendererwa By’omusomo
(1) Okunnyonnyola enjiri kyetegeeza olw’ekikula n’engeri ekkanisa gye yakolebwa
(2) Okwekenneenya enjigiriza enkulu ezenjiri
(3) Okutendeka abakkiriza mu nkola ezokubuulira enjiri eziri mu nkola
(4) Okutegeera obuvunaanyizibwa bwe kkanisa obw’obuyigirizwa
(5) Okutegeeza n’okunnyonnyola omulimu gw’obuyigirizwa
(6) Okuyiga enkola ezaddala ez’okukulembera ekibiina ekitono mu buyigirizwa
(7) Okuteekawo olujegere lwa masomo agajja okukozesebwa mu kuyigiriza abantu abapya abakyuse
Ebinnyonnyola n’okulagirirwa ebyabakulembeze be bibibiina
Ebiwandiikiddwa eri abakulembeze be bibiina mwe biri okuyita mu mumusomo n’okulagirirwa okukwata ku bitundu ebyamasomo. Ennukuta zaabyo ziwunzikiddwa.
Ebibuuzo eby’okukubaganyaako ebirowoozo nebikolebwa mu kibiina biragibwa nakabonero ►. Ku bibuuzo ebyokukubaganyaako ebirowoozo, omukulembeze w’ekibiina alina okubuuza ekibuuzo ate aleke abayizi okukiddamu. Tekyetaagisa kibuuzo kuba nga kiddibwamu kyonna okukimalayo mu kukubaganya ebirowoozo. Ebiri mu ssomo mwe mujja okuva eby’okuddamu ebye kibuuzo. Singa omuyizi omu oyo aba nga yayanukula ebibuuzo okusooka, oba singa abayizi abamu baba nga teboogera, omukulembeze asobola okubuuza omuyizi omulala yenna ekibuuzo: “Mukasa, ekibuuzo kino wandikizzeemu otya?”
Buli ssomo likomekkereza nebyokukola. birina okumalirizibwa n’okuweebwayo nga ekiseera kyessomo eriddako tekinnabaawo. Singa omuyizi tamaliriza ekyokukola ekiweereddwa, asobola okukikolako oluvannyuma. Wabula, omukulembeze alina okukubiriza abayizi okukolera mu budde obuba buweereddwa kisobozeze okuba nga bayiga ebisingawo mu kibiina.
Abayizi bajja kumaliriza okuwandiika eby’okukola ebyengeri ezenjawulo. Omukulembeze w’ekibiina atera okukuŋŋaanya ebyokukola ebimaze okukolebwa ku ntandikwa yokuyiga okwekiseera ekyekibiina. (Ebibiri ku bikolebwa (Essomo 6, Ekyokukola 1, ne Ssomo 14, Ekyokuklola 1) tebyetaaga kuweebwayo, kubyogerako kyokka.
Abayizzi bajja kubuulira n’enjiri eri abantu bangi nga bakozesa enkola eziyigibwa mu kibiina. Buli luvannyuma lwa kubuulira, bajja kuwandiika ku bye bakoze n’okubigabanako mu kibiina engeri okubuulira gye kwagendamu. Bajja kutegeka okubuulira okwokubuulira enjiri eyabantu abakulu ne ssomo eryabaana. Waliwo ebigezo bya mirundi ebiri mu musomo guno, ku masomo 5 ne 10. Abayizi balina okuwandiika ebyokuddamu okuva mu kubijjukira mu mutwe awatali kutunuulira mu kitabo kyonna mwe biri oba okwogera buli omu ne munne. Tewali byakuddamu ebiwandiikiddwa biweebwa mukulembeze wa kibiina, kubanga ebyokuddamu byonna bisangibwa mu biri ssomo.
Essomo 13 lirimu ebiragirira engeri yokugabamu obupapula obuwandiikiddwako enjiri. Abayizi bajja kwetaaga okumanya wa awokujja obupapula buno obw’okugaba. Singa kiba kisoboka, leetera ekibiina ekyo obupapula buno.
Singa omuyizi abadde ayagala okufuna ebbaluwa okuva eri Shepherds Global Classroom, alina okubeerawo mu kibiina okuyiga ebiseera byonna n’okumaliriza ebyokukola mu kibiina byonna. Waliwo olupapula oluweebwa ku nkomerero yomusomo okuwandiikamu ebyokukola ebiwedde.
Biblical Evangelism and Discipleship
19 lessons · Oluganda
Print Course
Request Submitted!
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
- No Changes – Course content must not be altered in any way.
- No Profit Sales – Printed copies may not be sold for profit.
- Free Use for Ministry – Churches, schools, and other training ministries may freely print and distribute copies—even if they charge tuition.
- No Unauthorized Translations – Please contact us before translating any course into another language.
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa
$21.99 each
Added to Cart
Download Course
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Additional Files
Audio Course Downloads
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share This Course
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa
Share this free course with others