Ennyanjula
► Omuntu asobola okwejjeerezebwa nga tawulidde njiri? Omulimu gw’okubuulira enjiri gwetaagisa?
Mu byawandiikibwa tulaba ebyokulabirako ebyabo abaatukibwangao olw’ekisa kya Katonda awatali nkwaatagana okuva mu Isiraeri oba ekkanisa. Yobu yali mutereevu era nagaana okukola obubi nga ne Musa tannabaawo era nga Ebyawandiikibwa tebinnawandiikibwa. Balamu yali mu nkolagana ne Katonda era yali amanyiddwa nga omulabi eyafunanga obubaka okuva eri Katonda nga tagenze mukwolesebwa. Abimeleki yakola obuuukirivu okusinga Ibulayimu oluvannyuma lwa Ibulayimu okulowooza, “Mazima Okutya Mukama tekuli mu kifo kino .” Abaruumi 1:21-32 wannyonnyola bannamawanga abaali mu mbeera embi ennyo; Si kuba nti baali tebamanyi Katonda, naye lwakugaana ekyo kya baali bamanyi.[1]
“Omukwano gwa Mukama guli mw'abo abamutya, Era anaabalaganga endagaano ye” (Zabbuli 25:14). Endagaano yengeri Katonda gyakolaganamu n’omuntu, eyetaagisa akawaayiro ak’ekisa okuva nga bonna lwe bayonoona. Singa omuntu assaamu Katonda ekitiibwa mu bujjuvu, Katonda ajja kumulaga ekkubo erimutuusa mu nkolagana naye.
Baibuli egamba nti obulokozi tebuli mu linnya lyonna okujjako Yesu (Ebikolwa by’Abatume 4:12). Wabula, abantu abaalokolebwa mu Ndagaano Enkadde, tebaamanya linnya lya Yesu. Baateeka okukkiriza kwabwe mu kisuubizo kya Katonda okubawa obununuzi n’ekisonyiwo, era yakigaba okuyita mu Yesu. Mu ngeri yeemu, abantu abatannawulira ku linnya lya Yesu basobola okwesiga Katonda okufuna obulokozi bwagaba okuyita mu Yesu.
Kati, kitegeza ki okuba nti obulokozi tebusobola kuyita mu linnya ddala lyonna? Kitegeeza nti tewali kkubo ddala lyonna ery’obulokozi. Omuntu tasobola kulokolebwa mu ngeri endala yonna ey’obununuzi. Era kitegeeza nti omuntu amanyi bikwata ku Yesu tateekwa kumugaana, kubanga okumuganna kuba kugaana bulokozi oba okunoonya engeri endala ey’obulokozi.
“Waliwo omusana ogw'amazima ogwakira buli muntu, nga gujja mu nsi” (Yokaana 1:9). Omwoyo Omutukuvu aleeta omusana gwa Yesu neri abo abatamuwulirangako.
Abantu banggi bafunye okwolesebwa oba okubikkulirwa okulala okwenjawulo okwabaleeta eri Katonda nga tebannawulira njiri okuva eri omuntu eyatumibwa. Eky’okulabirako, mu biseera bino Abasiraamu bangi bakyuka olw’okufuna obubaka okuva eri Katonda.
► Wali owulidde ku muntu nga yafuna obubaka obwenjawulo okuva eri Katonda nga tannaba kutegeerera ddala njiri?
[2]Awo, tulaba nti kisoboka omuntu okuzuula Katonda n’okulokoka nalokoka awatali kuwulira njiri nga eyisiddwa mu bantu abatumiddwa. Kyokka, Baibuli ennyonnyola enjiri nga obubaka buli muntu bwe yetaaga okuwulira amangu.
Ekitabo kya Abaruumi kinnyonnyola enjiri nga bwe yetaagibwa mu bwangu. Omutume yagamba nti ge maanyi ga Katonda agalokola (Abaruumi 1:16). Yagamba nti avunaanyizibwa eri buli muntu yenna, okubatwalira enjiri (Abaruumi 1:14). Akakasa amazima nti twejjeerezebwa Katonda lwakukkiriza bukkiriza kisuubizo kye eky’okusonyiwa (Abaruumi 3:26, Abaruumi 5:1).
Awo newajja ekyobwetavu obwamangu. Yagamba nti, “Era balikkiriza batya gwe batannawulirako? Era baliwulira batya awatali abuulira?” (Abaruumi 10:14). Yagamba nti, “okukkiriza kuva mw'ekyo ekiwuliddwa, n'ekiwuliddwa kiva mu kubuulira Kristo” (Abaruumi 10:17). Katonda akozesa enjiri okutondawo okukkiriza okulokola mu bagiwuliriza. Okubuulira enjiri ye nkola ya Katonda eyabulijjo ey’okulokolamu abaabula.
Singa baba basobola okulokolebwa awatali mubaka atumiddwa gye bali, lwaki omubaka wamugaso?
“Mu kiwonvu ekinene mu mambuka, ebiseera ebimu ndaba mukasana kokumakya omukka ogw’ebyalo lukumi abaminsani gye baali babeera—ebyalo abantu ababirimu nga tebalina Kristo, nga tebalina Katonda, era nga tebalina nassuubi munsi.”
- Robert Moffat