Type at least 2 characters to search
No results found for ""
Courses
Lessons
navigate open
See all results →
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Search Course

Type at least 3 characters to search

Search through all lessons and sections in this course

Searching...

No results found

No matches for ""

Try different keywords or check your spelling

results found

Lesson 17: Okukunukkiriza Okukula mu Mwoyo

10 min read

by Stephen Gibson


Obuweereza Bw’okusomesa Obwekkanisa

Mu kukyuka enkyukakyuka ebeerawo mu ye. Omukyufu alina byayagala epipya ne byakulembeza-okyukyuka kwamaanyi ddala okuba ntiBaibuli emwogerako nga ekitonde ekiggya. (2 Abakkolinso 5:17).

Naye, ebintu ebimu bitwala ekiseera. Omukyufu talabirawo mangu ago ngeri yakuteeka nnono za Bukristaayo mu nkola mu bitundu byonna eby’obulamu. Ateekwa okuyiga ennono, oluvannyuma nalaba engeri yokuziteeka mu nkola.

Waliwo ne nkola ey’okukula mu mwoyo nga omuntu. Omukyufu omupya abeera mwana mu Kristo.

► Omuyizi alina okusoma 1 Abakkolinso 3:1-2 eri ekibiina. Okusinziira ku nnyiriri zino, Omukyufu omupya afaana atya?

► Omuyzi alina okusoma Abaebbulaniya 5:13-14 eri ekibiina. Ennyiriri zogera ku mata ki? Emmere ekaluba ye mmere ki? Ekisaanyizo kyobukulu mu mwoyo kye ki?

Mu ntandikwa y’omusomo guno, twatunuulira Omulimu Omukulu Yesu gweyawa ekkanisa. Leka tutunuulire omulimu guno nate.

► Omuyizi alina okusoma Matayo 28:18-20 eri ekibiina. Mu nnyiriri zino, buvunaanyizibwa ki Yesu bwe yawa okusukka ku kubuulira enjiri?

Nga tannaba kuwabawa Mulimu Omukulu, Yesu yagamba nti mpeereddwa obuyinza bwonna mu ggulu ne ku nsi. Oluvannyuma yawa ekkanisa obuvunaanyizibwa okuleeta abantu eri okumugondera.

Yesu yagamba abayigirizwa si kubuulira njiri kyokka , naye n’okuyigiriza ebintu byonna bye yali abalagidde. Okubuulira enjiri kituntu butundu ekisooka ekyomulimu. Okuyigiriza abakyuse okugondera ebiragiro bya Yesu byonna ye nkola ey’obuyigirizwa. Okulemwa mu buyigirizwa kibeera kibi nnyo nga okulemwa mu kubuulira enjiri.

Obuweereza bwe kkanisa obw’okuyigiriza buleetera abakakyuka okukula mu mwoyo.

Mu Abaefeso tugambibwa nti Katonda ayita abantu okukola emirimu egy’enjawulo mu buweereza olw’okuzimba abakkiriza okubeera nga tebakyali bato (Abaefeso 4:11-14). Ekiva mu kutuuka ku bukulu mu mwoyo ye njigiriza etebenkedde.

Omusumba abeera n’obuvunaanyizibwa naddala obw’okuyigiriza. Pawulo yagamba Timoseewo, “nyiikiranga mu kusoma, n'okubuuliriranga, n'okuyigirizanga.” (1 Timoseewo 4:13) Yali tayogera ku kuyiga kwa Timoseewo okwa ssekinnoomu; yali ategeeza buweereza. Obuweereza bwa Timoseewo bwali kwemalira ku kusoma n’okunnyonnyola ebyawandiikibwa, okwa okuluŋŋamya okw’omwoyo, and teaching Christian doctrinen’okuyigiriza enjigiriza y’Obukristaayo. Ekimu ku bisaanyizo by’omusumba kwe kuba nti asobola okuyigiriza (1 Timoseewo 3:2).

Kubanga okuyiga kye kimu ku bikola obulamu obw’omwoyo, okuyigiriza kitundu ku mulimu gw’obuyigirizwa. Abasomesa bamugaso mu kkanisa, era ekkanisa erina buli kiseera okubeera nga ekola ekisobola okuzimba abasomesa.

[1]”Era bye wawuliranga gye ndi mu bajulirwa abangi, ebyo biteresenga abantu abeesigwa, era abalisaanira okuyigiriza n'abalala.” (2 Timoseewo 2:2) Ebiragiro bino Pawulo ye yabiwa Timoseewo, nga omubuulizi w’enjiri alina obumanyirivu era omusumba w’omuweereza omuto. Pawulo teyalimumativu nti okukkiriza kujja kubuna na kubuulira kwokka. Abantu ssekinnoomu baali betaaga okutendekebwa mu ngeri ey’enjawulo bateekebweeteekebwe okutendeka nabalala. Singa okukutendeka bwe kutyo kuba tekusobola kukolebwa mu kubuulira ekibiina, abantu bano abesigwa balina okutendekebwa kinnoomu oba mu bibiina ebitono.

Waliwo eby’okuyigiriza bingi. Musumba ki asobola okubikola byonna, naddala okuva nti si buli omu taba mwetegefu kuyigirizibwa mu ngeri yeemu munkiseera kye kimu? Naye Abaefeso 4:11 tagamba nti, “Yawa omusumba” (omuntu omu yekka n’omulimu gumu). Mu kifo kyekyo, waliwo emirimu egyenjawulo nabantu ab’enjawulo okugikola. Katonda ayita basomesa, nabawa obusobozi bw’okusomesa, n’okubayigiriza okuyita mu kkanisa olw’obuweereza bw’okusomesa.


[1]

“Ekigendererwa kya Yesu mu ntandikwa ekyenteekateeka ye kwe kufuna abantu abajja okuba abajulirwa ku bulamu bwe nokutwala mu maaso omulimu gwe oluvannyuma lwokuddayo eri Kitaawe.”
- Robert Coleman,
The Master’s Plan