Type at least 2 characters to search
No results found for ""
Courses
Lessons
navigate open
See all results →
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Search Course

Type at least 3 characters to search

Search through all lessons and sections in this course

Searching...

No results found

No matches for ""

Try different keywords or check your spelling

results found

Lesson 16: Abayigirizwa Abaddala

12 min read

by Stephen Gibson


Okugoberera Yesu

► Kitegeeza ki okubeera omuyigirizwa wa Yesu?

Abantu abamu balowooza nti Omukristaayo ye muntu yenna omulungi. Abalala balowooza nti okubeera Omukristaayo kitegeeza kukkiriza mu bintu ebimu. Bangi ku bantu bano, bye bakkiriza tebikola njawulo nnene mu bulamu bwabwe.

Abalala bali kumpi namazima. Bamanyi nti wateekwa okubaawo ekiseeera ekyokukyuka, omuntu bwafuuka Omukristaayo. Bamanyi nti kino kyatuukawo omuntu mu kiseera ekimu bwe yakkiriza nti yasonyiyibwa. Bangi bakkiriza nti omuntu akyukidde ddala alina obukakafu okugenda mu ggulu si nsonga akola ki oluvannyuma lw’okukyuka.

Kituufu nti okukyuka kutekwa kubeeera kwa ddala. Kituufu nti okusonyiyibwa kuweebwa lwa kisa okuyita mu kukkiriza. Kituufu nti Omukristaayo omutuufu abeerawo mu kugondera Katonda. Naye ebyo si bye byonna ebitegeeeza okubeeera omuyigirizwa wa Yesu.

Tusobola okutegeera kiki ekibeerawo ekiseera ekyokukkiriza bwe kifuuliwa engeri yokka ey’okubeera Omukristaayo—kitutwala ku antinomianism, (Okubeera ab’eddembe Eri Amateeka gonna Olw’ekisa kya Katonda), okuyigiriza nti amateeka ga Katonda tegakyakola ku Mukristaayo. Mu kifo kyokubeera ekisa ekyobwerere, kifuuka kisa kyakuteebereza ekifaanana ekuwolereza ekibi.

Amakanisa agalaanga ekisa ekitali kituufu balina bamemba abajja mu kkanisa naye nga bali mu kibi ekyolwatu. Abasumba baabwe bali bulungi okusinga ekisibo naye nabo bayinza okubeera nemize egy’ekibi. Bagamba nti tekyetaagisa kubeera nga ogondera Katonda mu bujjuvu olwokuba tulokoka lwa kisa. Baleka dda omulimu Yesu gwe yawa ekkanisa, ogwokuleeta abantu eri okugondera ebiragiro bya Kristo. Omulimu ogw’enjawulo ogw’ekkanisa kwe kufuula abatakkiriza abasinza Katonda abatukuvu, era ekkanisa terina nsonga ndala esinga obulungi lwaki ebeerawo.

Ne kkanisa ezikuuma obwetaavu obw’okugondera Katonda zirina abantu abamu nga bali mu nsobi endala. Bafaananyiriza obulamu bwabwe eri ebisaanyizo bye bakkiriza nti bituufu, naye tebalina mutima nga gwa Kristo. Balina ettima ate tebasonyiwa. Tebasobola kwetowaza kwetonda. Baanguyiriza okusalira abalala omusango. Balina obwesige mu bantu batono. Bafaanana obutabuusabuusa butuufu bwabwe. Balina ekyokuddamu eri buli nsonga, era tebassaamu kitiibwa abo abatakkiriziganya nabo. Tebalina kwagala kwonna okuwangula abo abaabula, naye bettanira nnyo okulwanirira endowooza zaabwe. Bamativu, era tebateekateeka kukyuka.

Abantu bano ddala bamanyi Yesu era baagala okumufaanana?

Okubeeera Omukristaayo kitegeeza kubeera muyigirizwa wa Yesu.

[1]Kitegeeza ki okubeera omuyigirizwa? Okugondera Kristo? Mazima ddala kitegeeza wakiri bwe kityo. Mu mulimu omukulu, Yesu bwe yagamba abatume okugenda mu nsi yonna nga bafuula abayigirizwa, yabalagira okuyigiriza abayigirizwa bano abapya okugondera byonna bye yabalagira (Matayo 28:19-20). Okugondera ebiragiro bya Yesu si kye kyonna kye kitegeeza okubeera omuyigirizwa.

Abayigirizwa ba bayigiriza Abayudaaya baagabananga obulamu nabo, nga tebayigabuyizi bye bayiriza byokka, naye ne ngeri gye beyisaamu. Baayiga endowooza yaabwe ne bye bakulembeza.

Yesu bwe yayita abayigirizwa, ngagamba nti “ojje, ongoberere,”[2] ekyo kyeyali ategeeza. Akyayita abayigirizwa okuyita mu njiri.

Omuntu afuuka atya omuyigirizwa?

Ekisooka, oteekwa okumukkiririzaamu–okujjako nga omukkiririzaamu tolina nsonga lwaki omugoberera.

Oteekwa okukyuka nova kyobadde olaga. Tewali atandika nga omugoberezi wa Yesu – tutandika nga tugoberera makubo gaffe. Oteekwa okusalawo okugoberera Yesu mu kifo kyamukubo go ggwe. Ekyo kitegeeza nti olaba nti waliwo ekikyamu namakubo go ggwe. Okugoberera kutandika na kwenenya – tosobola kumugoberera nga tonakuwalidde bibi byo. Bwoba tonakuwalidde bibi kimala okuba nga obireka, okyatambulira mu makubo go ggwe.

Akusonyiwa notandika enkolagana naye. Otandikaokwongera okumumanya okusingawo era oyagala okubeera nga ye.

► Omuyizi alina okusoma Matayo 16:21-25 eri ekibiina.

Mu kwogera kuno nabayigirizwa be, Yesu yannyonnyola okufa kwe okwali kugenda okubaawo. Ebigambo bya Yesu byakanga Peetero. Peetero teyalaba kubonaabona nakufa nga ebisaanidde Yesu nakatono. Yatandika okuwakana ne Yesu, nga agezaako okumukubiriza okugaana ekirowoozo eky’okufa.

Yesu yanenya Peetero nagamba nti yali tategeera bintu bya Katonda. Yesu yagamba nti omuntu okubeera omuyigirizwa we ateekwa kwefiiriza yekka, yetikke omusalaba gwe amugoberere. Kino kyali kitegeeza nti omuntu alina okukkiriza okufa ku ye yennyini. Okunenya kwali ku mbeera z’obutonde ezobuntu ezokwekkusa, okwegulumiza, n’okwewozaako—ebintu ebiremesa obuyigirizwa obwamazima.

► Lwaki okwerowoozaako okwomuntu kulemesa obuyigirizwa?

Abayigirizwa tebaalaba kubonaabona na kufa nga ebibasaanira okubatuukako. Baali tebannaba kutegeera mu bujjuvu kiki kyekitegeeza okugoberera Yesu. Tolina kyosasula okusonyiyibwa , naye okugoberera Kristo kikutwalako byonna. Okumugoberera kivaamu okwekebera mu mutima buli kiseera, okukakkana, n’okukyuka.

► Nnyonnyola ebigambo, “Kiggya kukutwalako byonna okugobera Kristo.”

Okwetikka omusalaba kwe kuwambatira okufa olwobulamu obutaggwawo nga oli ne Katonda. Kuba kufa ku kibi, okufa ku kubeera nga wetwala wekka. Si kwewaayo kwa kungulu kyokka, naye kugendera ddala ne mu mutima. Buba bwetowaze Yesu bwe yayogerako nga ekyetaago ekyokuyingira mu bwakabaka bwe.

Okufaanana abayigirizwa abaasooka, abantu bangi leero tebategeera kye kitegeeza okubeera omuyigirizwa. Amakanisa gagaba ekisa eri abo abateenenyezza. Ekyo tekitandika bantu bakyufu abali mu kkubo ettuufu oba okubateekateeka olw’ekyo ekigenda okujja. Kino kyanjawulo nnyo ku Bukristaayo obwa ddala okuba nga ekkubo si lyerimu.

Dietrich Bonhoeffer yali musumba Omugyamani eyattibwa obufuzi bwa Adolph Hitler. Yawandiika ebigambo bino mu kitabo kye The Cost of Discipleship.(Omuwendo Gw’obuyigirizwa)

Ekisa eky’omuwendo kya bugagga ekikwekeddwa mu nnimiro; olw’ekyobuggagga ekyo omuntu ajja kugenda ne ssanyu atunde byonna byalina okugula ennimiro eyo. Kyamuwendo ekigula obuwanana omuguzi ajja kutunda byonna byalina okukigula. Bwe bufuzi bwa Kristo obwobwakabaka, omuntu mwagenda okujjamu eriiso lye ku lwobwo singa limureetera okwesittala; kwe kuyita kwa Yesu Kristo okuleetera omuyigirizwa oluleka obutimba bwe nagoberera... ekisa bwe kityo kyamuwendo kubanga kituyita okugoberera.

Okumugoberera kwe kufuuka nga ye. Kwe kufa ku kwerowoozaako kubanga yaweerayo ddala okwerowoozako. Si kuleka bulesi okukola ebintu ebimu ebibi, naye okubireka kubanga Yesu yandibirese. Tugezaako okukola Yesu kye yandikoze mu bulongoofu, okusaasira, ekisa n’okusonyiwa.

Tetukola bukozi kituufu nga emitima gyaffe gikiwakanya. Twagala emitima gyaffe okubeera nga ogugwe. Teyakyawa muntu yenna. Waliwo abantu abasalawo okubeera abalabe be, naye teyali mulabe wa muntu yenna. Wadde ku musalaba yasonyiwa.

Abagoberezi be baali tebalina ttima. Baakolanga bulungi abo ababayisa obubi. Basabira omukisa tebakolima. Tebateeka kkomo ku kusonyiwa kwabwe. Baawaayo obuyinza bwabwe nebatandika okuweereza.

Tewali kifo kyakuleka kwewaayo kuno. Oyo agezaako okukuuma emmeeme ye ajja kugifiirwa—oyo awaayo emmeeme ye ajja kugiwonya (Makko 8:35).

► Ngeri ki gyetusobola okuyitamu abantu okujja eri obulokozi netubatekateeka okuyigirizibwa?


[1]

“Yesu Kristo aggumiza okujja wakati mu ffe ebifaananyi byetwalina munsi nga bifuga, ye atuule ku ntebe afuge. Eno ye nkyukakyuka ey’okugonda erimu nokukyuka, oba wakiri entandikwa yaakwo. Awo Kristo bwamala okutwala ekifo kye ekituufu, buli kintu kyonna ekiralal kitandika okukyuka.”
- Lausanne Committee for World Evangelization,
The Willowbank Report

[2]Matayo 4:19, Matayo 9:9, Matayo 16:24, Matayo 19:21, Yokaana 1:43