Omukulembeze W’ekibiina Wetegereze
Wa ekigezo ekiweereddwa ku nkomerero ye ssomo eriwedde. Abayizi balina okuwandiika eby’okuddamu okuva mu kujjukira nga tebatunuulidde bitabo oba okwogera buli omu ne munne.
Lesson
Playlist
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
6 min read
by Stephen Gibson
Wa ekigezo ekiweereddwa ku nkomerero ye ssomo eriwedde. Abayizi balina okuwandiika eby’okuddamu okuva mu kujjukira nga tebatunuulidde bitabo oba okwogera buli omu ne munne.
Bwetukola kye tusobola okufuna okutendekebwa mu buweereza, waliwo akabi k’okwesigama ku busobozi bwabantu. Naye, nga Omutume Pawulo bwe yagamba, “si kubanga fekka tulina obusobozi, okulowooza ekigambo kyonna ng'ekiva gyetuli; naye obusobozi bwaffe buva eri Katonda” (2 Abakkolinso 3:5).
Pawulo yagamba nti teyabuulira mu magezi ga bantu oba nga yeesigamye ku kusendasenda kwa bantu; naye nga yesigama ku kukola okw’Omwoyo Omutukuvu okuba nti okukkkiriza kwabamuwuliriza tekujja kwesigama ku magezi ga bantu, Naye ku Katonda (1 Abakkolinso 2:4-5). Pawulo, yali muyivu, naye teyasuubira magezi ge n’obukugu okuvaamu ebibala eby’omwyo.
Nga awandiikira Abasessaloniika, Pawulo yagamba “enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi” (1 Abasessaloniika 1:5). Baali bamativu ne njiri olw’okuba amaanyi ga Katonda.
Yesu yasuubiza abatume nti Omwoyo Omutukuvu yali wakulumiriza ensi olw’obutuukirivu, n’olwomusango (Yokaana 16:8). Yesu yagamba nti tewali muntu yali wakujja gyali, okujjako nga Kitaawe amuwalulidde gyali (Yokaana 6:44).
Alumiriza Omwonoonyi Atannakyuka (Yokaana 16:8).
Awa obulamu Obw’Omwoyo oyo afiiridde mu kibi (Yokaana 3:5, Abaefeso 2:1).
Alaga omukkiriza (Abaefeso 1:13, Abaefeso 4:30).
Atuma omukkiriza (Ebikolwa by’Abatume 13:2, 4).
Awa amaanyi omukkiriza atumiddwa (Ebikolwa by’Abatume 1:8).
Ayigiriza Omukkiriza (Yokaana 14:26, Yokaana 16:13; 1 Yokaana 2:27).
Akulembera omukkiriza (Abaggalatiya 5:25).
Asobozesa omukkiriza okufiisa ebikolwa eby’omubiri (Abaruumi 8:13).
► Okwesigama ku Mwoyo Omutukuvu kuluŋŋamya kutya engeri gye tubuuliramu enjiri? Kiki kyetukola mu ngeri ey’enjawulo olw’okuba nga twesigama ku Mwoyo Omutukuvu?
► Kiki kye tulina okulowooza ku kukutendekebwa ne nkola ez’okubuulira enjiri?
Tuyitibwa okumanyisa amazima ga Katonda. Tulina okwogera mu ngeri esinga obulungi gye tusobola okubeera nga tutegeerekeka.
Tetuteekwa kulowooza nti olw’okuba twesigama ku Mwoyo Omutukuvu tetulina kuzimba busobozi bwaffe okuyita mu kutendekebwa.
Pawulo yagamba nti yagezaako okusendasenda abantu (2 Abakkolinso 5:11). He told Yagamba Timoseewo okuyiga okusobola okuyigiriza amazima (2 Timoseewo 2:15). Ebisaanyizo byomusumba kwe kuba nga asobola okuyigiriza (2 Timoseewo 2:24).
Apolo yali mubuulizi wa njiri mulungi. Ayogerwako nga okmwogezi omulungi, nga amanyi nnyo ebyawandiikibwa, era awamaanyi mu mwoyo (Ebikolwa by’Abatume 18:25-26). Obusobozi bwe obw’obutonde, nga bukolagana nebirabo eby’omwoyo, byamufuula omukisa ogwamaanyi.
Omutume Peeetero atukubiriza bulijjo okubeera abetegefu okunnyonnyola essuubi eryenjiri(1 Peetero 3:15).
Ebyawandiikibwa bino bitugamba nti Katonda ajja kuwa omukisa n’okukozesa obusobozi obw’obutonde nkutendekebwa singa tuba twemalidde bigendererwa bye. Atuyita okuwaayo amaanyi gaffe n’obusobozi okukola omulimu gwe.
Mu Ebikolwa by’Abatume 1:4-5, Yesu yagamba abayigirizwa okulindirira okubatizibwa Omwoyo Omutukuvu, kwe yayita “okusuubiza kwa Kitaawe.” Kino okubaawo kyali kya kubeeramu okuweebwa amaanyi agaali agokubasobozesa okubeera abajulirwa mu nsi yonna (Ebikolwa by’Abatume 1:8).
[1]Wadde nga abayigirizwa baali bamaze okukyuka, baalina obwetaavu obw’omunda obwalina okukolebwako nga tebannaba kwetegeka kuweereza awatali bukulembeze bwa Yesu obulabika. Ne myaka esatu egy’okutendekebwa omusomesa akyasinze okuba owamaanyi tekwabategeka mu bujjuvu, kubanga ekizibu kino ekyomunda kyasigala wekiri. Nga tebannaba kubeera nabuweereza obwamaanyi n’okuba nga baluŋŋamizibwa Omwoyo Omutukuvu, nga Katonda bwe yateekateeka, baali beetaaga okubeera nga ekyetaago kyabwe eky’enjawulo mu mutima kikolebwako Omwoyo Omutukuvu.
Ekizibu kyeraga emirundi egiwerako mu myaka esatu egy’okutendekbwa. Ebiseera ebimu baali basala omusango mu ndowooza, nga bwe baali baagala okuyita omuliro gwokye abantu abaabagaana (Lukka 9:54-55). Ebiseera ebimu baali benyumiriza mu kusosola, nga bwe baagaana omusajja okuwonya gwe baali tebawadde lukusa (Makko 9:38). Baali beeyagaliza bokka era nga benyumiriza mu kwekkusa bokka, nga olumu ababiri bwe baasaba ebifo eby’okumwanjo abalala ne babanyiigira (Makko 10:35-41).
Baawakana bokka na bokka ani asinga obukulu mu bo (Makko 9:33-34). Okuba nti kyabaswaza Yesu bwe yababuuza kiki kye baali bogerako kiraga nti baali bamanyi nti endowooza zaabwe zandibadde nnungi okusingako awo.
Ku kijjulo kyabwe ekyasembayo, Yesu yanaaza ebigere byabayigirizwa be, nabagamba okubeera nendowooza yemu ey’okuweereza gye yabalaga ngabanaaza ebigere (Yokaana 13:14). Baali tebannaba kubeera na bwetowaze nga buno; Baali bagaanye okuweerezagana akawungeezi ako. Ekizibu tekyali kuba nga tebamanyi, naye amalala.
Yesu yabagamba nti balina okubeera n’okwagala okujja okuba okwamaanyi okusobola okuwaayo obulamu bwabwe buli omu eri munne (Yokaana 15:12-13). Baalowooza nti okwagala kuno bakulina, naye si bwe kyali; kubanga Yesu bwe yakwatibwa bamudukako, wadde nga baali baagamba nti bajja kufa naye (Makko 14:31, 50).
Bano be baali abasajja abaalina okubeera nobuvunaanyizibwa obw’okukulembera nkubunyisa ekkaanisa awatali kubeerawo kwa Yesu. Yesu yamanya nti baali si betegefu okuweereza okutuusa nga ekyetaago kyabwe ekyomunda kimaze okukolebwako, Bwatyo n’abagamba okulindira mu Yerusaalemi okutuusa nga bafunye ekisuubizo kya Kitaawe (Ebikolwa by’Abatume 1:4-5). Ekisuubizo kino kifaanana okubatizibwa okw’Omwoyo Omutukuvu. Kwali kwetaagisa nnyo okuba nti baali tebalina kugenda mu maaso na kutandikan’okutwala mu maaso ekkanisa we kitali.
Teyabagamba nti kye baali betaaga kwali kwongera kutendekebwa, wadde ekiseera ekiwanvu ekyokukula. Baali bakulindira mu Yerusaalemi okukola kw’Omwoyo kubeerewo.
Abayigirizwa kye baayitamu ku lunaku lwa Pentekooti Kinnyonnyolwa nga okujjula Omwoyo Omutukuvu (Ebikolwa by’Abatume 2:4). Wadde nga waliwo bingi ebyatuukawo ku olwo, Peetero oluvannyuma yalaga nti omulimu omukulu ogw’Omwoyo gwali nti yatukuza emitima gyabwe (Ebikolwa by’Abatume 15:8-9). Kino kye kyali ekyetaago kya bayigirizwa. Obukakafu bwonna obwobwetaavu bwabwe obw’omunda bwasonga ku kizibu ekiri mu mutima, ekibi ekisikire, kye baali betaaga okutukuzibwa. Okutukuzibwa kuno bwe kwabaawo okuyita mu kubatizibwa (Oba okujjuzibwa) okw’Omwoyo Omutukuvu, baali tebakyafaayo ku bukuumi bwabwe oba okukuzibwa okubeera ekiruubirirwa ekikulu.
[2]Ekyo bwe kyaliwo ku lunaku lwa Pentekooti kyatandika ekkanisa okutambulira mu mulembe ogw’okubuulira enjiri mu maanyi. Ekkanisa mussanyu ne mu buwanguzi nga ojjeeko obutakwatagana mu njigiriza, enjigiriza enkyamu eza Bayudaaya, okwemulugunya okw’omunda, obunnanfuusi, okuwakanya kwa Dayimooni, okuyigganyizibwa, and ne bizibu.
Omukkiriza asobola okubeera nobwetaavu bwe bumu nga abayigirizwa bwe baalina. Obwetaavu buno bukolebwako okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu.
Si kwe kugamba:
1. Nti omukkiriza talina Mwoyo Mutukuvu okutuusa ngafunye okujjuzibwa kuno okwenjawulo.
2. Nti tewali mulimu gwonna ogw’Omwoyo Omutukuvu gubeera mu mukkiriza okutuusa nga okujjuzibwa kuno kubaddewo.
3. Nti tewali ngeri ya kujjuzibwa okw’Omwoyo okutali kuno okutukuza omutima.
4. Nti buli muntu afuna okujjuzibwa kuno okw’Omwoyo ajja kubeera n’obuweereza obw’ekitume.
Tetulina kulowooza nti ffe engeri gye tujjuzibwamu ebeerera ddala yemu neyo eyabayigirizwa. wabula, ekyetaago ekyokutukuza omutima n’okuwa amaanyi obuweereza kukyali kwa mugaso gye tuli.
Okuva mu kyokulabirako ekyabayigirizwa tusobola okulaba:
1. Nti singa omuntu abeera ne kyetaago kino, abeera teyetegese mu bujjuvu kuweereza oba okubeera mu bulamu obutukuvu.
2. Nti Katonda tayagala kuleka muntu mu mbeera eno.
3. Nti ekyokuddamu si kutendekebwa oba ekiseera ekiwanvu ekyokukula mu mwoyo.
4. Nti kisoboka ekyetaago kino okukolebwako mu kaseera buseera, oluvannyuma lwokunoonya obulungi.
Omukkiriza afuna atya omulimu guno ogw’Omwoyo Omutukuvu?
Peetero yagamba nti gufunibwa lwa kukkiriza (Ebikolwa by’Abatume 15:8-9). Yesu yateekateeka abayigirizwa okubeera n’okukkiriza nga abawa ekisuubizo nga abaleetera okusuubira.
Olw’ekyo, singa omuntu alaba ekyetaago kye nategeera okumalirira kwa Katonda okukola ku kyetaago kye, asobola okufuna ekisa kino olwokukkiriza.
“Okutegeera okwamaanyi Mukama kwe yali awaayo mu mikono gyabwe kwali kususse amaanyi g’omuntu. Olwekyo yabagabirira bye beetaaga okukozesa ebitakoma eby’Omwoyo Omutukuvu. Yalina okulumiriza ensi olw’omusango, n’olwobutuukirivu; olwekyo, yabawerekera mu buweereza bwabwe namaanyi amangi ne bivaamu nga byewuunyisa.”
- A.B. Simpson,
Missionary Messages
Baafuuka kimu, ekibiina ekifukiddwako amafuta ekirina amaanyi agokujulira: nga bagoberera okuyita kwa Katonda, nga besigamye ku maanyi ga Katonda, okokola olwekitiibwa kya Katonda.
Buli muyizi alina okwekebera yekka mu kusaba ayanukule ebibuuzo bino mu buwandiike. Olupapula luno terwetaaga kuweebwa mukulembeze wa kibiina.
Nesigama ku Mwoyo Omutukuvu, oba ngezaako okukola ebyo byokka obusobozi bwange bye bukkiriza?
Nnina ebimu ku bisaanyizo ebyali biraga nti abayigirizwa betaaga okujjuzibwa Omwoyo Omutukuvu?
Waliwo ebikolwa, emize, nendowooza, oba ebiruubirirwa sinnaba kuwaayo eri Katonda?
Ndi mumalirivu Omwoyo Omutukuvu okuntukuliza ddala, nsobole okukozesebwa olwekitiibwa kya Katonda?
19 lessons · Oluganda
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
$21.99 each
Added to Cart
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share this free course with others