Omukulembeze W’ekibiina Wetegereze
Ku buli nsonga, funa omuntu asome ekyawandiikibwa ekijuliziddwa, awo omuntu omulalal asome okunnyonnyola kwe nsonga eyo. Ekibiina kyonna kakyogere ku buli kibuuzo ekyokwogerako.
Lesson
Playlist
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
4 min read
by Stephen Gibson
Ku buli nsonga, funa omuntu asome ekyawandiikibwa ekijuliziddwa, awo omuntu omulalal asome okunnyonnyola kwe nsonga eyo. Ekibiina kyonna kakyogere ku buli kibuuzo ekyokwogerako.
Ensonga zino wammanga zenkulu ez’enjiri. Kisoboka omuntu okukyuka awatali kuzitegeera mu bujjuvu. Wabula, okugaana emu ku nsonga zino kijjawo omusingi gw’enjiri. Omuntu oba ekitongole okugaana emu ku nsonga zino kijja kuleetera okuleetawo enjiri endala, okwesiga engeri enkyamu ey’obulokozi.
Bwogabana enjiri n’omuntu omulala, ensonga ezimu zijja kubeera zamugaso mu ngeri ey’enjawulo olw’ensobi zamaze okuba ngakkiriza. Ekyokulabirako, singa akkiriza nti obulokozi buyita mu kitongole ekimu kyokka, ajja kukkiriza nti ebyetaagisa okubeera memba mu kitongole kino byetaagisa okulokoka. Yetaaga okumanya nti omuntu ssekinnoomu afuna ekisonyiwo najja butereevu mu nkolagana ne Katonda.
(1) Katonda yatonda omusajja n’omukazi mu kifaananyi kye asobole okubeera nenkolagana nabo (Olubereberye 1:27, Ebikolwa by’Abatume 17:24-28).
Amazima ganogalaga ekigendererwa kyokubeerawo kwaffe ne kiruubirirwa ky’obulokozi. Amazima gano gakontanibwa diini ezitakkiririza mu Katonda ow’obuntu. Amazima gano galaga ekizibu kyennyini ekiri mu nsi; abantu tebali mu nkolagana ne Katonda.
► Watya singa omuntu takkiriza nti Katonda amwagala?
(2) Abantu abaasooka baayonoona ne baawukana ku Katonda (Olubereberye 3:3-6).
Kino kiraga ensibuko y’ekibi ne nsonga yennyini evaako ensi okubeera mu mbeera gyerimu. Ensi kifo kyakubonaabona ne nnaku olw’ekibi. Wakyaliwo essanyu ne kigendererwa olwa Katonda engeri gye yakolamu, naye ensi teringa Katonda bwe yategeka ebeere.
► Watya singa omuntu takkiriza nti ekibi kye kizibu kyennyini eky’ensi?
(3) Buli muntu azaalibwa yayawukana ku Katonda era nga mujeemu eri ye (Abaruumi 3:10, 23).
Buli muntu alina omusango ogwokusobya Katonda mu bugenderevu. Teriiyo muntu bulijjo akola ekyo ekituufu.
► Watya singa omuntu alowooza nti asobola okwejjeerera ebintu bye yakola?
(4) Buli mwonoonyi atafuna kusaasirwa ajja kusalirwa Katonda omusango n’okuweebwa ekibonerezo eky’olubeerera (Abaebbulaniya 9:27, Abaruumi 14:12, Okubikkulirwa 20:12).
Kino kiraga obumalirivu n’obwangu obw’obwetaavu bw’obulokozi obwa bakkiriza.
► Watya singa omuntu takkiriza nti waliwo Katonda omutuukirivu asunguwalira ebibi bye?
(5) Omuntu talina kyasobola kukola kyonna okusasulira ebibi bye yasobya Katonda (Abaruumi 3:20, Abaefeso 2:4-9).
Ebikolwa ebirungi nebirabo tebisobola kusasulira kibi, kubanga ekibi kizzibwa ku Katonda atakoma ate nga buli kintu kikye.
► Watya singa omuntu akkiriza nti ateekwa okwefuula yekka asaanidde okusonyiyibwa?
(6) Wateekwa okubeeeawo ekisinziirwako okusonyiyibwa, kubanga ekibi kibi ate Katonda mwenkanya (Abaruumi 3:25-26).
Katonda ayagala okusonyiwa; naye, naye bwaba nga yasonyiwa nga talina kyasinziirako, ekibi kyandirabise nga ekitono, era Katonda nafaanana obutabeera mwenkanya.
► Lwaki okufa kwa Kristo kwali kwetaagisa?
(7) Yesu, Omwana wa Katonda, yabeerawo mu bulamu obutali bwa kibi naafa nga ssaddaaka ebibi byaffe okubeera nga bisonyiyibwaso. (Yokaana 3:16, Abaruumi 5:8-9).
Olwokuba nga Yesu Mwana wa Katonda, ssaddaaka ye erina omuwendo ogutakoma era yereetera ekisinziirwako okusonyiwa omuntu yenna mu nsi. Singa yali muntu kyokka, ssaddaaka ye yandibadde n’omuwendo ogukoma. Omusaayi gwa Yesu guliwo mu kifo kyobulamu bwe obwaweebwayo ku lwaffe. Awatali musaayi tewandibaddewo bulokozi (Abaebbulaniya 9:22). Singa teyali Katonda, teyandisobodde kutulokolera ddala era twandibadde tuli awo, nga tetulina ssuubi, lya ngeri ndala yakulokolebwa.
► Lwaki eddiini ezimu balowooza nti abantu bateekwa kulokolebwa lwa bikolwa?
(8) Yesu yazuukira mu mubiri, okukakasa okuba nti Mwana wa Katonda n’okwolesa obuyinza bwe okugaba obulamu obutaggwawo (Yokaana 20:24-28, Okubikkulirwa 1:18).
Abayigiriza enjiriza enkyamu abagaana okuzuukira kwa Yesu era batera n’okugaana obwa Katonda bwe n’okuba nga ssaddaaka ye emala olw’okulokola. Awo, bagunja engeri endala ey’obulokozi.
► Bintu ki bye tumanyi olw’okuba nti Yesu yazuukira mu bafu?
(9) Ssaddaaka ya Yesu emala olw’okusonyiwa ebibi byonna (1 Yokaana 1:9, 1 Yokaana 2:2).
Singa omuntu agaana amazima gano, ajja kukkiriza enjiri eyebikolwa. Eddiini nnyingi abakkiriza nti omuntu ateekwa okubako naye kyakola okufuna obulokozi. Kino kiteeka abantu wansi w’obufuge bwekitongole ky’eddiini ekibabuulira kiki ekyokukola okusobola okulokoka.
► Lwaki abantu abamubalowooza nti teebasobola kulokoka awatali bitongole byabwe ebyeddiini?
(10) Katonda asonyiwa buli muntu yenna akkiriza nti mwonoonyi, neyeenenya ne bibi bye, nakkiriza nekisuubizo kya Katonda okusonyiwa (Makko 1:15, 1 Yokaana 1:9).
Tewali kitongole kyabantu kirina lukusa ku byetaagisa okulokoka oba okuteekawo engeri endala ey’obulokozi.
► Muntu ki alina olukusa okukkiriza nti asonyiyiddwa?
(11) Okwenenya kitegeeza nti omuntu anakuwalidde ebibi bye nokumalirira okuleka ebibi bye Isaaya 55:7, Ezeekyeri 18:30, Ezeekyeri 33:9-16, Matayo 3:8).
Okwenenya tekitegeeza nti omuntu ateekwa obulamu bwe obutuukiridde Katonda nga tannaba kumukkiriza; Katonda yekka yasobola okulokola omwonoonyi okuva mu maanyi ge bibi bye. Okwenenya kitegeeza nti omuntu anaakuwalidde ekimala ebibi bye era nti mwetegefu okubireka. Singa omuntu taba mumalirivu kuleka bibi bye, tasobola kusonyiyibwa. Singa omuntu aba akyali mu kibi ekigenderere, aba teyenenyezza.
► Lwaki okwenenya kwetaagisa?
(12) Omwonoonyi eyeenenya nakkiriza, afuna okusonyiyibwa bwasaba Katonda namusaba ekisonyiwo (Abaruumi 10:13, Ebikolwa by’Abatume 2:21).
Buli muntu asobola okutuuka ku kusaasira kwa Katonda kulwa Yesu. Tewali kitongole oba akiikirira abantu oba yeetaagisa omuntu okuba ngasonyiyibwa Katonda. Omuntu asonyiyibwa kinnoomu natandika enkolagana butereevu ne Katonda.
► Tumanya tutya nti omuntu asobola okukyuka mu kaseera buseera?
(1) Mu nnyiriri ntono, nnyonnyola engeri emu oba bbiri ku nsonga zino ezisinga okubeera ezomugaso gyoli naddala mu kiseera eky’okukyuka.
(2) Londawo abayigiriza enjigiriza enkyamu oba Eddiini etali ya Bakristaayo oginoonyerezeeko. Mu mpapula 2-3, nnyonnyola engeri gye bagaanamu ezimu ku nsonga enkulu ez’enjiri. Nnyonnyola enjiri enkyamu gye babuulira olage engeri gye kwesigamye ku njigiriza enkyamu. Nnyonnyola engeri gye wandibawaddemu obukakafu bwe byawandiikibwa obwa mazima.
19 lessons · Oluganda
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
$21.99 each
Added to Cart
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share this free course with others