Type at least 2 characters to search
No results found for ""
Courses
Lessons
navigate open
See all results →
Abakristaayo By’Ebakkiririzaamu

Abakristaayo By’Ebakkiririzaamu

Search Course

Type at least 3 characters to search

Search through all lessons and sections in this course

Searching...

No results found

No matches for ""

Try different keywords or check your spelling

results found

Abakristaayo By’Ebakkiririzaamu

Lead Writer: Stephen Gibson

Course Description

Omusomo guno guwa okutegeera enjigiriza ezisinzirwako mu buli mutendera omukulu ogw’eby’okuyiga ebikwata ku Katonda, nga Katonda, Kristo, Ekibi, Obulokozi, ne njigiriza endala enkulu. Omuyizi ajja kuyiga engeri y’okwewalamu ensobi mu njigiriza. Omuyizi ajja kuyigirizibwa okusomesa abalala enjigiriza z’Obukristaayo.

What You'll Learn

Ekitabo Kya Katonda
Embala Ya Katonda
Obusatu mu Katonda
Obw’omuntu
Ekibi
Emyoyo
Kristo
Obulokozi
Ensonga Z’obulokozi
Omwoyo Omutukuvu
Obutukuvu mu Bukristaayo
Ekkanisa
Amagenda Ag’olubeerera
Eby’oluvannyuma
Ebyagobererwanga Edda

Course Objectives

(1) Okuyiga enjigiriza ezisinziirwako ez’okukkiriza mu Bukristaayo.

(2) Okukozesa Baibuli obulungi ddala nga ensibuko n’obuyinza mu njigiriza.

(3) Okumanya ensobi ezitera okukolebwa ennyo mu njigiriza.

(4) Okufuna okutegeera okugenda okwongera enkolagana yaffe ne Katonda.

(5) Okufuna ekinyusi ne nsengeka okusomesa abalala.

Introduction

Ebinnyonnyola Omusomo

Omusomo guno guwa okutegeera enjigiriza ezisinzirwako mu buli mutendera omukulu ogw’eby’okuyiga ebikwata ku Katonda, nga Katonda, Kristo, Ekibi, Obulokozi, ne njigiriza endala enkulu. Omuyizi ajja kuyiga engeri y’okwewalamu ensobi mu njigiriza. Omuyizi ajja kuyigirizibwa okusomesa abalala enjigiriza z’Obukristaayo.

Ebigendererwa By’omusomo

(1) Okuyiga enjigiriza ezisinziirwako ez’okukkiriza mu Bukristaayo.

(2) Okukozesa Baibuli obulungi ddala nga ensibuko n’obuyinza mu njigiriza.

(3) Okumanya ensobi ezitera okukolebwa ennyo mu njigiriza.

(4) Okufuna okutegeera okugenda okwongera enkolagana yaffe ne Katonda.

(5) Okufuna ekinyusi ne nsengeka okusomesa abalala.

Ebiragirira Abakulembeze B’ebibiina bya bayizi

Tuteebereza nti essomo lijja kutwala eddakika 90 oba okusingawo. Kiyinza okubeera nga kisingako obulungi ekibiina okusisinkana emirundi ebiri buli wiiki ku buli ssomo. Ekibiina bwekiba kikuŋŋaana emirundi ebiri, okulagirirwa okumu kuteekwa okugobererwa. Eky’okulabirako tewajja kubeerawo kigezo emirundi gyombi.

Buli muyizi yetaaga ekitabo kino ekikye.

Ebiwandiikidwa eri abakulembeze b’ekibiina biteekeddwamu okuyita mu musomo gwonna ne biragirira buli ekimu ku bitundu ebyamasomo. Biwandiikiddwa mu nnukuta eziwunzikiddwa.

Mu ntandikwa y’okuyiga okw’ekibiina, bawe ekigezo ku ssomo eryayita. Buli muyizi ateekwa okuwandiika eby’okuddamu nga abijja mu mutwe awatali kuyambibwako. Omuyizi bwatasobola kuyita kigezo, osobola okumuleka nagezaako okukiddamu omulundi omulala. (Ebiseera ebiweebwa eddaakika 10). Ebiraga eby’okuddamu eby’ekigezo kwebiri kumutimbagano okuwanulibwa www.shepherdsglobal.org

Oluvannyuma lw’ekigezo, kozesa olukalala lw’ebigendererwa okuva mu ssomo eriwedde nga ebibuuzo eby’okwejjukanya. Buuza ebibuuzo kubuli kigendererwa era owe omwagaanya abayizi okunnyonnyola (ebiseera ebiweereddwa eddakika 15)

Tandika essomo eddala nga owa omuyizi omu okusoma ebiwandiikiddwa mu ssomo ebiweereddwa. Leka abayizi bogere mu bufunze ebiwandiikiddwa ebisomeddwa kye byogera ku ky’okuyiga eky’essomo (ebiseera ebiweereddwa: eddakika 10).

Yita mu by’okuyiga by’essomo nga osoma n’okunnyonnyola buli kitundu. Bamemba b’ekibiina bayinza okusomesa ebitundu ebimu (ebiseera ebiweereddwa: eddakika 45).

Ebyawandiikibwa bingi bikozeseddwa mu musomo. Ebyawandiikibwa ebijuliza ebijuliza ebiweereddwa mu bukomera nga birina ekigambo nti soma biteekwa okusomebwa mu lwatu mu kibiina. Ebyawandiikibwa ebijulizibwa ebirala biyamba okuwagira eby’ogerwako mu musomo. Tekyetaagisa buli kiseera okusoma oba okubikkula ennyiriri ezo mu kibiina.

Ebibuuzo Eby’okwogerako n’ebikolebwa mu kibiina biragibwa n’akabonero akasonga ► Ebiseera ebimu ebibuuzo eby’okwogerako byanjula ekitundu ebiseera ebimu biyitaayita mu kitundu ekimaze okuyigibwako. Omukulembeze w’ekibiina ateekwa okubuuza ekibuuzo n’awa abayizi ekiseera eky’okwogera ku ky’okuddamu. Tekyetaagisa mu kiseera eky’okikunnyonnyola mu bujjuvu eky’okuddamu, naddala singa ekibuuzo kiba kyanjula ekiyigibwa.

Ekibiina kiteekwa okusomera awamu ekiwandiiko ekwata ku bikkiririzibwamu emirundi ebiri ku buli nkomerero y’essomo.

Ku nkomerero ya buli ssomo, buli muyizi ateekwa okuweebwa Ebyawandiikibwa okuva mu lukalala oluweereddwa. Nga okusoma okw’ekibiina okuddako tekunnatandika, bateekwa okusoma ebyawandiikibwa ebyabaweebwa n’okubiwandiikako omuko gumu nga gwogera ku biki ebyawandiikibwa kye bigamba ku ssomo. Bateekwa okulaga ebyawandiikibwa eri omukulembeze w’ekibiina mu kuyiga okuddako.

Wakiri emirundi esatu mu kuyiga omusomo guno, omuyizi ateekwa okusomesa essomo oba ekitundu ku ssomo eri abantu abalala abatali bakibiina mwasomera. Kino asobola okukikola mu kibiina, mu kkanisa ye, oba awaka mu kuyigira awamu Baibuli, oba mu kuyiga okutegekeddwa okw’engeri endala. Ku buli nkomerero yakuyiga mu kibiina, jjukiza abayizi eky’okukola kino, era obawe omukisa okuwa alipoota oba baasomesa okuva lwebaayiga mu kibiina ekyaggwa.

Ku nkomerero y’ekibiina jjukiza abayizi okusoma ebigenda okuyigibwa mu ssomo eriddako nga tebannatandika kibiina kiddako (ebiseera ebigereddwa eby’okulangiramu bino n’okuwa abayizi eby’okukolako: eddakika 10)

Singa omuyizi aba ayagala okufuna ebaluwa okuva mu Shepherds Global Classroom oba okuva mu bitongole ebiri wansi wakyo, ateekwa okubeerawo mu kuyiga mu kibiina n’okumaliriza kuby’okukolako ebiweebwa mu kibiina. Singa omuyizi ayosa okuyiga, ateekwa okuyiga essomo lyataayiga, okukola ekigezo n’okuwandiika kwebyo ebimuweereddwa. Foomu eweereddwa ku nkomerero y’omusomo okuwandiikamu ebiweereddwa okukolebwa nga bimaliriziddwa okukolebwa.

Okulagirirwa kwabayizi

Oteekwa okusoma ebiri mu buli ssomo nga ekibiina tekinnasisinkana okusobola okwetaba mu by’okwogerako nga obitegeera bulungi.

Ku buli ntandikwa y’okuyiga kwekibiina, beera mwetegefu okukola ekigezo eky’essomo eryayita. Yiga ebibuuzo by’ekigezo ebiweereddwa.

Bulijjo leeta Baibuliyo, ekitabo ekirimu amasomo, ne kkalaamu yabwino okukozesa okuwandiika byoyigako mu ssomo

Beera mwetegefuo kunoonya mu Baibuliyo n’okusoma ebyawandiikibwa ebijuliziddwa, okwanukula ebibuuzo eby’ogerwako mu byonna nga omukulembeze w’ekibiina bwaluŋŋamya.

Ku nkomerero yabuli ssomo, ojja kuweebwa ebyawandiikibwa eby’okusoma. Nga okuyiga okuddako tekunnatandika, soma ebyawandiikibwa obiwandiikeko ng’olaga kiki kyebyogera ku mulamwa gw’essomo. Waayo by’owandiise eri omukulembeze w’ekibiina. Ekitabo Kya Katonda

Wakiri emirundi esatu mu musomo guno, oteekwa okusomesa essomo oba ekitundu ku ssomo eri abantu abatali mu kibiina mwoyigira. Okusomesa kuno kusobola okukolebwa mu kibiina eky’ekkanisa yo, okuyiga Baibuli waka, oba entegeka endala yonna. Buulira omukulembeze w’ekibiina buli mulundi gwobaako ne gw’osomesa.

Ready to Start Learning?

Choose a lesson from the sidebar, or jump right in.

Start Lesson 1