Ennyanjula
Ekkanisa kye yetaaga leero si byuma bingi oba ekisinga , si nteekateeka mpya oba enkola ennyingi endala, naye abantu Omwoyo Omutukuvu baasobola okukozesa—abantu abasabi, abantu abaamanyi mu kusaba. Omwoyo Omutukuvu takulukutira mu nkola, naye ayita mu bantu. Tajja ku byuma, naye ku bantu.Tafuka mafuta ku ntegeka, naye abantu—abantu abasabi.[1]
► E. M. Bounds yali agezaako kutereeza nsobi ki mu biwandiikiddwa waggulu?
Ekikolwa ekyokusaba kiba kyogera kwesigama ku Katonda. Omuntu atafuna budde kkusaba alowooza nti omulimu gwe gwe mukulu okusinga omulimu gwa Katonda kye gwandikoze mu kwanukula essaala ze.
Olw’okuba nti twesigama ku Mwoyo Omutukuvu, okusaba kwa mugaso gye tuli. Pawulo yasaba abantu okusaba enjiri ebeere nga ebuna wonna (2 Abasessaloniika 3:1, Abakkolosaayi 4:3, Abaefeso 6:19).
