Ennyanjula
► Omuyizi alina okusoma Matayo 28:18-20 eri ekibiina.
Abantu abamu bakkiriza nti ekiragiro kino kyali kya batume bokka.
► Kino ekiragiro kyali kya bantu abo bokka abaakiwulira ku lunaku olwo? Nnyonnyola ekyokuddamu kyo.
William Carey yaliwo mu 1761-1834. Yali abeera mu Bungereza. Yali mukozi wa ngatto eyali ayagala ennyo okubunyisa enjiri. Ekkanisa mwe yali yali tefaayo nnyo ku mulimu gw’okubunyisa enjiri mu nsi ndala. Baali bakkiriza nti Katonda yali amaze okusalawo ani gwajja okulokola, era nti yali teyesigamye ku kuyambibwako bantu.
Mu lukuŋŋaana lwabasumba, Carey yaleeta omutwe ogwokwogerako: yabuuza oba okutumibwa Okukulu mulimu gwa kkanisa okutuusa ku nkomerero yensi, okuva okusuubiza Yesu kwe yawa mu kutuma Okukulu kwali nti yali wa kubeera nabo okutuusa enkomererro yensi. Omukulembeze w’olukuŋŋaana yamugamba nti, “Tuula, muvubuka. Oli mukyamufu [kukyamukirira]. Katonda bwayagala okukyusa abamawanga, ajja kukikola awatali buyambi bwo oba obwange.”
Tukimanyi nti ekiragiro kiweereddwa ekkanisa okutuusa ku nkomerero yensi. Yesu yasuubiza okubeera nabo abatwala enjiri, nokutuuka ku nkomerero, ekiraga nti obuvunaanyizibwa obw’omulimu bwa kkanisa okuyita mu mirembe gyonna. Abatume baali si bakumaliriza mulimu mu kiseera kye baamala mu bulamu, nayeYesu yagamba nti enjiri ejja kubuulirwa mu nsi yonna (Matayo 24:14).
Kale obuvunaanyizibwa bw’okubuulira enjiri busikirwa buli mulembe.
► Tuuulira nate ebiri mu Matayo 28:18-20. Kiki ddala ekiragiddwa?
Ekiragiro kyennyini ekya Yesu kyali nti ekkanisa egende buli wantu okufuula abayigirizwa ku lulwe.
Ekiragiro kitwaliramu okubuulira enjiri kubanga omuntu tasobola kubeera muyigirizwaokutuusa nga akyuse.
Ekiragiro kitegeeza nti ekkanisa eteekwa okuteeka ku mwanjo okubuulira enjiri n’okuyigiriza n’okubaako nekyekola mu kwagala; bwe kitaba bwekityo, eba, eba tetuukiriza ekyo ekigibeesaawo.
Ebigambo “b'amawanga gonna” (buli bantu ab’olulimi olumu) kiraga nti omulimu gw’okutumibwa mu mawanga amalala gulagiddwa, okuva nga abamawanga ago bwe batalina njiri okutuusa nga ereeteddwa gye bali. Tewandibadde kika kyonna kya bantu ekyandisosoddwa.
[1]Ekiragiro si kya kubuulira bubuliizi njiri. Okuyita mu kusomesa kyetaagisa kubanga tuteekwa okusomesa abakyuse byonna Yesu bye yalagira.
Omusomesa ateekwa okubeera n’okumalirira okujjuvu okugondera ebiragiro bya Kristo kubanga ateekwa okubeera ekyokulabirako ekirungi, ngalaga abakyuse engeri yokubeera mu bulamu obw’okugondera Kristo.
Omuntu akyuse ateekwa okumalirira okugondera ne Kristo, kubanga okuyiga ebiragiro bya Kristo tekimala awatali kugonda nga bwayiga. Singa abeera tagondera ebyo bye yayiga , aba awakanya omulimu gw’obuyigiriza. Omutendera obuyigirizwa mwe buyita si gwakuyiga buyizi kyokka, naye n’okuzimba empisa.
“Ndi mumativu okukirawo nti singa twali tututte okulagirirwa kwa Mukama waffe n’obukakafu bwonna bwe yawa abayigirizwa be abaasooka mu bujjuvu nga okulagirirwa kwaffe, twandikusanze nga kusaanidde mu biseera byaffe nga bwe kwali bwe kwaweebwa abo abaasooka.”
- J. Hudson Taylor,
“Okuyitibwa okuweereza”