Omukulembeze W’ekibiina Wetegereze
Abayizi bagambe okuwa lipooti ku kwanja enjiri nga bakozesa ekifaananyi eky’olutindo.
Lesson
Playlist
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
8 min read
by Stephen Gibson
Abayizi bagambe okuwa lipooti ku kwanja enjiri nga bakozesa ekifaananyi eky’olutindo.
Pawulo yategeka okugenda mu lugendo e Ruumi. Yali ayagala kubuulirayo njiri (Abaruumi 1:15), okuzzaamu abakkiriza amaanyi (Abaruumi 1:11-12), nokufuna obuyambi bwe kkanisa ye Ruumi agende Esupaniya (Abaruumi 15:24).
Ekigendererwa kye baluwa eri Abaruumi kyali kwanjula Pawulo nenjigiriza ye ey’obulokozi eri Abaruumi abakkiriza. Ebaluwa eraga awasinziirwa okukola omulimu gw’obutume mu nsi yonna nga ennyonnyola ebikwata ku bulokozi.
Pawulo yakitegeka okukozesa ekkanisa mu Ruumi nga ekifo ekyokutandika omulimu gw’obutume mu Esupaniya, eryali ettwale lya Ruumi eryasookera ddala e bugwa njuba era ye yali entabiro y’obuyigirize bwa Baruumi mu kitundu ekyo ekyensi.
Okukyala kwa Pawulo e Ruumi tekwaliwo mu ngeri nga bwe yali akuteeseteese. Yakwatibwa mu Yerusaalemi. Bwe kyamulabikira nti tajja kufuna bwenkanya, yajulira ewa Kayisaali. Oluvannyuma lw’olugendo olwalimu obuzibu, omwali ne lyato okusaanawo, yatuuka e Ruumi nga omusibe mu mwaka 60 A.D. Wadde nga yali musibe, yakkirizibwa okufunanga abagenyi; era, yalina obuweereza obwabuna mu kibuga kyonna (Ebikolwa by’Abatume 28:30-31). Pawulo yagamba nti ebyaliwo e Ruumi byayamba okutwala enjiri mu maaso. (Abafiripi 1:12) Ne mu nnyumba ya Kayisaali mwalimu abaali bakyuse. Pawulo yateebwa oluvannyuma lwe myaka ebiri. Oba yagenda oba teyagenda mu lugendo olwe Esupaniya tekimanyiddwa.
Waliwo ebibuuuzo ebiwerako mu butonde ebyandizze eri okusaba kwa Pawulo okuba nti bamuyamba okutandika olugendo lw’obutume. Omuntu omu ayinza okubuuza, “Lwaki gwe alina okugenda?” Pawulo kye yava atandika ebaluwa ye ngayogera ku kwewaayo kwe eri omulimu gw’okubuulira enjiri (Abaruumi 1:1). Oluvannyuma yannyonnyola okuyitibwa kwe okwenjawulo n’okuyitimuka nga omutume eri Abamawanga (Abaruumi 15:15-20).
Ekibuuzo ekirala ekisobola okubuuzibwa kiri nti, “Lwaki buli muntu yenna yetaaga okuwulira enjiri? Oba olyawo obubaka buno tebwetaagisa buli wantu.” Pawulo yannyonnyola amaanyi ge njiri eri abantu mu nsi yonna (Abaruumi 1:14-16, Abaruumi 10:12) N’obwetaavu obwamangu obw’omulimu gw’obutume (Abaruumi 10:14-15). Yalaga nti obubaka bukwata ku buli muntu mu nsi era nti buli muntu yetaaga okubuwulira.
Ebbaluwa ekyali ku mulamwa ogwasooka ogw’omulimu ogw’obutume. Wabula, ekola ekisingawo. Nga Pawulo bwe yannyonnyola ensonga lwaki buli muntu yetaaga okuwulira obubaka, yannyonnyola obubaka ne nsonga lwaki abantu basobola okulokoka mu ngeri eno. Yayanukula ebimu ku byali bisinga okuwakanyizibwa. Okunnyonnyola kuno n’okulwanirira obubaka bwe yabuulira butwala ekifo ekisinga mu kitabo era bwe bukitegeka nga bwe kiri.
Abaruumi kwe kunnyonnyola okweby’obulokozi. Okuyigiriza kwa Pawulo ku by’obulokozi kuwa okulwanirira mangu ago eri ebye Kiyudaaya; era kiyamba n’okutereeza ensobi eziriwo ezikwata ku njigiriza ez’obulokozi.
William Tyndale, Mu bigambo bye ebyanjula ekitabo kya Abaruumi, yagamba nti ekiruubirirwa kya Pawulo kwe kutegeka mu bufunze okuyigiriza kwonna okw’enjiri ya Kristo n’okutekateeka ennyanjula y’Endagaano Enkaddde yonna.[1]
Okuyita mu byafaayo, Katonda akozesezza ebaluwa eri Abaruumi okuzzaawo amazima agaali gasinga obukulu bwe gaali nga gerabiddwa.
Mu mwaka 386, Augustino yewaayo okwekutula ku bulamu bwe obw’ekibi ngamaze okusoma Abaruumi 13:13-14.
Mu 1515, Martin Luther yategeera amakulu agali mu Abaruumi 1:17. Yalaba nti oyo ajja okutalizibwa okusalirwa Katonda omusango yoyo alina okukkiriza okulokola. Kino kyamuwa kwa sinziira okuba omukakafu olw’obulokozi kye yali amaze ebbanga nganoonya. Kino kye yayigirizanga mu baka bwe nti olukkirizakwokka ye ngeri gye tusobola okulokoka.
[2]Mu 1738, John Wesley yaazuula obukakafu obw’obulokozi bwe, bwe yanoonya okumala emyaka mingi. Kyaliwo bwe yali mu Lukuŋŋaana nga ne bavubuka banne abaateranga okukuŋŋaana okuyiga engeri yokugobereramu Obukristaayo obwa Baibuli. Omuntu omu bwe yali asoma Luther bye yali awandiise ebinnyonnyola ekitabo kya Abaruumi, Wesley yawulira bulungi mu mutima gwe mu ngeri etali ya bulijjo. Yawa bwati obujulizi, “Nnawulira nga ndaba Kristo, Kristo yekka, olw’obulokozi bwange: n’obukakafu obwampeebwa nti yajjawo ebibi byange, ne byange, namponya okuva mu tteeka ly’ekibi n’okufa.”[3]
Eri abasajja bano abasatu, okutegeera obubaka obw’ekitabo Abaruumi kyabasikiriza okubuulira enjiri eya kaasa mmeeme. Ekitabo kino kikyatuukiriza ekigendererwa ekisinziirwako obutume nga kinnyonnyola eby’obulokozi.
Ekitabo kyonna ekya Abaruumi kinnyonnyola ebiwandiikiddwa mu Abaruumi 1:16-18.
Buli kimu ekiri mu nnyiriri 1-14 bitutwala ku biwandiikiddwa mu lunyiriri 15 Pawulo weyagambira nti, “njagala okubabuulira Enjiri.” Ennyiriri 16-18 zinnyonnyolera ddala kiki enjiri kyeri era lwaki buli muntu agyetaaga. Enjiri bwe bubaka obugamba nti aboonoonyi basobola okwejjeerezebwa olw’okukkiriza. Ensonga lwaki bulii muntu yetaaga obubaka buno kwe kuba nti bali wansi wekiruyi kya Katonda.
Engeri endala ey’okwogera omugaso omukulu ogw’ekitabo kya Abaruumi kwe kugamba nti kwe kunnyonnyola kwe njiri, esinziira ku kiragiro kya Katonda buli akkiriza ajja kulokoka era buli atakkiriza ajja kusalirwa aomusngo.
Entikko ye kitabo kya Abaruumi ejjira mu Abaruumi 10:13-15, Pawulo mwannyonnyolera lwaki kyetaagisa mu bwangu ababaka okutwala enjiri. Abantu balokoka lwa kugikkiriza, naye tebasobola kukkiriza okujjako nga bagiwulidde.
“Ekigendererwa ekyawamu mu baluwa eno kwe kubunyisa ekigendererwa ekitaggwawo ekitakyuka oba ekiragiro kya Katonda, ekiri nti buli yenna akkiriza alirokoka: Oyo atakkiriza omusango guli musinga.’”
- John Wesley
Enjiri esobola okunnyonnyolwa nga okozesa ennyiriri ezomu kitabo kya Abaruumi zokka. Okwanja enjiri bwe kuti ebiseera ebimu kuyitibwa “Oluguudo lwe Ruumi.”
Sentensi esooka ennyonnyola buli kyawandiikibwa ekijuliziddwa yesinga obukulu okujjukira.
Abaruumi 3:23
“bonna baayonoona, ne batatuuka ku kitiibwa kya Katonda.”
Buli muntu yenna yayonoona nga akola ebintu byamanyi bibi.
Olunyiriri luno lulaga ekizibu kyennyini abantu kye balina. Tebaagondera Katonda; mu bugenderevu baajemera Katonda. Tewali muntu yenna kino gwe kitakwatako. Tewali muntu asobola kukkirizibwa Katonda ngasinziira ku kubeera nti bulijjom akola kituufu.
Okukkaatiriza ensonga eno okulala, osobola okukozesa Abaruumi 3:10 (“Tewali mutuukirivu n'omu”) and Abaruumi 5:12 (“okufa... kubuna ku bantu bonna, kubanga bonna baayonoona”).
Abaruumi 6:23
“empeera y'ekibi kwe kufa; naye ekirabo eky'obuwa ekya Katonda bwe bulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu Mukama waffe.”
Abonoonyi baafuna okufa okutaggwawo, naye Katonda agaba obulamu obutaggwawo nga ekirabo okuyita mu Yesu.
Olunyiriri luno lulaga lwaki ekibi kibi nnyo. Olw’ekibi, ekibonerezo ky’okufa buli muntu akifuna. Kufa kwa lubeerera, okusala omusango okwa Katonda okugwanira buli mwonoonyi.
Bw’ogeraageranya n’okufa kwe twafuna, Katonda agaba ekirabo eky’obulamu, ekintu kyetutakolerera.
Abaruumi 5:8
“Naye Katonda alaga okwagala kwe ye gyetuli, kubanga bwe twali nga tukyalina ebibi Kristo n'atufiirira”
Ekirabo kya Katonda kyatuweebwa olw’okufa kwa Kristo ku lwaffe.
Katonda teyayagala ffe kufuna kusalirwa musango nga bwekitugwanira. Olw’okuba nga atwagala, yatuteekerawo engeri y’okusaasirwa. Yesu yafa nga ssaddaaka tusobole okusonyiyibwa. Katonda teyalinda tubeeko kye tukola okusobola okusaanira obulokozi—bujja gye tuli nga tukyali bonoonyi. Obulokozi tebuweebwa bantu balungi, naye abonoonyi.
Abaruumi 10:9
“bw'oyatula ... n'okkiriza...olirokoka.”
Ekyetaagisa kyokka Olw’obulokozi ye mwonoonyi okukkiriza nti mwonoonyi nakkiriza ekisuubizo kya Katonda eky’okusonyiwa olw’okufa n’okuzuukira kwa Yesu.
Kiri kitya ku kwenenya? Singa omuntu akkiriza nti akoze ekibi ngayagala kusonyiyibwa, aba alaga nti mumalirivu okuleka ekibi.
Abaruumi 10:13
“buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka.”
Obulokozi buweebwa buli muntu.
Tewali noomu atakkirizibwa. Tewali bisaanyizo birala byonna biriwo.
Abaruumi 5:1
“bwe twaweebwa obutuukirivu olw'okukkiriza, tulina emirembe ne Katonda.”
Okukkiriza ekisuubizo kya Katonda kitufuula mukwano gwa Katonda, nga tetukyabalirwa kubeera na musango.
Okubeera nemirembe ne Katonda kitegeeza nti tetukyali balabe be; twatabagana naye. Ekibi ekyali kitwawula ne Katonda kyaggibwawo mu kkubo. Okuweebwa obutuukirivu kitegeeza okubalibwa nga atalina musango. Okuweebwa obutuukirivu olw’okukkiriza kitegeeza nti okukkiriza ekisuubizo kya Katonda kye kyonna ekyetaagisa olw’okusonyiyibwa kwaffe.
Abaruumi 8:1
“Kale kaakano tebaliiko musango abali mu Kristo Yesu.”
Olw’okuba tukwatagana ne Kristo, tetukyavunaanibwa olwebibi bye twakola.
Kristo yabeerawo mu bulamu obutaliimu kibi natuukiriza ekyetaago kyobwenkanya bwe yafa ku musalaba. Olw’okukkiriza tumufaanana era ne tukkirizibwa Katonda Kitaffe. Katonda atuyisa nga abatayonoonangako.
Okumaliriza
Nnyonnyola nti atali mukkiriza asobola okulokolebwa nga asaba Katonda, ngayatula nti mwonoonyi era ngasaba okusonyiyibwa ngasinziira ku kufa kwa Yesu ngassaddaaka n’okuzuukira kwe.
Engeri esinga obulungi ey’okuyiga n’okuteka mu nkola enkola eno kwe kusooka okulamba bulil lunyiriri olw’okukozesa mu Abaruumi nga oluteekako enkulungo oba Okuluteekako olukoloboze wansi walwo mu Baibuli yo. Awo oteekeko e namba ku mabbali ga buli lunyiririshowing nga olaga emitendera mwogenda okukozeseza buli lunyiriri. Ekyokulabirako: ku mabbali g’olunyiriri lw’ogenda okusooka okukozesa wandiika e namba 1.
Wegezeemu okubuulira enjiri. Soma buli lunyiriri olunnyonnyole. Kakasa nga oteekamu endowooza eziri mu sentensi esooka eya buli lunyiriri (waggulu). Awo, gattako buli kunnyonnyola kwonna okwetaagisa, nga okozesa sentensi ziri endala bwe kiba kyetaagisa. Tekyetaagisa kukozesa bigambo byennyini ebiri mu ssomo lino.
Wegezesemu okutuusa nga osobola okukikola nga totunuulide kintu kirala okujjako Baibuli.
Omukulembeze w’ekibiina wetegereze: Abayizi babiri oba basatu balina okulaga enkola y’oluguudo lwe Ruumi ey’okubuulira enjiri eri ekibiina. Ekibiina basobola olkwogera ku ngeri gyebasobola okulongoosa engeri eno ey’okubuulira enjiri. Awo, abayizi begabanyeemu babiri babiri okwegezesaamu. Buli muyizi alina okugezesa emirundi ebiri, eri abawuliriiza eb’enjawulo.
(1) Nga okozesa enkola ey’oluguudo lwe Ruumi, buulira enjiri eri abantu waakiri basatu. Wandiika ku buli byoyogera nga obuulira era wetegeke okubibuulira ekibiina nga mukuŋŋaanye omulundi oguddako.
(2) Wetegeke okuwandiika okuva mu kujjukira (nga okozesa Baibuli yo yokka) ebyawandiikibwa ebijulizibwa mu nkola y’oluguudo lwe Ruumi wakiri emu ennyonnyola buli kyawandiikibwa ku ntandikwa y’okusoma okuddako.
(3) Essomo eriddako likwata ku kubuulira okw’okubuulira enjiri. Nga wetegekera essomo lino, wandiika ensengeka oba Okufunza okwokubuulira okubuulira enjiri gy’obuulidde, eyo gyowulidde, oba eyo gyoyagala okuzimba. Jangu nayo mu kuyiga okuddako.
Wandiika ebyawandiikibwa ebijuliziddwa ebikozesebwa mu nkola y’okubuulira enjiri ey’oluguudo lwe Ruumi. Wansi webijuliza, wandiika wakiri sentensi emu ennyonnyola. Ennyiriri zino toziwandiika. PDF
(1) Abaruumi ______
(2) Abaruumi ______
(3) Abaruumi ______
(4) Abaruumi ______
(5) Abaruumi ______
(6) Abaruumi ______
(7) Abaruumi ______
19 lessons · Oluganda
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
$21.99 each
Added to Cart
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share this free course with others