Type at least 2 characters to search
No results found for ""
Courses
Lessons
navigate open
See all results →
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Search Course

Type at least 3 characters to search

Search through all lessons and sections in this course

Searching...

No results found

No matches for ""

Try different keywords or check your spelling

results found

Lesson 11: Okubuulira Okw’okubuulira Enjiri

9 min read

by Stephen Gibson


Ennyanjula

► Omuyizi alina okusoma 1 Abakkolinso 1:17-25 eri ekibiina. Nkola ki eya Katonda ey’okulokola abaabula?

Abayudaaya baali banoonya maanyi okununula eggwanga lyabwe. Baali baagala obubaka obwamaanyi n’obubonero obwamaanyi okukakasa nti bwali bukola.

Abamawanga baayagala magezi ag’okutegeera obulamu nag’okuwangula mu nsi. Baayagala obubaka obwandinnyonnyodde engeri y’okufunamu bye baagala.

Omusalaba gwali gukiikirira okwewaayo ne ssaddaaka. Eri Abayudaaya abaali baagala amaanyi, gwalabika nga obunafu. Eri abamawanga abaali baagala amagezi agensi, gwafaanana nga eky’obusirusiru. Ekya ddala, obuyinza namagezi ga Katonda byalagibwa ku kufa kwa Kristo. Omusalaba gwafanana ng’obunafu n’obusirusiru bwa Katonda, naye gwali gusinga okufuba enno okwa bantu.

Obubaka bw’enjiri bukontana n’okwegomba kwomuntu okw’obutonde eri ekibi. Kutuyita okwenenya n’okwewaayo eri Katonda. Bulabika nga obubaka obwobusirusiru, kubanga abantu baagala kuwulira ebikwata ku ebyo byebaagala.

Katonda yalondawo okukozesa enjiri okulokola abantu. Omulimu gw’okubuulira yaguwa bakkiriza. Ekigambo word okubuulira tekikwata ku muntu abuulira ekibiina yekka, naye kikwarta ku kubuulira enjiri mu ngeri ez’enjawulo. Ensonga eri mu bino teri nti okubuulira mu lujjudde ye nkola Katonda gye yalonda. Ensonga eri nti okubuulira enjiri nkola ya Katonda.

► Ebigambo ebyo bitegeea ki bye byogerwa nti okubuulira omusalaba busirusiru eri abo abatakkiriza?