Type at least 2 characters to search
No results found for ""
Courses
Lessons
navigate open
See all results →
Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Okubuulira Enjiri mu Baibuli n'Obuyigirizwa

Search Course

Type at least 3 characters to search

Search through all lessons and sections in this course

Searching...

No results found

No matches for ""

Try different keywords or check your spelling

results found

Lesson 14: Obuweereza eri Abaana

14 min read

by Stephen Gibson


Ennyanjula

[1]► Omuyizi alina kusoma Matayo 18:2-6, 10-14 eri ekibiina. Kulabula ki kwe tulaba mu nnyiriri zino? Wandinnyonnyodde otya omugaso Katonda gwalaba mu baana?

Ebiseera ebimu abantu bagamba nti abaana baamugaso kubanga gwe mulembe oguddako, ekkanisa ey’omumaaso, era abakulembeze ab’omumaaso. Ebyo byonna bituufu; naye ekisooka mu byonna, abaana bamugaso kubanga bantu. Ebiseera ebimu abantu abakulu bafaanana okwerabira nti abaana bantu abalina emmeeme ezibeerera n’obusobozi obutamanyiddwa.


[1]

Omutambuze yayimirirako mu kaalo akatono. Yalaba omusajja omukadde ngatudde ku mabbali goluguudo nagamba nti, “Kino ekyalo sikuwulirangako. Waliwo abasajja abamaanyi nga baazalibwa mu kyalo kino? omusajja omukadde nagamba nti, “Nedda, kyazaalibwa baano bokka.”