Ennyanjula
► Omuyizi alina okusoma Abaefeso 1:4-9 eri ekibiina. Njigiriza ki enkulu eziyigirizibwa mu nnyiriri zino?
Lesson
Playlist
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
8 min read
by Stephen Gibson
► Omuyizi alina okusoma Abaefeso 1:4-9 eri ekibiina. Njigiriza ki enkulu eziyigirizibwa mu nnyiriri zino?
Ekkanisa ey’enjiri ye kkanisa eyigiriza enjiri ey’ebyawandiikibwa ey’obulokozi olw’ekisa okuyitamu kukkiriza kwokka. Tewali bikolwa birungi eby’omuntu ebigattibwa ku kutangirira kwa Kristo bisobola kutuyamba okusaanira obulokozi.
Okubuulira enjiri eyamazima ekkanisa embuulizi y’enjiri kye kulembeza kubanga abantu abakkiriza enjiri bamanyi nti kino kikulu nnyo okusinga ekintu ekirala kyonna.
Enjiri kye kyobugagga eky’enjawulo Katonda kyeyawa ekkanisa kyeyayaana okugabana nensi.
Waliwo ebisaanyizo ebimu ebiri mu kkanisa ez’enjiri ezisinga:
1. Ab’enjiri bakkiriza mu Buyinza Obwenkomeredde obwa Baibuli. Okugaana obuyinza obwa Baibuli kuba kuleetera njiri kubuusibwabuusibwa.
2. Ab’enjiri bakkiriza mu njigiriza z’Obukristaayo Ezasooka. Okugaana enjigiriza ezo kubeera kukontana na njiri. Ekyokulabirako, abayigiriza enjigiriza enkyamu abagaana obwa Katonda bwa Kristo bagaana n’omulimu gwe ogw’okutangirira okubeera nga gumala olw’obulokozi ne bayigiriza, mu kifo kyekyo, enjiri ey’ebikolwa.
3. Ekkanisa Ez’Enjiri Zikkaatiriza Omuntu Okufuna Omwoyo. Ekisaanyizo kino wekiri kubanga bakkiririza mu kukyuka kwomuntu ssekinnoomu n’okukkiriza kwategeera. Kubanga bakkiriza kino, ab’enjiri bakkaatiriza okubuulira enjiri abatali bakkirizan’okuzimba obulamu obw’omwoyo obwa bakkiriza.
► Ekkanisa yo eraga etya ebisaanyizo bino? Waliwo ebisaanyizo ebiralala ebiraga nti enjiri yekulembera?
Enjiri ewa ekkanisa omulimu Ogw’okukola. Ekkanisa etakulembeza njiri eba yeerabidde omulimu ogwagiweebwa Katonda.
Twayiga ku Mulimu Omukulu oguli mu Matayo 28:18-20. Mulimu ki omukulu ogw’ekkanisa?
[1]Enjiri etondawo ekkanisa buli webuulirwa. Ekkanisa eyamazima okuyita mu byafaayoetandikibwa awo enjiri webuuliddwa. Obusika bw’ekkanisa okuva mu biseera byabatume tebusaangibwa mu kugenda mu maaso okwebitongole, naye mu kugenda mu maaso n’okuuulira enjiri n’obwesigwa.
Ebitongole byonna ebitondebwawo ekkanisa birina okuweereza nga bikulembeza enjiri. Ekyokulabirako, enteekateeka ey’okutendeka abasumba erina okubateekateeka okukulembera ekkanisa mukutuukiriza omulimu gwayo ogw’okubuulira enjiri n’okuyigiriza.
Ebitongole bitera okutwala okubeerawo kwabyo ne byerabira Omulimu gwabyo. Okusimba essira ku njiri okuggya bulijjo kutuusa ku kukyusibwa mu bitongole.
Ekkanisa eteekawo obulombolombo bwekkiriza, engeri z’okusinza, obulamu Obukristaayo, nenkola yekkanisa; naye okuzza obuggya ku kussa essira ku njiri kutuusa ku kukyusa obulombolombo.
“Waliwo okukwatagana obutereevu okuli wakati w’obukama bwa Kristo n’omulimu ogukolebwa ekkanisa mu nsi. Kino kijjibwayo mu ngeri etegeerekeka mu njiri ya Matayo eky’Omulimu Omukulu. Kyekyo ddala kubanga obuyinza bwonna mu ggulu ne mu nsi bwaweebwa Katonda Kitaffe eri Katonda Omwana okuba nti ekkanisa erina obuvunaanyizibwa okufuula abayigirizwa amawanga gonna.”
- J. Herbert Kane,
“The Work of Evangelism”
Eky’okulabirako 1
Ekkanisa nga ekola ekisoboka okutuukiriza omulimu ogw’okubuulira enjiri, kyetaagisa okukola enteekateeka, okuteekawo abantu abakolera awamu, okukola pulogulamu, n’okunoonya obuwagizi. Ekkanisa eteekawo ebitongole okuweereza ebigendererwa ebyaddala. Bulijjo, ebitongole biteekebwawo mu kiseera ekyokudda obuggya abantu nga beewaddeyo ne kkanisa nga eri mu mbeera ey’okukola omulimu.
Ebitongole byetaagisa. Ekitongole kwe kuteekateeka okwekiseera ekiwanvu okwa bantu nebintu. Awatali bitongole, tewandibadde bizimbe bya kkanisa, tewandibadde kutumibwa mu nsi endala, nga tewali kubunyisa Baibuli, oba ebitabo ebirala byonna, tewali masomero ga Bakristaayo oba pulogulamu ez’ebyenjigiriza, nobutabaawo kuwanirira mu byensimbi obuweereza. Ne kkanisa ey’omu kitundu nayo kitongole ekitasobola kubeerawo okujjako nga ekibiina kya bantu kyewaddeyo eri kyo.
Singa ekitongole kiba nga kikola birungi, kisobola okugaziwa, nga kirina abantu bangi n’omutemwa gwa sente ogukozesebwa. Okukuuma ekitongole kitwala okufuba kungi ne ssente. Ebiseera ebimu abantu abakola mu kitongole batandika okuwulira nti okuzimba ekitongole kye kiruubirirwa ekisooka ekye kitongole. Balowooza nti omulimu gwabwe kwe kukuuma ekitongole nga kigenda mu maaso okusinga okutuukiriza omulimu ogusooka ogw’ekitongole.
Wadde nga ebitongole byetaagisa, biteekwa buli kiseera okwekebejjebwa n’okukyusibwa eky’okukulemeza enjiri.
Ekyokulabirako 2
Kubanga obuweereza bulina obusobozi obw’okukola ssente, abantu abamu batandise obuweereza kufunamu ssente. Si kikyamu obuweereza okubaako ebintu bye butunda, era si kikyamu obuweereza okunoonya okuyambibwa mu bye ssente. Wabula, singa omuntu asikirizibwa nnyo ssente okusinga okukulembeza enjiri, omutima gwe gubeera mukyamu n’omulimu gwakola guba tegusanyusa Katonda (1 Peetero 5:1-2, 2 Peetero 2:3).
Simooni yali muntu eyayagala ekirabo eky’omwoyo asobole okufuna ettutumu namagoba ga ssente, naye omutume yamugamba nti omutima gwe mubi (Ebikolwa by’Abatume 8:18-23).
► Kikyamu ki ekiri ku mbeera y’omusumba agezaako okutunda ekkanisa ye? Kiki ekikyamu ku ntegeera ye ku kkanisa kye ki?
Ekyokulabirako 3
Okutabiikiriza kwe kutabula Obukristaayo n’okuukkiriza okukontana ne bikolebwa okuva mu ddiini endala. Eky’okulabirako ky’okutabiikiriza mu biseera by’Endagaano Empya ye ddiini ya Basamaliya. Abamawanga abaasinzanga ebifaananyi bayingira mu matwale ga Isiraeri ne batabula eddiini ya Isiraeri ne yaabwe ey’okusinza ebifaananyi; Yesu yagamba nti tebamanyi kye basinza (Yokaana 4:22).
Eky’okulabirako ekiralala eky’okutabiikiriza okuva mu byafaayo bya Haiti. Haiti nga likyali ttwale lya Bufaransa abaddu okuva mu Afrika babeetaazanga okukyuka okubeera Abakristaayo. Baatabikanga eddiini zebaalimu okusooka n’Obukatoliki Obwe Ruumi. Aba Haiti bangi bakyakkiririza mu Busamize, kwe kusinza emyoyo, naye nga bakozesa obubonero obwa Bakristaayo namannya ga batuukirivu.
Ebiseera ebimu okutabiikiriza kwabeerangawo kubanga Obukristaayo bwali bwekuusa ku ggwanga eryalinga libuutikidde eggwanga eddala. Abantu beetaanga okusanyusa eggwanga erisinga, awo ne bakkiriza obulombolombo bwe ddiini ye ggwanga eryo naye ne basigala nga bakuuma enzikiriza zaabwe zebaalina.
► Byakulabirako ki eby’okutabika wakati w’Obukristaayo ne ddiini endala byolabye?
Ebisikiriza eby’ensi bisobola okuleeta okutabiikiriza. Singa abantu balowooza nti okukkiriza enjiri kujja kubaleetera okufuna ssente, okubeera n’obuyinza mu by’obufuzi, oba okuganja eri abantu abalina obuyinza, basobola okukkiriza endabika ey’Obukristaayo awatali kuba nga bakyukidde ddala. Awo, bagenda mu maaso n’okugoberera enzikiriza zaabwe ezedda ne byebaakolanga naye nga babayita mannya ga Bakristaayo. Kisingako obulungi ekkanisa bwe buulira awatali kugaba bintu ebireetera abantu okukkiriza nga balina ebigendererwa ebikyamu.
Obukristaayo buyinza okufaanna eddiini eyebunaayira enjiri bwereetebwa abaminsane abava ebunaayira. Eyo yensonga lwaki kikulu Obukristaayo okubeera nga busimbibwa mu buli buwangwa ne bufaanana ekyo obuwangwa obwo kyebuwuliriramu emirembe. Teyeetaaga kusigala ngerabika nga eddiini ey’ebunaayira. Wabula, kikulu abaminsane nababuulizi b’enjiri okwawula biki ebirimu mu buwangwa ebitakwatagana na Bukristaayo. Okwawula kugenda mu maaso nga kuteekwa okuyambibwako abakkiriza ab’omu kitundu era tekusobola kuggwa mangu.
Ekyokulabirako 4
Ebiseera ebimu eddiini etwalibwa okubeera nga yeddiiini emanyiddwa ey’eggwanga. Ekyokulabirako, mu mawanga agamu, abantu abasinga Basiraamu. Mu mawanga amalala, abantu abasinga betwala okubeera abakatoliki abe Ruumi. Abantu bangi tebagoberera mu butuufu mutindo gwampisa mu ddiini yaabwe era nga bakola obulombolombo bwe ddiini lumu na lumu; naye bagamba nti bagoberezi ba ddiini eyo.
Abantu bangi beyita Bakristaayo kubanga mu mbeera mwe babeera abantu bonna abalungi batwalibwa okubeera Abakristaayo. Tebeenenyangako. Bagoberera omutindo gwabwe ogw’empisa ennungi.
Enjiri kuyitibwa eri okwenenya n’okwewaayo eri Kristo. Yesu yagamba nti omuntu tasobola kubeera muyigirizwa we okujjako ngakkiriza okufa kw’okwerowoozaako nafuuka omugoberezi owamazima (Lukka 9:23).
Enyinnyonnyola y’Omukristaayo tesobola kuba nga eyagalibwa mu bantu abonoonyi. Empisa ennungi ezabantu mu kitundu ziri wansi nnyo okusinga empisa z’Obukristaayo, era Omukristaayo alabika nga wa njawulo ku nsi.
► Obukristaayo obwagalwa omutali kwenenya bulagibwa butya mu bantu bolimu?
Ekyokulabirako 5
Tetusobola kusuubira nti abakkiriza bonna bajja kukkiriziganya ku njigiriza zonna. Waliwo enjawukana mu bakkiriza, wadde nga bakkiriza Baibuli okubeera n’obuyinza ku njiriza zaabwe.
Ebiseera ebimu amakanisa gakkaatiriza enjigiriza ezigaawula ku makanisa amalala, naye nga enjigiriza ezo si zamugaso nnyo nga enjigiriza ez’omusingi gw’Obukristaayo. Ekkanisa terina kugamba nti amakanisa amalala si makanisa ga Bakristaayo abamazima, singa amakanisa ago gaba gayigiriza enjiri eyeetaagisa.
Ekkanisa terina kuteekawo njawulo yaayo nga erwanyisa amakanisa amalala. Erina okusooka okwenywereza mu njiri, ate n’okuzimba ba memba baayo nga bewaayo mu kukuŋŋaana nga bassa kimu.
► Ekkanisa emu okukkiriza ekkanisa endala nga eyamazima ey’Abakristaayo erina kusinziira ku ki?
Ekyokulabirako 6
Ne njigiriza entuufu esobola okukssibwako essira okutuuka ku ssa erigifaananya okubeeera nga ekontana namazima. Bweteeka essira ku kisa, ekkanisa erabika nga enyooma obwetaavu bw’okugondera Katonda. Bweteeka essira ku kukyuka, ekakanisa eyinza okufaanana nga eyerabidde omutendera ogw’obuyigirizwa. Nga eteeka essira ku bwesigwa bwa Katonda eri omuntu azze emabega, ekkanisa eyinza okulemwa okulabula ku kabi kokukyamizibwa. Nga essaamu ekitiibwa ebirabo eby’omwoyo, ekkanisa eyinza okulagajjalira okugenda ebuziba mu mwoyo ne mpisa ey’Obukristaayo.
Obutenkanyankanya mu njigiriza kulabika nga ekiseera kiyiseewo era ebivaamu bibeerawo ekiseera kiwanvu. Okuyigiriza kwonna (1) okuleeta obulagajjavu ku kibi, (2) okujjawo okuba n’obukakafu obw’obulokozi, (3) okuzibuwaza ekkubo lyomuntu eyandiyanukudde enjiri, or (4) okukweka okuyigiriza kw’enjiri etenkanakana mu njigiriza.
Ebiseera ebimu mu byafaayo by’ekkanisa enjiri yafaanana okuba nga eyeerabiddwa ebitongole ebyamaanyi. Ensobi nga okuteekawo ebitongole, okutabika, n’obutenkanyankanya mu njigiriza byafaanana okulabika ennyo okusinga enjiri. Abakulembeze baali bateekwa okubeera ab’okulabirako mu by’omwoyo naye ne bafaanana okulaga ebigendererwa ebikyamu, empisa embi, n’okwagala ebintu byensi.
Katonda oluusi aleeta okudda obuggya okwamaanyi eri ekkanisa. Okudda obuggya okwekiseera ekiwanvu nebikuvaamu ebingi kulina ebintu bisatu.
1. Waliwo enkyukakyuka ku byetumayi ku Katonda, amazima ag’omwoyo agalagajjaliddwa bwe gakomezebwawo.
2. Wabeerawo okudda obuggya mu mwoyo, wamu n’okusaba okwamaanyi, okusinza ennyo, n’okufuna abantu abakyuka abawera.
3. Waliwo enkola ez’obuweereza empya, ekkanisa nga bwefuna amakubo amapya ag’okubuuliramu enjiri n’okuyigiriza.
Enkyukakyuka ezaba Bawakanyi (Mu Bulaaya yonna mu myaka 1500) gyali gya kuzuula enjiri ey’obulokozi olwekisa kyokka n’okukkiriza kwokka. Enkumi ne nkumi zabantu baakyuka. Ebyawandiikibwa byakusibwa mu nnimi ezabulijjo abantu ne babifuna.
Ababatiza (Mu Bulaaya yonna mu myaka gya 1500 n’oluvannyuma) baali abantu abafaayo kubanga bangi ku bagoberezi be Nkyukakyuka balowooza nti okukkiriza enjigiriza entuufukyali kimala okulokoka. Abantu bangi baayatula okukkiriza amazima g’enjiri naye nga tebakyukanga. Ababatiza bassa essira ku kukyuka.
Abapayeeti (mu myaka 1600 nga giggwako mu Girimaani) be bantu abaamanya omugaso gw’obuyigirizwa. Baatekawo obuweereza obwe bibiina bya bantu abatono ne ngeri zokutendekamu abakkiriza okukula mu Bukristaayo.
Okudda obuggya okwa Bamesodi (mu myaka 1700 nga giggwako mu Bungereza) kwatandika n’obuweereza bwa John Wesley. Bangi ku bakabona be kkanisa ya Bungereza baagaana okukkiriza obukakafu obw’omuntu obw’obulokozi. Wesley yabuulira nti buli muntu asobola okumanya nti alina okukkiriza okulamu mu Kristo n’obukakafu obw’obulokozi okuva eri Omwoyo Omutukuvu.
► Mazima ki agamaanyi gewetaaga okuteekako essiramu bantu bolimu?
Ebitongole bya Bakristaayo bingi, ebinene nebitono (nga mwotwalidde amakanisa g’omubitundu), byatandika nokwewaayo okukulembeza enjiri. Ekiseera nga kigenda kiyitawo, bangi ku bo baawugulwa okuva ku kye baalina okukulembeza.
Okuzza obuggya ekkanisa okuba nga ekola bulungi, tetwetaaga njigiriza mpya ezenjawulo oba okubikkulirwa okupya. Kye twetaaga kwe kukomyawo ennono eya benjiri ey’okukulembeza enjiri.
Ojja kutandika okusoma okudddako ne kigezo mu Ssomo 5. Yiga ku bibuuzo eby’ebigezo n’obwegendereza.
(1) Bisaanyizo ki ebisatu ebyamakanisa g’enjiri?
(2) Ngeri ki omukaaga ekkanisa mweesobolera okufiirwa okukulembeza enjiri?
(3) Bubonero ki obuna obulaga obutenkanankana obw’enjigiriza?
(4) Bintu ki ebisatu ebyokudda obuggya okwekiseera ekiwanvu?
(5) Wandiika ekituufu ku buli ekiri wammanga:
Enkyukakyuka ya Bawakanyi
Ababatiza
Abapayeeti
Okudda obuggya okwa Bamesodi
19 lessons · Oluganda
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
$21.99 each
Added to Cart
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share this free course with others