Okusabira Abakkiriza Essaala za Pawulo
Essaala za Pawulo eri abakkiriza abapya zoogera ekirina okutuuka ku Mukristaayo omupya. Essaala zino zituluŋŋamya mu kusabira abakkiriza abato kubanga tulina okubasabira ebintu bye bimu Pawulo bye yabasabira. Okusaba kuno era kuluŋŋamya obuweereza bwaffe kubanga tulina okukwatagana nekyo Katonda kyabakolera.
Leka tutunuulira okusaba kkwa Pawulo nga sabira ebibiina bisatu eby’enjawulo.
Abasessaloniika
► Omuyizi alina okusoma 1 Abasessaloniika 5:23-24 eri ekibiina.
Ebbaluwa esooka eri Abasasseloniika ewa okuyita eri obutuukirivu. Buli mukkiriza ayitibwa okubeera mu buwanguzi n’obutukuvu era Katonda asuubiza nti kisoboka olw’okukkiriza. Tulina okusaba nokuyigiriza nekigendererwa ekyokuleeta buli mukkiriza eri obuwanguzi n’obutukuvu.
Abafiripi
► Omuyizi alina okusoma Abafiripi 1:9-11 eri ekibiina.
Ennyiriri zino zitubuulira ku kigenda mu maaso mu bulamu bw’omukkiriza. Okwagala kwe kulina okubeera nga kweyongera buli kiseera. Nga ekyo kigenda mu maaso, obusobozi bwe okwawula ekisinga obulungi kulina okweyongera. Bwatandika okwawula, atereeza obulamu bwe okutunuulira ekyo ekisinga obulungi. Kino kiteekwa okuba nga kigenda mu maaso asobole okubeera omulongoofu (mwesimbu) era awatali kunyiiga.
Abantu Pawulo beyawandiikira ennyriri zino baali bamaze okubeera abakkiriza okumala ekiseera. Kyokka, Pawulo yali abasabira nti beyongere mu kwagala Katonda era, olwokwagala okwo, babeere nga bategeera okwagala kwa Katonda gye bali.
Bino bye bbibuuzo ebimu omuto mu kukkiriza bylina okulowoozaako:
-
Kyakulabirako ki ekyenkyukakyuka gye nnakola mu bulamu bwange Katonda bwe yandaga nti ekirowoozo, omuze, oba ekikolwa si kye kyali kisinga obulungi?
-
Waliwo ekintu kyonna mu bulamu bwange kye mbuusabuusa?
-
Mmaliridde okukkiriza Katonda okundaga mu kusaba enkyukakyuka yonna gye nteekwa okukola?
Abakkolosaayi
► Omuyizi alina okusoma Abakkolosaayi 1:9-12 eri ekibiina.
Pawulo yasaba nti bafune okumanya okwagala kwa Katonda, mu magezi ne mukutegeera okw’omwoyo. Omuntu eyakaakyuka tategeera byonna ebikwata ku okwagala kwa Katonda ku ngeri gyatambuzaamu obulamu bwe. Ajja kulaba oluvannyuma nti emize egimu, ebigambo, nendowooza mu bulamu bwe birina okukyuka. Okuva nga bwayagala Katonda, ajja kugenda nga yeyongerayongera okufaananya obulamu bwe n’okwagala kwa Katonda. Ayigiriza alina okuba nga asaba n’okuyigiriza n’obwegendereza abakkiriza abato basobole okutegeera okwagala kwa Katonda.
Omutume Pawulo yagamba nti bajja, nga bamaze okutegeera okwagala kwa Katonda, okutambula mu ngeri ey’okutya Katonda. Bajja kufuuka abakiikirira Katonda abatuufu. Obulamu bwabwe bujja kuba nga bufaanagana n’okwatula kwabwe okuba nti bakyusibwa lwa kisa. Omuyigiriza kyalina okumanya nti okutuusa enkola eno okuba nga egenda mu maaso okumala akaseera, ebintu ebitatambula bulungi bijja kweraga mu bulamu bw’Omukristaayo omuto.
Ekimu ku kutambula nga osaanidde mulimu “mubalanga ebibala mu buli kikolwa ekirungi.” Tetulina kwewuunya Omukristaayo bwaba nga tannaba kubala bibala mu buli mulimu omulungi. Ayinza okuba nga tannaba kubeera na buvunaanyizibwa n’okutegeera omulimu nga bwe gwandibadde.
Ennnyiriri era zitugamba nti tusobola okuzzibwamu amaanyi ga Katonda egekitiibwa okuba nti tusobola okuguma n’okugumiikiriza mu ssanyu. Omuntu asobola kukuuma essanyu ery’Obukristaayo nga bwaweereza nokugumira afunye okukula mu mwoyo.
Okumaliriza Ebikwata ku Ssaala Za Pawulo
Essaala za Pawulo eri abakkiriza abatozitubuulira bingi ku buyigirizwa. Tulina okubeera ne bigendererwa eby’okukuza abakkiriza. Tulina okubeera nga tusobola okulaba okukula kwabwe. Tetuteekwa kwewuunya bwe tulaba ebitatambula bulungi, obutategeeragana, n’obutalaga buvunaanyizibwa mu mukkiriza omuto. Tetuteekwa kukkiriza nti ebisaanyizo byonna eby’Obukristaayo bijja kulabika mangu ago.
Tulina okwetegereza nti Pawulo yali tafaayo nnyo ku kutendekebwa kwabwe mu buweereza oba okuzimba obukugu mu buweereza. Yali afaayo nnyo ku kuzimba okukkiriza kwabwe nempisa z’Obukristaayo. Tetuteekwa kumatira nabantu abasobola emirimu gy’obuweereza naye nga tebalina mpisa za Bukristaayo.
Omusomesa wa mugaso olw’ekyokulabirako kye n’olwomuwendo gw’obubaka. Okuyiga akussibwako essira mu kusaba okwemirundi ebiri waggulu. Okumanya mwe kuli mu nkola ey’omwoyo. Omusomesa alina kinene kyakola okuyita mu mazima gakozesa.
Tulina okusaba okwo Pawulo kwe yasaba eri Abakristaayo abato be tuyambako okukyuka. Tulina okukolagana n’Omwoyo Omutukuvu okuyamba enkola zino okubeera mu bulamu bwabwe.
Essaala eddako yesigamye ku Kusaba Pawulo kwe yasabira abakkiriza abapya.