Ennyanjula
► Olowooza omulimu gw’okubuulira enjiri gwanjawulo gutya kati ku biseera eby’Endagaano Empya?
► Olowooza okubuulira enjiri mu nsi yo kwawukana kutya ku biseera abaminsane abaasooka lwe bajja?
Lesson
Playlist
Search through all lessons and sections in this course
Searching...
No results found
No matches for ""
Try different keywords or check your spelling
10 min read
by Stephen Gibson
► Olowooza omulimu gw’okubuulira enjiri gwanjawulo gutya kati ku biseera eby’Endagaano Empya?
► Olowooza okubuulira enjiri mu nsi yo kwawukana kutya ku biseera abaminsane abaasooka lwe bajja?
John Wycliffe yali musumba mu Bungereza. Yaliwo mu 1324-1384. Mu kiseera ekyo, Baibuli teyali mu lulimi lwa bantu. Abantu baalina kwesigama kwebyo Ekeleziya Katolika eye Ruumi bye yali eyigiriza. Abantu abasinga baali tebamanyi njiri. Ne ba kabona abakatoliki bangi baali tebamanyi Baibuli bulungi. Bakabona baatambulanga mu ggwanga nga bakola emikolo gyeddiiini nga basaba ne ssente. Amakanisa agasinga gaafugibwanga ba kabona abataabuuliranga njiri. Wycliffe nabayambi be baakyusa Baibuli okugizza mu Luzungu. Okukuba mu kyapa ebiseera ebyo tekwaliwo, olw’ekyo ebyawandiikibwa babiwandiisanga mikono. Baatambulanga babiri babiri ngabayigirizanga Baibuli eri ebibiina byabantu buli wantu. Abantu baabayitanga “ba kabona abaavu” kubanga tebaasabanga ssente.
Enkola ez’okubuulira enjiri ziteekwa okukozesebwa okusinziira ku mbeera zabantu mu kitundu. Wycliffe nabayambi be baatuukiriza ekitundu ekikulu ekyokubuulira enjiri; baatwalanga obubaka bwa Baibuli eri abantu butereevu.
John Wesley 1703-1791.[1] Mu kiseera ekyo, Ekkanisa ya Bungereza yali efuuse kkanisa ya bantu bagagga. Baali ba bulombolombo na mikolo era tebaasomesa njiri etegeerekeka. Abantu abasinga abaavu mu ggwanga tebakkirizibwa mu makanisa gaabwe era baali tebamanyi njiri. Wesley yali kabona Mungereza, naye yayagala okutuusa enjiri ku bantu. Amakya gamu, yagenda mu kifo abasimi mu kirombe we baali bayita okugenda mu kirombe nga bagenda okukola. Yabuulira, era bangi ne bayimirira okuwuliriza. Oluvannyuma lwekyo, yabuuliranga wabweru kumpi buli lunaku obulamu bwe bwonna. Enkumi ne nkumi zabantu bakyuka olwobuweereza bwe.
► Mu minsane ki ajjukirwa okubeera omu ku baasooka okuleta enjiri mu kitundu kyo?
Mu 2003, Omusajja yali agenda mu London nabomu maka naymirirako mu kibangirizi okuwummulako. Yeetegereza omukazi ngayimiridde ku lusozi mu kibangirizi. Yalina Baibuli ngayogera. Yamusemberera era yali amuwulira ngayogera ku kintu ekikwata ku ddiini. Yetegereza nalaba ngayimiridde ne mukwano gwe awo kumpi, awo nabuuza mukwano gwe kiki ekyali kigenda mu maaso. Mukwano gwe yagamba, “Tuli kitundu ku kibiina ekigenda mu maaso nokubuulirira enjiri eyebeweru nga Wesley bwe yali akola. Oluusi n’oluusi, tugenda mu kifo eky’olukale okubuulira.” Wabula, omusajja yetegereza omukazi yali ayimiridde mu kifo ekiyitamu abantu abatono, si bangi abaali bamuwuliriza, era enkola ye ey’okubuulira teyali nnungi kusikiriza bantu abali wabweru okuwuliriza. Yali agezaako okutwala mu maaso empisa eyokubuulira wabweru, naye yali amaze okufiirwa buli kintu kyonna ekyali kifuula enkola eno ennungi.
Enkola ziteekwa okukoppebwa okusinziira ku mbeera eziriwo. Abantu abamu bakitwala nti waliwo enkola emu yokka ey’okubuulira enjiri, ne bagenda mu maaso nokukozesa enkola ezitakola. Ebiseera ebimu abantu abamu balowooza nti enkola ezikola obulungi awalala zijja kukola nabuli wantu wonna, naye ekyo si kituufu.
Mu bitundu bingi ekkanisa ebadde ebuulira nga bagenda bakonkona ku nzigi zabantu nnyumba ku nnyumba . Enkola eyo evuddwemu abantu bangi abakyuse, Naye tesobola kukola mu buli kifo kyonna.
Amakanisa agamu gagula bbaasi okuleeta abantu mu kkanisa. Ku Ssande ku makya, bavuga bbaasi okuyita mu miriraano nga bakuŋŋaanya abantu. Abantu bangi bakyuse okuyita mu buweereza bwa bbaasi, naye enkola eyo tekola mu buli kifo.
Amakanisa mangi gabuulira enjiri eri ekibiina ekikuŋŋaanye abajja ku kkanisa ku Ssande. Bayita abantu okujja mu maaso okufukamira okusaba okusonyiyibwa ebibi byabwe. Enkumi nenkumi zabantu bakyuse okuyita mu nkola eno, naye abatakkiriza abasinga tebajja mu kkanisa. Abantu bangi tebajja kuwulira njiri okujjako nga agigabanye nabo mu kunyumya.
Omutume Pawulo yali kyakulabirako mu ku koppa enkola ez’okubuulira enjiri. Yali asobola okwogerera mu Yeekaalu za Bayudaaya kubanga yali muyigiriza mu Bayudaaya atuukanye n’omutindo, era yabannyonnyola nti Yesu ye Masiya. Yayogereranga ne mu bifo abantu nga bakuŋŋaanye okubabuulira ebirowoozo bye ebyamagezi. Ebiseera ebimu yayogereranga mu butale. Yateranga, okwogera eri ebibiina mu maka.
Abantu bakozesa enkola nnyingi ez’enjawulo okutandika okwobuulira enjiri. Amakanisa agamu gakozesa ebibuuzo okunoonyereza. Bagenda bayitayita mu bantu nga babuuza ebibuuzo nga bino: “Olowooza ekkanisa yandibadde ekola ki mu bantu? Abakristaayo kiki kye bakkiriza ekisinga omugaso? Wandinnyonnyodde nti Omukrisaayo yaani? Omuntu afuuka atya Omukristaayo?” Oluvannyuma lw’okuwuliriza n’obugumiikiriza ebirowoozo byomuntu, Omukristaayo asobola okubuuza, “Nkubuulire kyetukkiriza nti Baibuli kyegamba Omukristaayo kyali?”
Ebiseera ebimu ababuulizi benjiri mu kifo eky’olukale bawulirizibwa nga bakuba ekifaananyi ekiraga enjiri bweri. Abalala bakuba ebifaananyi ne cooka. Ababuulizi abamu bateeka ebifaananyi ebirung ku lubaawo nga bwe banyumya olugero.[1]
Amakanisa agamu bategeka emisomo ku musomo oguli mu nkola abantu gwe betaaga mu kitundu kyabwe. Omusomo gusobola okuba nga gukwata ku bufumbo, okukuza abaana, ennono zebyenfuna, eby’obulamu, oba okutendekebwa okukola omulimu ogwengeri yonna. Ekkanisa eba ekola ekintu kirungi bwekola ku byetaago bya bantu. Ekkanisa erina obuvunaanyizibwa obw’okulaga engeri amazima ga Baibuli gye gakola mu bulamu obwa buli lunaku. Omusomo gusobola obutalaga njiri butereevu, naye gusomesa amazima ga Baibuli era ne guteekawo enkolagana wakati wekkanisa ne miriraano.
Amakanisa agamu gatandiseewo ekifo ekyokusabiramu ekyakaseera mu kifo kyolukale abantu abangi webayita. Bateekawo ekipande ekisoma nti “Ekifo Kyokusabiramu” era ne bewaayo okusaba nabantu abayitawo. Babuuza nti, “Olina ekyetaago kyewandyagadde nkisabire?” Balaga okufaayo ku byetaago ne batatandika kuwakana buwakanyi. Oluusi, bafuna omukisa ogwokugabana enjiri.[2]
Ekintu ekyomugaso ekisinga mu nkola ey’okubuulira enjiiri kiri nti enjiri erina okubuulirwa mu ngeri etegeerekeka eri abantu abetaaga okugiwulira. Olw’okuba nga Katonda awa amaanyi Ekigambo kye Omwoyo Omutukuvu nalumiriza abo abawuliriza, enkola ey’okubuulira enjiri ebeera nga ekola bulungi singa ebuulira enjiri butereevu mu ngeri etegeerekeka.
Okusomooza eri ekkanisa mu buli kitundu ekiseera kyonna kwe kuzuula engeri abantu gyebasobola okutuwuliriza nokubuulira enjiri mu bantu bonna mu kitundu.
► Amakanisa mu kibuga kyo gakola gatya abantu okugawuliriza? Enkola ezo zibuulira enjiri?
Enkola esinga okubeera ennungi ey’okubuulira enjiri ebeerawo nga omuntu abuulira burereevu enjiri omuntu omulala amumanyi era amwesiga.
Omugoberezi wa Kristo abeera mu buwanguzi obusinga bwaba abuulira mikwano gye ne babeera nabo kubanga baba balabye ekyokulabirako ekyobulamu bwe. Singa ekyokulabirako kye kibeera kirungi, bajja kuba nga bassaamu ekitiibwa obujulizi bwe. Kyamugaso omukkiriza okulaga okukkiriza kwe abantu bulijjo bategeere nti Mukristaayo. Talina kutya abantu okumulaba nga asoma Baibuli oba nga asaba. Abantu abamumanyi tebalina kwewuunya bwe bategeera nti mukkiriza.
Omugoberezi wa Kristo alina okuweebwa ekitiibwa ku ssomero oba ku mulimu nabantu wadde abatayagala Bukristaayo. Nababntu abamuyigganya bajja kussaamu ekitiibwa ekyokulabirako kye singa abeera nga agenda mu maaso mu bikolwa bye ne byalowooza. Abantu abamu bajja gyali okubasabirako n’okubabudaabuda.
Abantu abamu balowooza nti balina okumanyira omuntu akabanga nga tebannaba kumubuulira. Bagezaako okufuuka abomukwano nga tebannaba kwogera na muntu ku Katonda. Kituufu nti omuntu atera kuwuliriza mukwano gwe. Wabula, kisoboka okulaga okufaayo n’okwagala mu muntu amangu ddala. Singa tetuyiga ngeri yakugabana njiri nabantu abalala be tusisinkana, tujja kufiirwa emikisa mingi egyokubuulira obulungi. Essomo eryayita ku “Okuggulawo Enzigi” lituwa enkola ezokutandikamu emboozi ku njiri.
Omuntu omu yagamba, “Ekiseera kyonna wembeera nzekka n’omuntu eddakika ntono, nzikozesa nga okusisinkana Katonda kwategese.” Akkiriza nti Katonda amuwa basisinkana asobola okubabuulira enjiri.
Olina ekintu kyosobola okukola okubunyisa enjiri Pawulo omutume kye yali tasobola kukola.
Tulina enkola eyokubunyisa enjiri etaaliwo mu kkanisa okumala ebyasa bingi: obubaka busobola okukubibwa ku mpapula nebyuma.
► Kiki ky’olowooza ekyandibadde eky’enjawulo ku buweereza nga kyapa tekinnabaawo?
Gezaako okulowooza ku buweeereza nga okukuba mu kyapa tekunnabawo. Buli kopi y’ekitabo yali yetaaga ennaku eziwera okuwandiikibwa omuntu omuyivu kubanga kyawandiikibwanga na mikono. Osobola okulowooza nti ebitabo kati bya bbeeyi nnyo, naye lowooza okugula ekitabo omuwnendio gwe gumu gwe wandisasudde okukozesa omuntu omukugu ennaku 10 zaakoze.
Kumpi tewaali muntu eyalina ebyawandiikibwa nga bibye. N’omusumba ngayinza obutabeera na Baibulli nzijuvu. Teebereza singa tewalina mukisa gwa kusoma Baibuli awaka.
Okutendeka abasumba kwalingawo okusinga mu kwogera bwogezi, era baagezangako okujjukira ebyo bye bawulidde. Tewaaliwo ngeri yakuweereza okutendeka kuno nga kukubiddwa mu kyapa mu bifo ebirala. Awatali kukuba mu kyapa, tewali kyali kisobola kuwandiikibwa nagugabibwa mu bungi.
► Ngeri ki okukuba mu kyapa gye kuyambamu okubunyisa enjiri?
Obupapula obuliok obubaka bwa Baibuli buba butono obukubiddwa mu kyapa nga buliko ebigambo, ebitera okuba nga byogera ku njiri. Abakkiriza basobola okubuwa abantu be basisinkana. Busobola n’okugabibwa mu bungi mu kifo ekyolukale. Busobola okuteekebwa mu bifo abantu we banaabusanga okubusoma.
Singa omuntu aba tabuulidde njiri kimala, okugaba obupapula buno ebeera ntandikwa nnungi.
Akapula kalina okubeera mu langi ennungi n’omutwe nga omulungi. Bwoba nga ogabira abantu obupapula ku kkubo oba ekifo ekirala ekyolukale, mwenya nga bwobalamusaako. Osobola okugamba, “Alo, wabadde okufuna ku kamu ku buno?” Kino kibaleetera okwagala okumanya kiki ekirimu.
Kirabika nga abantu abasinga obungi abatayagala bupapula bwobawa. Abantu bangi basobola okubusuula nga tebannaba na kubusoma. Wabula, ebivaamu biba birungi, nabyo. Abantu bakyuka olwobubaka bwe baasoma ku kapapula. Kibeerawo nti oyinza obutamanya ebiva mu bupapula bwogabye.
[1]Ebiseera ebimu abantu balowooza ku byetaago ebimu ebyaddala mu bulamu. Nga tebalina mmere emala oba awokusula awalungi oba obujjanjabi. Muli baba bawulira nti ebyetaago ebyo bikulu nnyo okusinga ebyetaago eby’omwoyo. Ekkanisa esobola okukola ku byetaago ebyaddala nga emu ku ngeri y’okugabana enjiri. Ekizibu ekinene kiri nti okufaayo kwe kkanisa kujja kubeera ku byetaago ebyensi okusinga ebyetaago eby’omwoyo, nga era abantu abatali balokole bye batunuulira.
Ekkanisa erina okukola ku byetaago ebyaddala naye erina okukuuma ebikolebwa ebimu ebissa essira ku kukulembeza eby’omwoyo.
1. Balina okunnyonnyola nti bagabana okwagala kwa Katonda bwe bakola ku byetaago.
2. Balina okukolera awamu nga amaka ag’okukkiriza, okusinga okufuuka ekitongole ekyawukanye ku kkanisa
3. Balina okuyita abantu okwegatta ku bumu bwe kkanisa abantu gye babeera buli omu nga afaayo ku munne.
4. Balina okugabana enjiri, nga basomesa nti obulamu obutaggwawo nemikisa biva mu kumanya Katonda.
Obuweereza bungi obulina entegeka ezikola ku byetaago byensi. Bakola ku byetaago ebyabantu mu kitundu okusinziira ku busobozi bwebyo bye balina. Ekigendererwa kyabwe kwe kutondawo emyagaanya egy’okugabana enjiri. Balowooza nti okuyamba abantu ne bigendererwa ebyaddala kiggya kubafuula mikwano gyabwe babe nga babatunuuliza eri enjiri. Enkola eri nteekateeka, ne kuddako enkolagana, ate enjiri neddako.
Waliwo engeri nnyingi enteekateeka mwe zisobolera okukyama. Obuyambi busobola obutateekawo nkolagana yonna okujjako enkolagana eyomugabi/naweebwa. Ebiseera ebimu enjiri efaanana okuba eyeeyawudde ku bintu ebigabibwa, nabantu basobola okufuna obuyambi nga tebaagala njiri. Nabantu abakola enteekateeka zino beemalira nnyo mu kugaba obuyambi ne batagabana njiri.
Enkola erina okwetoolozebwa. Ekkanisa erina okussa essira ku njiri nga ekintu ekisookerwako eri buli muntu.
Ekkanisa bwe yanjula enjiri eri ensi, bateekwa okubeera abesigwa okuteekamu enyinnyonnyola ey’obulamu obuggya mu kkanisa. Obulokozi si kusalawo kwa muntu omu, okuleka omuntu obwomu mu bulamu obutali bwa bulijjo, obuggya. Abatali bakkiriza tebajja kwanguyirwa kukkiriza njiri okujjako nga basikirizibwa abantu abakkiriza aboolesa enjiri.
Mu buweereza bwa Yesu nabatume, tulaba nti enjiri ge mawulire amalungi ag’obwakabaka bwa Katonda. Bwe bubaka omwonoonyi okuba ngasobola okusonyiyibwa nokutandika enkolagana ne Katonda. Asumululwa okuva mu maanyi agekibi nafuuka ekitonde ekiggya. Ayingira amaka ag’okukkiriza baganda be ne bannyina ab’omwoyo gye bamudizaamu amaanyi n’okumuyamba ku byetaago bye.
Ekkanisa erina okulaba omulimu gwayo omukulu okubuulira enjiri. Ekkanisa kini erina okukikola obutasalako. Buli omu alina okumanya nti okukolerera okulokoka kwe myoyo gwe mulimu gwe kkanisa. Awo, ekkanisa esikiriza abantu abatuufu. Esikiriza abantu abaagala enjiri. Abantu bano bajja mu nkolagana nekkanisa, awo nno obuweereza obw’enjiri butondawo enkolagana.
Awo, Ekkanisa eyamba abantu abali mu nkolagana nekkanisa. Oba olyawo abantu abo bonna teannafuuka bakkiriza, naye bali kimu nkolagana era basikirizibwa obuweereza bw’enjiri obw’ekkanisa.
Kale, enkola ekyusiddwa eba Njiri, nekuddako enkolagana, ekiddako kuyamba (si nteekateeka). Ekkanisa terina kubeera kitongole ekikola enteekateeka ezokuyamba. Mu kifo kyekyo, Ekkanisa kye kibiina kyabantu abayamba abantu abali mu nkolagana nabo. Singa batandika enteekateeka, abantu bajja kujja lwa nteekateeka nga tebalina nkolagana.
“Abaminsane mu Buyindi, Uganda, and ne bifo ebirala bavunaanibwa okuba nga ‘bagula abantu okukyuka’ nga babawa ssente, Okubayambako mu njala, okubasomesa, n’okubawa ebyobulamu ebirungi, oba okubawa ebintu ebirala bo bye baagala.”
- J. Herbert Kane,
“The Work of Evangelism”
(1) Tunuulira enkola ez’okubuulira enjiri ezikozesebwa ekkanisa mu kitundu kyo. Enkola zino ziyamba abantu abali ebweru wekkanisa okufaayo kubiyigirizibwa mu kkanisa? Babuulira enjiri netegeeerekeka bulungi? Wandiika empapula 2-3 kwebyo byewetegerezza.
(2) Gaba obupapula wakiri 100. Wandiika ebigambo bitono nga ennyonnyola bye wayitamu.
19 lessons · Oluganda
Your print request has been recorded. Your download should begin shortly.
Download Print-Ready FileFree to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.
Questions? info@shepherdsglobal.org
$21.99 each
Added to Cart
By submitting your contact info, you agree to receive occasional email updates about this ministry.
Download audio files for offline listening
No audio files are available for this course yet.
Check back soon or visit our audio courses page.
Share this free course with others