Ennyanjula
► Tuteekeddwa okusabira abatakkiriza? Wa mu Baibuli awatugamba nti tusabire abatakkiriza?
Si kyangu okusanga olunyiriri mu Baibuli olwogera obutereevu nti tulina okusabira abatakkiriza okukyuka. Ennyiriri ze tusangamu zezo ezitugamba okusaba enjiri ebune wonna (2 Abasessaloniika 3:1, Abaefeso 6:19, Abakkolosaayi 4:4, Ebikolwa by’Abatume 4:29).
Tumanyi nti tulina okusabira abonoonyi bakyuke nga bwe tusabira ne njiri okubuulirwa. Tugambibwa okusabira buli muntu, omuli okusaba nti abatakkiriza basobole okukyuka (1 Timoseewo 2:1). Tugambibwa okugezaako okuleeta abantu eri okwenenya (2 Timoseewo 2:25), era kiba kisaanidde okusaba okuyambibwa Katonda mu mulimmu ogwo.