Omwonoonyi ateenenyezza abeera mulabe wa Katonda (Abaruumi 5:10). Omwonoonyi tasobola kubeera mu nkolagana ne Katonda okujjako ebibi byakola Katonda nga bimujjiddwako.
[1]Omwonoonyi era ali mu mbeera emufuula okubeera atasaanidde nkolagana ne Katonda. Omwonoonyi abeera mwonoonefu mu byayagalabyonna (Abaefeso 2:3). Kubanga muddu eri ekibi, omwonoonyi Talina maanyi gakyusa mbeera ye. (Soma Abaruumi 6:20, Abaruumi 7:23.)
Kati omwonoonyi yetaaga bulokozi bufaanana butya? Olw’okuba nga omwonoonyi alina omusango, obulokozi butegeeza kusonyiyibwa. Olw’okuba nti mulabe wa Katonda, obulokozi butegeeza kutabagana. Olw’okuba nti mwonoonefu, obulokozi butegeeza kunaazibwa. Olwokuba nti Talina maanyi, obulokozi butegeeza kununulwa. Bino bye bimu ku bitono ku bulokozi omwonoonyi bye yetaaga.
“Engeri omwonoonyi gyayinza okwejjeerezebwa mu maaso ga Katonda kibuuzo kikulu eri buli muntu, kuba tewasobola kubeerawo Mirembe egyamazima oba essanyu erikuumiddwa nga tuli balabe ba Katonda, newankubadde kati oba mu butaggwawo.”
- John Wesley, mu kubuulira okuliko omutwe “OKwejjeerezebwa olw’okukkiriza”
Okusoberwa
Abantu baali tebasobola kusasulira bibi byabwe. Emu ku nsonga eri nti buli kintu kyonna kyetulina kya Katonda. Ensonga esingira ddala eri nti ekibi kuba kusobya ku Katonda atakoma, era tawaaliwo kintu kya muwendo ogutakoma abantu kye balina okusasula.
Tewaali kintu kyonna abantu kye baali basobola okukola ku kyetaago kyabwe; olw’ekyo, tewali kyetaago kyali kyetagisa bo okutuukiriza obulokozi. (Soma Abaggalatiya 3:21.) Singa kyali kuba nti kisoboka okutuukiriza obulokozi bwabwe, kyandibadde tekyetaagisa Yesu kufa ku musalaba. (Soma Abaggalatiya 2:21.)
Kubanga Katonda mutukuvu era omwenkanya, alina okusala omu nga asinziira mu mazima n’obwenkanya (Abaruumi 2:5-6). Ekigambo okutangirira kyogera ku kuba nti ssaddaaka ya Yesu ye ngeri gye tusobola okutabagana ne Katonda.
Teebereza singa ssaddaaka ya Kristo teyaliiwo. Kiri kitya singa Katonda yasonyiwa busonyiyi ebibi awatali kutangirira?
Singa Katonda yasonyiwa ebibi awatali kutangirira, kyandirabise nga ekibi ekitali kikulu. Kyandirabise nga Katonda atali mwenkanya, era nga si mutukuvu. Kyandirabise nga mu maaso ga Katonda awaliwo enjawulo entono ennyo wakati w’omuntu akola ekituufu n’omuntu akola ekikyamu.
Singa okusonyiwa kwaliwo awatali kutangirira, Katonda yandibade tasinzibwa nga Katonda omwenkanya era omutukuvu nga bwali. Okusonyiwa awatali kutangirira kyandibadde ku nkomerero kiswaza Katonda mu kifo kyokumuweesa ekitiibwa, awo ekyo kyali tekisoboka kukolebwa.
Naye Katonda wa kwagala era ayagala okusonyiwa. Teyeyagala kuleka bantu bonna mu mbeera ey’ekibi, okubula emirembe gyonna, wadde nga kino kye kyali kibagwanira.
Ssaddaaka ya Yesu ku musalaba yakola ssaddaaka ey’omuwendo ogutakoma eyali yetaagisa. Yesu Yalina ebisaanyizo (1) okuba nga teyalina kibi (atuukiridde nga teyetaaga bulokozi, (2 Abakkolinso 5:21), ne (2) okubeera nga Katonda ate muntu.
Okutangirira kuwa ekyo ekyetaagisa ekisinziirwako okusonyiyibwa. Kati Katonda asobola okusonyiwa omuntu eyenenyezza n’akkiriza ekisuubizo kye. Tewali muntu ategeera ssaddaaka ku musalaba asobola okulowooza nti ekibi si kibi eri Katonda.
Okutangirira kuwa ekkubo Katonda omwenkanya mwasobolera okutwala omwonoonyi akkiriza ekisuubizo nga omutuukirivu. (Soma Abaruumi 3:26.) Abaruumi 3:20-26 atuwa ensonga eyamagezi ngeri ki okutangirira gye kukolamu.
Baibuli etugamba nti engeri ey’obulokozi Katonda gye yateekawo ye ngeri yokka. Singa omuntu agaana obulokozi obw’ekisa okuyita mu kukkiriza mu Kristo, tasobola kulokoka. (Soma Makko 16:15-16; Ebikolwa by’Abatume 4:12; Abaebbulaniya 2:3.)
Okwenenya kwe kukyuka n’otunula gyobadde okubye omugongo. Mu bya Katonda, kitegeeza nti omwonoonyi yeeraba nga alina omusango asaana okubonerezebwa, naye nga mwetegefu okuleka ebibi bye.
Omubi aleke ekkubo lye, n'omuntu atali mutuukirivu aleke ebirowoozo bye; era akomewo eri Mukama, naye anaamusaasira; adde eri Katonda waffe, kubanga anaasonyiyira ddala nnyo (Isaaya 55:7).
Okwenenya tekitegeeza nti omwonoonyi ateekwa okutereeza obulamu bwe okwefuula omutuukirivu Katonda alyoke amusonyiwe. Ekyo tekisoboka. naye omwonoonyi ateekwa okuba omumalirirvu Katonda okuba nga amulokola mu bibi bye.
► Obulokozi bufunibwa lwa kisa, kati lwaki okwenenya kwetaagisa olw’obulokozi?
Okukkiriza kwe kwetaagisa kyokka okusonyiyibwa, naye okukkiriza olw’obulokozi tekuyinza kubeerawo awatali kwenenya. Singa omuntu tamalirirra kwenenya, aba tayagala kulokolebwa kuva mu kibi.
Singa Katonda yasonyiwa abantu abagenda mu maaso n’okukola ekibi, ekyo kyandibadde kimuweebula nga omulamuzi omutuukirivu ow’ensi. Okwenenya kyetaagisa, kubanga singa omuntu teyeenenya, aba takkiriza bubi bwa kibi. Singa aba talaba nsonga lwaki alina okuva mu kibi, awo aba talaba nsonga lwaki asonyiyibwa.
Omuntu singa teyeeraba kubeera na musango mu mazima, atalina kwewolereza, era asaanira ekibonerezo, aba teyeenenyezza mu bujjuvu. Bwakkiriza nti mwonoonyi naye ngaayagala okugenda mu maaso n’okwonoona, okweneenya kwe tekutuukiridde, kubanga ayagala kusigala ngakola ekyo kyeyagamaba nti akigaanyi.
Okukkiriza Okulokola
► Singa omuntu abeera n’okukkiriza okulokola, aba akkirizaki?
N'oyo gwe mutango olw'ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe fekka, era naye n'olw'ensi yonna (1 Yokaana 2:2).
Okuwooyawooya kitegeeza ssaddaaka etusobozesa okusonyiyibwa. Tewali kyetaagisa okwongereza ku ssaddaaka ya Kristo ffe okusonyiyibwa.
(3) Yesu yazuukira mu bafu, nawangula ekibi n’okufa.
...kubanga bw'oyatula Yesu nga ye Mukama n'akamwa ko, n'okkiriza mu mutima gwo nti Katonda yamuzuukiza mu bafu, olirokoka (Abaruumi 10:9).
Engeri yokka ekibi n’okufa gye byali birina okuwangulwa yali Yesu kuzuukira mu bafu. Yesu yazuukirira obulamu nate, ne kikakasa obuwanguzi bwe obujjuvu ku byombi.
(4) Katonda amusonyiwa ku kakwakkulizo ak’okukkiriza kwokka.
Bwe twatula ebibi byaffe, ye wa mazima era omutuukirivu okutusonyiwa ebibi byaffe, n'okutunaazaako byonna ebitali byabutuukirivu (1 Yokaana 1:9).
Singa omuntu alowooza nti waliwo obukwakkulizo obulala obw’okulokoka, aba asuubira okulokolebwa ne bikolwa mu kifo ky’okulokolebwa olw’ekisa kyokka.
Obukakafu
► Abantu kinnoomu basobola batya okubeera abakakafu nti ddala baalokolebwa?
Abantu abamu besigama ku ngeri gye bawuliramu, naye engeri gy’owuliramu ekyukakyuka era esobola okukuwabya.
Baibuli etugamba nti tusobola okumanyira ddala nti twalokoka (1 Yokaana 5:13). Tusobola okubeera nobuvumu nti Katonda yatukkiriza. Tetulina kubeera mu kutya, kubanga Omwoyo wa Katonda atukakasa nti twafuuka baana ba Katonda. Omutume Pawulo agamaba nti Omwoyo Omutukuvu ategeeza emyoyo gyaffe nti tuli baana ba Katonda (Abaruumi 8:15-16).
Obukakafu buno butuukiridde ekyenkanidde awo okuba nti tetulina kutya olunaku olwokusala omusango. (Soma 1 Yokaana 4:17.) Abantu abamu bagamba nti basuubira nti bajja kukkirizibwa okuyingira mu ggulu, naye tusobola okufuna obukakafu obusinga ku obwo. Tekimala kukkiriza nti obulokozi buweebwa abantu okutwaliza awamu; omuntu ateekwa okumanya nti ye kennyini mulokole.
Obulamu obukyufu bwe bukakafu nti omuntu yalokoka, naye obukakafu tebusooka kubeerawo mu kasera akasookera ddala. Ebiva mu kulokoka biba tebinnafuna kaseera kulabika. Olwekyo, mu kiseera kye birabikiramu, obulamu obukyufu si bwe bwesigamako obukakafu.
Omukkiriza asobola okubeera omukakafu ku bulokozi bwe bwamanya nti agoberera ekkubo erye byawandiikibwa eri obulokozi. Singa omuntu yenenyeza ddala mu mazima nakkiriza nga Baibuli bwe lagirira, alina olukisa okukkiriza nti Katonda amusonyiwa era afuuse mwana wa Katonda.
Singa omuntu agezaako okuwulira nti yalokoka nga teyeenenyeza ddala, ajja kusoberwa era ayinza okwerimba yekka.
Okutabaganya: Ekigambo kino kitegeeza nti abo abaali abalabe kati bali mu ddembe. Mu bulokozi, Katonda atutabaganya naye kennyini era tuli mu ddembe naye. (Soma 2 Abakkolinso 5:19; Abaruumi 5:1. Ennyiriri zino zogera ku kwejjeerezebwa n’okutabagana.)
Okumatiza: Ekigambo kino kitegeeza nti ekiwandiiko kikkiriziddwa. Mu bulokozi, ebibi byaffe ebiwandiikiddwa bisanguddwa. (Soma Abaebbulaniya 8:12.)
Okuwooyawooya: Kino ekigambo kyogera ku ekintu ekiweebwayo ekujjjawo obusungu bw’omuntu. Mu bulokozi, ssaddaaka ya Yesu ejjawo obusungu bwa Katonda obutuukirivu obwali gye tuli. (Soma 1 Yokaana 2:2.)
Okulokolebwa: Ekigambo kino kitegeeza nti omuntu anunuddwaoukuva mu buyinza bw’omulala. Mu bulokozi, tujjibwa okuva mu buyinza bwa Setaani n’ekibi. (Soma Lukka 1:74; Abaruumi 6:6, 12-18.)
Okununulibwa: Ekigambo kino kitegeeza nti omuwendo gwasasulwa omuntu asobole okubeera oweddembe. Mu bulokozi, okufa kwa Yesu gwe muwendo ffe tubeere ab’eddembe okuva mu buddu ne kibonerezo eky’ekibi. (Soma Abaefeso 1:7; Tito 2:14.)
Okwejjeerezebwa: Ekigambo kino kitegeeza omuntu alangiriddwa nti mutuukirivu, oba atalina musango. Mu bulokozi, omwonoonyi alina omusango atwalibwa okubeera omutuukirivu kubanga Yesu yafa mu kifo kye. (Soma Abaruumi 5:1; 2 Abakkolinso 5:19. Ennyiriri zino zogera ku byombi okwejjeerezebwa n’okutabagana.)
Okutukuzibwa: Ekigambo kino kitegeeza nti omuntu afuulibwa mutukuvu. Mu bulokozi, omwonoonyi alina omusango akyusibwa okubeera omwana omutukuvu owa Katonda. Ebbaluwa zino ezisinga zogera ku bakkiriza nga “Abatunkuvu.” (Soma Abaefeso 1:1, Abafiripi 1:1, Abakkolosaayi 1:2.)
Okufuulibwa Omwana: Ekigambo kino kitegeeza omuntu afuuka omwana w’omulala mu mateeka. Mu buklokozi tufuuka abaana ba Katonda. (Soma Yokaana 1:12; Abaruumi 8:15.)
Okuzibwa Obuggya / Okuzaalibwa Obuggya: Ekigambo kino kitegeeza nti omuntu atandika obulamu nate. Mu bulokozi, omukkiriza atandika obulamu obuggya n’okuzuukira okw’obulamu obw’omwoyo mu ye. (Soma Abaefeso 2:1; Yokaana 3:3, 5.)
Okuteekako Envumbo: Ekigambo kino kitegeeza nti ekintu kirambiddwa okulaga ani nannyini kyo. Mu bulokozi, Omwoyo Omutukuvu mu ffe atufaananya omuntu owa Katonda. (Soma Abaefeso 1:13-14.)
Ensobi Ey’okwewala: Eddiini Etaliimun Kwenenya
Omukulembeze w’ekibiina wetegereze: memba w’ekibiina kino asobola okunnyonnyola ekitundu kino.
Waliwo ekika ky’omuntu alowooza amangu nti mulokole bwawulira obulokozi bufunibwa lwa kisa okuyita mu kukkiriza. Teyeenenya mu mazima kubanga teyalaba nti yetaaga okwenenya. Teyeeraba nga omwonoonyi asaanira okusalirwa omusango. Alowooza nti ekisa kitegeeza nti asobola okukola nga bwayagala. Olw’okuba nti akkiriza amazima g’Obukristaayo, alowooza nti abeera Mukristaayo, wadde nga takyukanga. Teyawaayo kwagala kwe okwo kwerowoozaako; mu kifo kyekyo, yakkiriza Katonda okubeera ekitundu ku bulamu bwe, era akaybeerawo okusingira ddala mu kwagala kwe ye. Eno si ye ntandikwa yenkolagana ey’obulokozi ne Katonda, okusinziira ku byawandiikibwa kye binnyonnyola.
Obulamu, okufa, n’okuzuukira ebya Yesu Kristo provide atonement for the sinsbiwa okutangirira olw’ebibi eby’ensi. Buli muntu alina omusango ogw’ekibi era talina maanyi agelokola. Buli mwonoonyi eyeenenya asobola okufuna ekisa kya Katonda olw’okukkiriza. Omukkiriza asonyiyibwa era anunulibwa mu manyi ag’ekibi ne kibonerezo. Omwoyo Omutukuvu akyusa omukkiriza okuva mu kubeera omwonoonyi alina omusango nafuuka omutukuvu asinza Katonda. Tewali ngeri ndala yonna ey’obulokozi. Ebitonde okutwaliza awamu byalokolebwa era bijja kuzzibwawo Katonda nga bwe byali mu kusooka.
Obulokozi mu Ndagaano Enkadde
Omukulembeze w’ekibiina w’etegereze: Ekitundu kino ne kiddako byombi si byabuwaze.Ekibiina kyisobola okubisoma bamemba bwebaba nga baagala emitwe gino.
Mu Ndagaano Enkadde, Katonda yateekaawo enkola ey’okusinza nebiweebwayo. The Ssaddaaka tezaleetawo bulokozi mu ngeri yeemu nga okufa kwa Kristo bwe kwakola. Baibuli etugamba nti “kubanga tekiyinzika omusaayi gw'ente ennume n'embuzi okuggyawo ebibi” (Abaebbulaniya 10:4). Kati lwaki ssaddaaka zaweebwangayo? Zaali ngeri za kusinza ezaali ziraga ssaddaaka ya Kristo eyali egenda okubeerawo mu maaso (Abaebbulaniya 10:1).
Ekyo tekitegeeza nti obulokozi tebwaliwo okutuusa mu biseera eby’Endagaano Empya. Omutume Pawulo bwe yannyonnyola enjigiriza ey’okwejjeerezebwa olw’ekisa okuyita mu kukikiriza, yawa eby’okkulabirako ebya Ibulayimu ne Dawudi okulaga nti tekyali kiroowoozo kipya (Abaruumi 4:1-8). Yesu yagamba nti Nikoodemu yalina okuba nga amanyi ku kuzaalibwa obuggya kubanga yali muyigiriza w’Endagaano Enkadde (Yokaana 3:10). Pawulo yagamaba Timoseewo nti ebyawandiikibwa mu Ndagaano Enkadde biggya kumufuula mugezi olw’obulokozi (2 Timoseewo 3:15). Awo, enjiri yaliwo mu Ndagaano Enkadde wadde nga tekyannyonnyolwa mu bigambo ebitegeerekeka obulungi mu Ndagaano Empya.
Waaliwo abamu mubiseera by’Endagaano Enkadde abategeera ekisa. Tebaamanya byonna bikwata ku kutangirira oba engeri gye kukolamu, naye bakkiriza nti Katonda yali ateekawo eky’okusinziirako okusonyiwa. Ssaddaaka zaali ngeri yakulagamu okukkiriza okwo, (nga era bwe tulina engeri z’okusinza leero (okugeza, nga okusembera ku meeza ya Mukama waffe). Ssaddaaka zaali tezirina makulu bwezitaweebwangayo n’okukkiriza n’okugonda, nga era engeri zaffe ez’okuusinza bwe zitalina makulu bwezitaba nga ziraga emitima gyaffe n’obulamu ebyewaddeyo eri Katonda. Zabbuli 51 ne Isaaya 1:11-18 biraga nti okwenenya n’okkukkiriza byali bikulu mu biseera eby’Endagaano Enkadde.
Zabbuli 85, eyawandiikibwa emyaka mingi nga okutangirira kwa Kristo tekunnabaawo, eraga bulungi ekisa kya Katonda ne ngeri gyasonyiwamu ekibi. Eyogera ku busungu bwe okubeera nga bukoma. Zabbuli 85:10 egamba, “Okusaasira n'amazima birabaganye; Obutuukirivu n'emirembe binywegeraganye.” Kino kifaananyi eky’ewuunyisa eky’obulokozi okuyita mu mu kutangirira. Awatali kutangirira, okusaasira kwa Katonda kwandibadde kukugirwa olwa mazima nti tulina omusango. Obutuukirivu bwa Katonda bwanditufudde balabe be mu kifo ky’okuleetawo emirembe. Mu kutangirira, obwenkanya butuukirizibwa, n’okusaasira ne kulagibwa.
Obulokozi Bw’ebitonde Byonna
Ebigambo okulokoka oba obulokozi bikozesebwa nnyo mu Baibuli. Byogera okusukka ku bulokozi obwa ssekinnoomu, obunnyonnyoddwako mu ssomo lino. Ebigambo bino byogera ku byakolebwa mu biseera ebyayita (Abaefeso 2:8), ebyo ebigenda bibeerawo mu kiseera kino (1 Abakkolinso 1:18), nebyo ebigenda okubeerawo gye buggya (Makko 13:13). Endowoooza eno esobola okwogera ku kiki ekibeerawo ku bantu ssekinnoomu (ekiteekeddwako essira mu ssomo lino) naye esobola okwogera ku bibinja bya bantu, nga Abayudaaya (Abaruumi 1:16), Abamawanga (Abaruumi 11:11), ab’omu nnyumba emu (Lukka 19:9), oba amaka (Abaebbulaniya 11:7), oba kisobola okwogera ku muntu alokolebwa okuva mu kabi akasobola okumukosa (Matayo 14:30).
Abantu abaasooka bwe bayonoona, ekikolimo kyajja ku bitonde byonna (Olubereberye 3:17). Obulokozi bwe butuukirizibwa, ebitonde birizzibwawo nga bwe byali mu kusooka.
Obulokozi butandika nakudda buggya okw’omwoyo. Abakkiriza balokolebwa okuva mu kibi, era babeera mu mikisa gya Katonda. Wabula, tebafunanga kununulibwa mu bintu ebyaleetebwa ekikolimo kye kibi. Bakyalina emibiri egikaddiwa n’okufa.
Obutonde bukyali wansi w’ekikolimo kye kibi. Tetulabanga ku nsi nga Katonda bwe yali agitonze nga teriimu kibi. Tulaba obutonde obujjudde ebitonde eby’omutawaana era ebitonde birwanagana byokka na byokka. Mu nsi yaffe, ebitonde bingi biteekwa okufa ebirala okusobola okubeerawo.
(1) Ebyawandiikibwa Ebiweereddwa Okusoma: Buli muyizi ajja kuweebwa ekimu ku byawandiikibwa bino wammanga. Nga okuyiga okuddako tekunnabaawo, oteekwa okusoma ebyawandiikibwa era owaandiike ku kyebyogera ku ky’okuyiga ku ssomo lino.
Free to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
No Changes – Course content must not be altered in any way.
No Profit Sales – Printed copies may not be sold for profit.
Free Use for Ministry – Churches, schools, and other training ministries may freely print and distribute copies—even if they charge tuition.
No Unauthorized Translations – Please contact us before translating any course into another language.
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.