Lwaki Baibuli yaggwa okuwandiika era tesobola kwongerwako.
Engeri Baibuli bweri nga yetandikirwako era erina obuyinza obwenkomeredde obw’enjigiriza.
Engeri Baibuli bweri ey’omugaso mu bulamu bw’Omukristaayo obwabulijjo.
Ekiwandiiko ky’ebikkiririzibwamu mu Bukristaayo ku Baibuli.
(2) Omuyizi ajja kwewala okuwuliriza obuyinza obukyamu oba okuyiga Baibuli ne kigendererwa ekikugiddwa.
Ennyanjula
Omukulembeze w’ekibiina wetegereze: Ekibiina kitera okutandika ne kigezo okuva mu ssomo eryayita n’okuyitaayita mu bigendererwa eby’essomo eryayita. Okuva nga lino bwe liri essomo erisooka, genda butereevu osome ebyawandiikibwa bino wammanga:
► Musomere wamu Zabbuli 119:1-16. Ebyawandiikibwa bino bitugamba ki ku Baibuli?
Katonda, Omutonzi w’ensi, ye yayogera. Katonda yebikkula n’alaga n’omugaso gw’ebyo bye yatonda. Amazima Katonda ge yatubikkulira gayitibwa kubikkulirwa. Waliwo ekitabo mu Baibuli ekiyitibwa “Okubikkulirwa,” naye ekigambo kubikkulirwa kisobola n’okukozesebwa ku mazima gonna Katonda geyabikkula.
► Makubo ki agamu Katonda mwe yabikkulira amazima gyetuli?
Engeri Ez’enjawulo Ez’Okubikkulirwa
Olw’okuba Katonda yatubikkulira amazima mu ngeri ez’enjawulo, twogera ku ngeri bbiri: Okubikkulirwa Okwawamu ne Okubikkulirwa Okw’enjawulo.
Okubikkulirwa Okwawamu
Okubikkulirwa okwawamu kyekyo Katonda kye yatulaga ekimukwatako okuyita mubitonde. Tulaba amagezi agewuunyisa n’amaanyi ga Katonda mu ngeri ensi gye yakolebwamu.
Ekitonde Katonda kye yatonda ekisinga okuba ekyawaggulu mu byonna ye muntu. Tuyiga ebintu ebimu ebifa ku Katonda bwe tutunuulira engeri abantu gyebaakolebwamu. Okuba nti tusobola okukubaganya ebirowoozo, okusanyukira ebintu ebirungi, n’okumanya enjawulo wakati w’ekituufu ne kitali kituufu (wadde nga si mu ngeri etuukiridde) kitulaga nti Omutonzi waffe ateekwa okubeera n’obusobozi obweddaala eryawaggulu. Tukimanyi nti Katonda ateekwa okuba oyo alowooza n’okwogera kubanga naffe tulina obusobozi obwo.
Olw’okuba Okubikkulirwa Okwawamu kutulaga nti Katonda asobola okwogera, tukitegeera nti Okubikkulirwa Okw’enjawulo kusobola oubeerawo. Olw’okuba nga Katonda asobola okwogera, kisoboka okubeerawo obubaka okuva eri Katonda era ne kitabo okuva gyali.
Olw’okubikkulirwa Okwawamu, abantu bamanyi nti eriyo Katonda, gwe bateekwa okugondera, era nti baamaladda okumujeemera. (Soma Abaruumi 1:20-21.)Naye okubikkulirwa okwawamu tekutulaga ngeri ki ey’okubeera ne nkolagana entuufu ne Katonda. Okubikkulirwa okwawamu kutulaga obwetaavu obw’okubikkulirwa okw’enjawulo kubanga kulaga nti abantu bonoonyi era tebalina kyakwekwasa mu maaso g’Omutonzi waabwe, naye tekutubuulira kyakukola.
Katonda yatuwa Okubikkulirwa Okw’enjawulo okuyita mu byawandiikibwa ebyaluŋŋamizibwa ne Yesu, Omwana we. Okubikkulirwa Okw’enjawulo kunnyonnyola embeera okubikkulirwa okwawamu kwetulaga okubeeramu: abaagwa era abalina omusango. Okubikkulirwa Okw’enjawulo kunnyonnyola, ne kutulaga okugwa n’ekibi, ne kutulaga ne kkubo ery’okutabaganamu ne Katonda.
Kuba akafaananyi ng’obadde tomanyi nti Baibuli weri. Omanyi nti waliwo Katonda. N’okimanya nti olina obuzibu ne Katonda. Tomanyi kiddako oluvannyuma lw’okufa. Tomanyi kigendererwa kyabulamu. Tomanyi ngeri yakutuukiriramu Katonda.
Era teebereza nti omuntu omu akulaga ekitabo nakugamba nti kyava wa Katonda okwanukula ebibuuzo ebyo? Osobola okuteebereza engeri ekitabo kino gyekisobola okubeeramu eky’omugaso?
► Baibuli yeeyogerako ki? Wa eby’okulabirako ebimu ebiwandiikiddwa okuva mu Baibuli ebiraga nti yeyogerako nti eva wa Katonda.
Leka twogere ku Baibuli kye yeeyogerako. Oluvannyuma, tujja kutunuulira obukakafu obulaga nti Baibuli ntuufu. Baibuli yeyogerako okubeera Ekigambo kya Katonda. Mu Ndagaano Enkadde, mulimu ebiwandiikiddwa ebisukka 3,000 ebiraga nti obubaka bwava wa Katonda, ngabitera okwogera obwogezi nti, “Mukama n'agamba….”[1] Yesu yatwala Endagaano Enkadde okubeera nga yaluŋŋamizibwa Katonda (Soma Matayo 5:17-18; Yokaana 10:35; Makko 12:36.) Abawandiisi b’Endagaano Empya balowooza Endagaano Enkadde okubeera nga yava wa Katonda. (Soma Ebikolwa by’Abatume 3:18; 2 Timoseewo 3:16; 2 Peetero 1:20-21.) Abawandiisi b’Endagaano Empya balowooza ebyawandiikibwa by’Endagaano Empya okubeera nga byaluŋŋamizibwa Katonda. (Soma 1 Abakkolinso 14:37; 2 Peetero 3:16.)
Singa omuntu aba takkiririza mu Baibuli kye yeyogerako, ateekwa okutunuulira obukakafu. Kubamu akafaananyi nate nti tolina kyomanyi ku Baibuli. Nga omanyi nti Katonda muntu era tasobola okwogera bwaba ngaayagadde. Olw’ekyo, omanyi nti ekitabo okuva eri Katonda kisoboka. Awo omuntu nakulaga ekitabo nakugamba nti kitabo ekiva eri Katonda.
► Osobola kumanya mu ngeri ki nti Baibuli ddala Kigambo kya Katonda? Wandikirowoozezza kubeera kitya?
Ate eri abo abali mu nkolagana ne Katonda, Omwoyo wa Katonda ayogera okuyita mu byawandiikibwa, nga bawa okutegeera n’okulumirizibwa. Engeri Omwoyo Omutukuvu *gyakozesaamu Baibuli ekakasa nti Kigambo kya Katonda (Soma Abaefeso 6:17.)
Nga tutambula mu nkolagana ne Katonda, tukizuulantiBaibulieragiraddala mu butuufuekikula kye ne ngeri gyakolamu naffe. Baibuli etulaga ekkubo mwetusobolera okutandika enkolagana ne Katonda ne ngeri ey’okweyongera mu maaso naye. Buno bwe bukakafu obulaga nti Baibuli Kigambo kya Katonda (Soma Zabbuli 119:1-2.).
Naye watya nga oyagala obukakafu obuteesigamye ku biki by’oyiseemu mu bulamu bwo obw’omwoyo? Abantu mu ddiini endala balina bye bayitamu eby’omwoyo nabo, naye ebyo bye baayitamu tebyesigamye ku mazima. Tumanya tutya nga eby’omwoyo bye tuyitamu byesigamye ku mazima?
► Waliwo obukakafu obulaga nti Baibuli ntuufu mu bintu byeyogerako?
Baibuli yawandiikibwa nabawandiisi abasukka mu 40, bangi ku bo buli omu yali tamanyi mulala, mu kiseera kya myaka 1,500. Tusobola kusuubira ki okuva mu kitabo bwekityo? Twandirowoozezza nti kyandibaddemu ensobi ezabuli kika n’okukontana. Naye lowooza ku bintu bino wammanga ebikwata ku Baibuli. Enkumi ne nkumi ez’ebifo eby’ogerwako mu Baibuli byamala okuzuulibwa webiri; enkumi ne nkumie z’ebyafaayo ebyaliwo nabantu ebyogerwako mu Baibuli byakakasibwa mu byafaayo; tewali kyali kizuuliddwa ekiwakanya ebyo ebyogerwako mu Baibuli; era Baibuli tesobola kukontana yokka. Ebiwandiiko bwe biti si bituufu ku kitabo kirala kyonna ekyali kiwandiikiddwa. Obukakafu kuwagira Baibuli kye yeyogerako nti yaluŋŋamizibwa Katonda.
Ebyawandiikibwa byonna ebitukuvu birina okuluŋŋamya kwa Katonda era bigasa olw'okuyigirizanga, olw'okunenyanga, olw'okutereezanga, olw'okubuulira okuli mu butuukirivu (2 Timoseewo 3:16).
Wadde nga Baibuli yakuulkutira mu mikono gya bantu okuwandiikibwa, okukkaatiriza kwe kyawandiikibwa kino kuli nti Baibuli yava eri Katonda. Olw’okuba nga Baibuli eva wa Katonda, yesigibwa olw’okuyigiriza. Esingawo nnyo kwekyo omuntu kye yandikoze ekisinga obulungi.
Okusookera ddala mutegeere kino, nti buli kigambo ekyabannabbi ekyawandiikibwa tekyajja nga kisinziira ku kunnyonnyola kwa nnabbi oyo. Kubanga tewali kigambo kyabunnabbi ekyali kireeteddwa mu kwagala kw'abantu, naye abantu baayogeranga ebyavanga eri Katonda, ngabakwatiddwa Omwoyo Omutukuvu (2 Peetero 1:20-21).
Mu nnyiriri zino 2 Peetero agamba nti abawandiisi baakwatibwanga Omwoyo Omutukuvu. Obutuufu bwa bawandiisi ba Baibuli tebwesigamanga ku kumanya kwabwe. Okuba nti baakwatibwanga, oba okutwalibwa, Omwoyo Omutukuvu mu kuwandiika kwabwe, kiraga nti okwesiga ebyawandiikibwa ku nkomerero kwesigamye ku Katonda. Baibuli yesigika nga Katonda bweyesigika.
Okuluŋŋamya Kwali Kufaanana Kutya?
► Makubo ki agamu abawandiisi ba Baibuli mwe baafuniranga amazima ga Katonda nga tebannaba kuwandiika?
Ebiseera ebimu abantu bewuunyanga engeri okuluŋŋamya gye kwakolangamu. Katonda yayogeranga atya amazima ge n’okukakasa nti gawandiikibwa bulungi? Ekintu ekisooka kye tulina okwetegereza ku ngeri Katonda gye yabikkulangamu kiri nti kwalimu engeri ez’enjawulo. Takugirwa kunkola emu yokka. (Soma Abaebbulaniya 1:1.)
Ebiseera ebimu Katonda yayogeranga mu ddoboozi eriwulikika, nga bweyayogera ne Musa (Okuva 33:11). Ebiseera ebirala yawanga birooto oba okwolesebwa, omuwandisi nabinnyonnyola.[1] Oba olyawo ekitundu ky’ebyawandiikibwa ekyaviira ddala obutereevu eri Katonda ne kiwandiikibwa ye ndagaano ne Isiraeri eyawandiikibwa n’engalo ya Katonda (Ekyamateeka Olwokubiri 9:10). Ebitundu ebimu eby’ebyawandiikibwa birabika okuba nga byayogerwanga abawandiisi ne bawandiika, nga ebitundu ebikulu mu Okuva, Eby’Abaleevi, ne Okubala bijja oluvannyuma lw’ebigambo, “Mukama n'agamba Musa nti…”
Okuluŋŋamya tekitegeeza nti Katonda yayogera ebigambo eri omuwandiisi mu ddoboozi eriwulikika. Tulaba enjawulo wakati wabantu ne mpandiika mu bawandiisi ab’enjawulo. Eky’okulabirako, empandiika ya Pawulo eyawukana kuya Peetero. Endaba yaffe ey’okuluŋŋamya abawandiisi abantu ne ngeri zaabwe, ebigambo byabwe, empandiika yaabwe, obuyigirize bwabwe, n’okunonyereza kubyafaayo.
Endaba entuufu ey’okuluŋŋamizibwa eri nti Katonda yaluŋŋamya omuntu yenna, nga kozesa okuteebereza ne ngeri y’omuntu oyo okujjayo mazima g’obwa Katonda, sikubikkula mazima kyokka naye n’okulabirira okuwandiika kwonna nga bwe kutambula kusobola okubeera okutuufu ddala.
Abantu abamu balowooza nti Katonda yabawanga birowoozo bye yayagalanga okwogera, omuntu omuwandiisi yabinnyonnyola mu ngeri esinga gye yali asobola, nga tekyewalika butakola nsobi ez’obuntu mu kuwandiika. Okutegeera bwe kuti tekukwatagana na Baibuli bwe nnyonnyola ku kuluŋŋamizibwa. Baibuli ennyonnyola abawandiisi nga abaakwatibwanga Omwoyo Omutukuvu mu kuwandiika kwabwe, awo tumanya nti tebaalekebwa kuwandiika kubwabwe, okukola ensobi.
Olw’okuba nga Baibuli Kigambo kya Katonda, teyogera kintu kyonna kikyamu kubanga Katonda takola nsobi. (Soma Engero 30:5.) Okuva Katonda nga bwe yebikkula mu byafaayo ebyawaandiikibwa, ebirimu biteekwa okubeera ebituufu tusobole okubeera n’okubikkulirwa kwa Katonda okwesigika. Olw’ekyo, okunnyonnyola kwa Baibuli okw’ekigambo kuluŋŋamizibwa, tumanyi nti Katonda yakulembera okuwandiika okubeera nga kubeera kutuufu ddala.
[1]Ebyokulabirako eby’okubikkulirwa okw’okwolesebwa, laba Danyeri 7 ne 8, ne kitundu ekisinga ekya Okubikkulirwa.
Ebigambo Ebikozesebwa Okulwanirira Baibuli Okubeera nga Ntuufu Yonna
Okuluŋŋamizibwa
Baibuli Yaluŋŋamizibwa, ekitegeeza nti Kigambo kya Katonda ddala, okuviira ddala kubigambo ebikozesebwa. Ekigambo kino kyali kimala mu ntandikwa okubeera nga kyesigamwako mu bujjuvu ne Baibuli okubeera nga ntuufu, naye kati abantu abamu abagamba nti Baibuli bagikkiriza okubeera nga yaluŋŋamizibwa bagaana nti tetuukiridde mu bujjuvu. Ebigambo ebiddako byajja okukozesebwa okulwanirira ensonga enkulu mu kuluŋŋamizibwa.
Obutabuusibwabuusibwa
Ekigambo kino kitegeeza nti “Tasobola kulemwa.” Bwe tugamba nti Baibuli Terina nsobi, tutegeeza nti esobola okwesigibwa era tesobola kutuwabya. Baibuli teriimu nsobi si mu bigambo byaayo byokka, naye mu buli bigambo byonna byeyogerako.
Obutasobya
Ekigambo kino kitegeeza “obutasobya.” Baibuli ntuufu mu buli kyeyogera. Okuva nga Katonda bwatasobola kulimba oba kukola nsobi (Soma Tito 1:2) era Baibuli Kigambo kya Katonda, tusobola okuba abakakafu nti teriimu nsobi. Omuntu agamba nti Baibuli esobola okuba amu ensobi olw’okuba nti abantu bebaagiwandiika, aba yeerabidde okunnyonnyola kwa okuluŋŋamizibwa mu 2 Peetero 1:21: nti abawandiisi baakwatibwanga Omwoyo Omutukuvu. Endaba ya Baibuli, nebyafaayo eby’okuluŋŋamizibwa biri nti Baibuli yonna yaluŋŋamizibwa, nabulikigambonakyo, n’olw’ekyotriimunsobi. (Soma Matayo 5:18.)
Kiri kitya ku nsobi ezikolebwa mu kukoppa?
Nga okuwandiika kw’ekyuma tekunnabeerawo, ebiwandiiko byonna nga mwotwalidde ne byawandiikibwa byakoppebwanga namikono. Tetulina biwandiiko ebyasooka ebyawandiikibwa Pawulo, Isaaya, oba Musa. Mu nkumi ne nkumieza kopi ezawandiikibwa nemikono enkadde zetulina mu Luyonaani n’Olwebbulaniya, waliwo enjawulo ntono, era tetusobola bulijjo kumanyira ddala ekigambo ekyasookera ddala bwe kyali. Wabula, enjawulo ntono nnyo okubeera nga enjigiriza ebuusibwabuusibwa olw’ebyo. Olw’okubanga tumanyi nti ebyasooka byali tebiriimu nsobi, era nga nenjawulo mu kopi ntono nnyo, tumanyi nti tusobola okwesiga buli Baibuli kyeyogerako.
► Tumanya mu ngeri ki nti Baibuli ntuufu wadde nga yakoppebwa namikono emirundi mingi?
► Nsonga ki ez’enjawulo abantu abamu zebalowooza nti Baibuli erina ensobi?
Lwaki Abantu Abamu Balowooza nti Baibuli Erimu Ensobi?
Abantu abamu bagamba nti Baibuli erimu ensobi. Ekyo kiri bwe kityo kubanga tebategeera kikula kya Baibuli.
Baibuli yakozesa okwogera okwabantu okwa bulijjo. Eky’okulabirako, waliwo olunyiriri olw’ogera nti enjuba etambula okuyita mu bwengula. Bannasayansi abasinga bakkiriza nti ensi yeetoloola, okusinga okubanti enjuba etambula, naye era bogera kunjuba okuvaayo n’okugwayo. Baginnyonnyola nga bo bwe bagiraba.
Waliwo ne bigambo eby’ebitontome, nga “ensozi ne zibuukabuuka ng'endiga eza sseddume” (Zabbuli 114:4), oba “n'emiti gyonna egy'okuttale girikuba mu ngalo” (Isaaya 55:12). Eyo engeri yempandiika eri bwetyo erina amakulu nga gekwese.
Ebiseera ebimu abawandiisi baajuliza nga ebyabantu abalala, nga mwotwalidde n’abantu abaali nga tebaluŋŋamiziddwa. (Eky’okulabirako, okwogera kwa mikwano gya Yobu kwawandiikibwa, wadde nga Katonda yagamba nti tebaayogera kituufu (Yobu 42:7).
Tewali kyonna kwebyo kiringa ekizibu ku njigiriza y’okuluŋŋamizibwa. Katonda yakulembera okuwandiika kwonna ngabwekwali okukakasa nti ekivaamu ku nkomerero Kigambo Kye.
Ebiseera ebimu abantu balowooza nti balaba okukontana mu Baibuli, naye balina okukitunuulira n’obwegendereza. Eky’okulabirako, Makko 5:1-2 ne Lukka 8:26-27 watubuulira ku muntu eyaliko dayimooni eyasumululwa Yesu. Matayo 8:28 watugamba nti waaliwo abantu babiri abaaliko dayimooni ne basumululwa. Ekyo si kukontana. Lukka ne Makko tebaagamba nti waaliwo omuntu omu. Baasalawo okutunuulira omuntu omu eyali amanyiddwa ennyo mu kitundu ekyo. Singa omuntu alaba ebiwandiikiddwa nga biringa ebikontana, tateekwa kwanguyiriza kutuuka ku kyankomerero, naye atwale ekiseera okutegeera ekinyusi.
Baibuli ya Mukristaayo
► Makubo ki agamu Omukristaayo mwasobola okukozesezaamu Baibuli?
Ekigambo kya Katonda musana. Omutume Peetero atugamba nti ensi etambulira mu kizikiza eky’omwoyo, ne Kigambo kya Katonda musana ogutukulembera mu kkubo lye tulina okutambuliramu. (Soma 2 Peetero 1:19-21; laba ne Zabbuli 119:105.) Omuntu tateekwa kugoberera birowoozo oba kyawulira mu ye ebikontana ne Kigambo kya Katonda. Omwoyo Omutukuvu tali kulembera muntu kukola kintu Baibuli kyegamba nti kikyamu.
[1]Ekigambo kya Katonda ye mmere yaffe ey’omwoyo. Okuwulira nga oyagala okulya kabonero ak’obulamu obulungi, era Omukristaayo ajja kwetaaga Ekigambo kyaKatonda nga omwana bwe yetaaga amata (1 Peetero 2:2). Omukristaayo bwagenda akula, aba asobola okutegeera n’okwongera okulyanga amazima ga Katonda, nga omwana bwayiga okulya emmere eŋŋumu (1 Abakkolinso 3:2). Omukristaayo ateekwa buli lunaku okuliisa omwoyo Ekigambo kya Katonda.
Baibuli yetukuuma eri Setaani. Tulagirwa okwambala eby’okulwanyisa eby’omwoyo. Ekitala Omwoyo Omutukuvu kyatuwa kye Kigambo kya Katonda (Abaefeso 6:17). Yesu yayanukula ebikemo bya setaani ne byawandiikibwa (Matayo 4:3-4).
Ekigambo kya Katonda mazima agatwetaagisa okwanukula. Yesu yakigeraageranya ne nsigo ezisimbibwa (Lukka 8:11-15). Ezimu ku nsigo tezadda bulungi kubanga ettaka lyali teritegekeddwa. Nga tusoma Baibuli, tuteekwa okwanukula amazima gano n’okusaba Katonda okuleeta ebibala mu bulamu bwaffe olw’Ekigambo kye.
“Obulimba obunene obwemirundi ebiri mu buwangwa bwaffe bwe bukkiriza leero buli nti tuli bantu balungi era nti, kubanga Katonda wa kwagala, tajja kubonereza kibi.”
– Francis Chan
Olw’okuba Baibuli Kigambo kya Katonda…
Olw’okuba Baibuli Kigambo kya Katonda...
Tekirikaddiwa yadde okubanga sikyamugaso. Kikwata ku bantu bonna mu bifo byonna mu biseera byonna
Kye kitukulembeera okwawula okwagala kwa Katonda, okuva nga Katonda lwa tasobola kukontana oba okukyusa ebirowoozo bye.
Kye kitukulembera okusobola okufuna ekisinga mu bulamu, okuvanga Katonda, eyatukola, bwe yakituwa nga endagiriro.
Kirimu buli kimu kyonna kye twetaaga okumanya okulokolebwa n’okutambulira mu nkolagana ne Katonda.
Wadde nga tuyiga okuva eri abasumba ne nnono ze kkanisa, tewali kirowoozo kisobola kukkirizibwa ekikontana ne byawandiikibwa kubanga kye kirina obuyinza obwenkomeredde.
► Katonda akyayogera, naye twandisuubidde nti ekintu kyonna kisobola okugattibwa ku Baibuli?
Baibuli Yamalirizibwa?
Okuva mu kiseera omutume asembayo lwe yafa, ekkanisa yatwala Baibuli nga ekitabo ekyamalirizibwa. Ekkanisa teyalonda bulonzi ebiwandiiko ne biyita ebyawandikibwa; mu kifo kyekyo, bakkiriza nti ebiwandiiko ebimu byaluŋŋamizibwa Katonda era birina obuyinza nga ebyawndiikibwa. Ebiwandiiko ebyakkirizibwa nga ebyawandiikibwa byalina ebisaanyizo ebiwandiiko eby’oluvannyuma bye bitaalina.
Obuyinza bwo obw’enkomeredde bwe buliwa? Abakristaayo bangi bandigambye nti Baibuli ye buyinza bwabwe, naye besigira ddala okusinga engeri gyebawuliramu. Omuntu ajja kugamba nti ekikolwa tekirina buzibu olw’okuba nga tawulira musango bwakikola. Omuntu ono afuula kyawulira okuba obuyinza obw’enkomeredde mu kifo kya Baibuli.
Waliwo ensonga nnyingi lwaki abantu bayinza obutatwala Baibuli nga ekikulu. Oba olyawo omuntu gwe bassaamu ekitiibwa tafaayo kunjigiriza ya Baibuli, kino ne kibawa ebbeetu nabo okukola kye kimu. Oba olyawo balina omusango ogw’okukola Baibuli kyegaana okukola, ne baba nga bagezaako okwejjako omusango. Oba olyawo tebamanyi bumanya Baibuli kyeyigiriza. Tulina okukola kyonna kye tusobola okutegeera Baibuli n’okugondera obuyinza bwayo.
Okuyiga Baibuli ne Kigendererwa Ekikugire
Baibuli yesibukamu Enjigiriza. Yerina obuyinza obwenkomeredde kunjigiriza yonna. Wabula, kiba kizibu abantu bwe bayiga Baibuli okunoonyamu obukakafu bw’ebyo bye bayigiriza. Tebakozesa Baibuli nga emmere ey’omwoyo. Balowooza ku kimu kyokka eky’okulaga nti omuntu omulala mukyamu. Kiba kituufu bwe tuzimba n’okukuuma enjigiriza zaffe ne byawandiikibwa. Wabula, bwe tuba tukozesa Baibuli mu ngeri bwetyo yokka, tujja kufiirwa essanyu lye tufuna nga tugikozesa mu nkolagana yaffe ne Katonda.
Abantu abamu basoma Baibuli ne kigendererwa eky’okuzzibwamu amaanyi. Tulina okujjukira ebigendererwa ebya Baibuli, okulumiriza, n’okutereeza (2 Timoseewo 3:16). Tetuteekwa kubuuka mateeka ga Baibuli, nga tunoonyamu ebisuubizo ebituleetera okuwulira obulungi. Oba olyawo Katonda ayagala okutunenya. Oba olyawo Katonda ayagala okutulumiriza oba okutusinza omusango oba okututereeza leero oba okubaako ne kyatuyigiriza.
Ensobi Zabalina Enjigiriza Enkyamu
Ebibinja bya banaddiini ebimu bigamba nti bikkirizza Baibuli, naye kirala nnyo kye batwala okubeera obuyinza bwabwe. Bagamba nti bokka bebasobola okunnyonnyola Baibuli, nga bakozesa okubikkulirwa oba enkola ez’enjawulo ze balina bokka. Enjigiriza zaabwe enkulu tezisobola kukakasibwa Baibuli.
Basobola okubeera ne kitabo ekirala kye bakozesa nga ebyawandiikibwa kye bagatta ku Baibuli. Basobola okugamba nti Baibuli teyesigika kubanga erina ensobi ezaava mu kukyusa ne mu kukoppa.
Endowooza ezo ziraga nti Baibuli tetuukiridde nga Ekigambo kya Katonda. Eri abantu abo, ekintu ekirala kye kirina obuyinza obwenkomeredde.
Baibuli kye Kigambo kye Katonda. Katonda yaluŋŋamya abawandiisi okuba nga bawandiika awatali nsobi. Baibuli erina byonna bye twetaaga okumanya okulokolebwa okuva mu kibi n’okutambulira mu nkolagana ne Katonda. Baibuli yensibuko yebyo by’etuyigiriza era yerina obuyinza obwenkomeredde. Omukristaayo ateekwa okuyiga Baibuli buli lunaku okumanya Katonda mu ngeri esingako, Okukulemberwa Katonda, Okuliisa omwoyo, n’okubeera mu bulamu obwamakulu era obw’essanyu.
Eby’okukolako mu ssomo 1
(1) Ebyawandiikibwa Ebiweereddwa Okusoma. Buli muyizi ajja kuweebwa ekimu ku byawandiikibwa bino wammanga. Nga okuyiga okuddako tekunnabaawo, oteekwa okusoma ebyawandiikibwa era owaandiike ku kyebyogera ku ky’okuyiga ku ssomo lino.
(3) Ekiweereddwa Okuyigiriza: Wakiri emirundi esatu mu musomo guno, ojja kusomesa essomo oba ekitundu ky’essomo eri abantu abatali mu kibiina. Okusoma kuno kusobola okukolebwa mu kkanisa oba okuyiga Baibuli okwa waka, oba okukuŋŋaana okwa waka oba engeri endala yonna. Ovunaanyizibwa okutondawo emikisa gino n’okuwa lipoota eri omukulembeze wo mu kibiina.
(4) Jjukira bulijjo okusoma essomo eriddako nga wetegekera okusoma okuddako.
Ekigezo Ky’essomo 1
(1) Okubikkulirwa okwawamu kye ki?
(2) Ngeri ki ebbiri Katonda mweyatuweera Okubikkulirwa Okwenjawulo?
Free to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
No Changes – Course content must not be altered in any way.
No Profit Sales – Printed copies may not be sold for profit.
Free Use for Ministry – Churches, schools, and other training ministries may freely print and distribute copies—even if they charge tuition.
No Unauthorized Translations – Please contact us before translating any course into another language.
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.