Fumiitiriza nga osisinkanye omuntu omulundi gwo ogusooka.[1] Bwakubuuza nti, “Ggwe ani?” wandigambye nti “Ndi wamaanyi, omugezi, era omulungi”? oba nti “Ndi muntu—Nnina omubiri ne mmeeme”? Si bwe kiri! Eby’okuddamu bino bitubuulira kiki kyoli (omuntu owamaanyi, omulungi, omugezi), naye tebitubuulira ggwe ani. Omuntu bwatubuuza ffe baani, tuwaayo linnya lyaffe—okugeza, “Nze Yokaana” oba “Nze Malyamu.”
Kati, lowooza ku kibuuzo, “Katonda ye Ani?” Abantu abasinga bandigambye nti “Katonda wamaanyi nnyo, atuukiridde mu bulungi, era atuukiridde mu magezi” oba “Katonda muntu mu bwa Katonda; mwoyo.” Ebintu bino byonna bituufu era byamugaso nnyo. Wabula, ebyokuddamu bino bitugamba kiki Katonda kyali (mwoyo owamaanyi ennyo, omulungi, era omugezi). Engeri esinga obulungi ey’okuddamu ekibuuzo kwe kugamba nti, “Katonda ye Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu.” Ono ye Katonda, era okukitegeera kitusobozesa okukolagana ne Katonda mu ngeri esingako. Waliwo ekintu kya basatu ekikwata ku Katonda ye ani. Ekigambo ky’Olulattini trinitas (Obusatu) kitegeeza “ssatu.” Obusatu kye kyokuddamu kye kibuuzo “Katonda ye Ani?”
Kirungi okugamba nti, “Nzikiriza mu Katonda,” oba okusaba nti, “Katonda, nnyamba.” Naye n’Omuyudaaya oba Omusiraamu basobola okwogera n’okusaba mu ngeri eno. Omukristaayo yekka yasobola okugamba nti, “Nzikiriza mu Kitaffe, ne mu Mwana, ne mu Mwooyo Omutukuvu.” Omukristaayo yekka yasobol okusba bwati, “Kitaffe, ngabirira. Yesu, nsonyiwa. Omwoyo Omutukuvu, nuŋŋamya.” Omukristaayo yekka yamanyidde ddala amazima Katonda ye ani. Eno ye nsonga lwaki Gregory eyamanya Katonda yawandiika bwati, “Bwe ŋŋamba nti ‘Katonda,’ mba ntegeeza ‘Kitaffe, Omwana n’Omwoyo Omutukuvu.’”[2]
[1]Ebiri mu ssomo lino byawandiikibwa Jonathan Arnold nga akolaganira wamu ne Dr. Tom McCall ne Dr. David Fry, wamu n’omuwandiisi omukulu, Dr. Stephen Gibson.
[2]Okwogera 38. Gregory eyamanya Katonda, era eyali amanyiddwa nga Gregory owe Nazianzus, yali Mukristaayo kakensa okuva mu nsi emanyiddwa nga Butuluuki leero.
Okusaba Okuggulawo
Obusatu bwe kiba nga kye kyokuddamu ekyekibuuzo “Katonda Ye Ani?” awo okuyiga kwaffe ku njigiriza eno kulina okutuyamba okumanya n’okugulumiza Katonda. Enjigiriza ey’Obusatu ennyikiza obulamu bwaffe obw’okusaba olwokuba etusobozesa okusinza Katonda olw’ekyo kyali. Wammanga kye kyokulabirako ekyokusaba okutuyamba okukula mu nkolagana yaffe n’Obusatu.
► Nga ekibiina musomere wamu essaala eno.[1] Bwoba nga essomo lino oliyiga misana oba kawungeezi, osobola okugamba nti “Wasiibye otya, Kitaffe ow’omu ggulu” oba “Oli otya, Kitaffe ow’omu ggulu.”
Wasuze otya, Kitaffe, owomu ggulu.
Wasuze otya, Mukama waffe Yesu.
Wasuze otya, Omwoyo Omutukuvu.
Kitaffe owomu ggulu, nkusinza nga omutonzi era awanirira ensi.
Mukama waffe Yesu, nkusinza nga Omulokozi era Mukama wensi.
Omwoyo Omutukuvu, nkusinza nga atukuza abantu ba Katonda.
Ekitiibwa kibe eri Kitaffe, n’Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu.
Kitaffe owomun ggulu, nsaba nti olunaku luno mbeere mu kubeerawo kwo n’okwongera okukusanyusanga.
Omutukuvu, owomukisa, era ow’ekitiibwa mu Busatu, abantu basatu mu Katonda omu, nsaasira. Amiina.
[1]Eno ye ssaala ya John Stott, gye yasabanga buli makya ngazuukuse. Stott yali kakensa mu kumanya Katonda okuva mu Bungereza eyaliwo okuva mu mwaka 1921 okutuusa 2011.
Katonda omu yekka bwati
Mu Ndagaano Enkadde, Katonda yayigiriza abantu okwatula nti waliwo Katonda omu. “Wulira, ggwe Isiraeri; Mukama [Yahweh] Katonda waffe ali omu” (Ekyamateeka Olwokubiri 6:4). Okukkiriza bwe kuti kwaleetera Isiraeri okwawukana ku mawanga amalala agakkirizanga mu bakatonda abangi. Yesu nabatume bagenda mu maaso nga bayigiriza nti waliwo Katonda omu (Makko 12:29, 1 Timoseewo 2:5). Bakatonda tebali basatu oba 10. Waliwo omu atalabika, omwoyo owamaanyi gwetuyita “Katonda.”
Mu kiseera kye kimu, waliwo ebitulaga mu Ndagaano Enkadde nti waliwo ssatu oba okusukka ku kimu mu Katonda omu. Katonda bwakola Adamu ne Kaawa, agamba nti, “Tukole omuntu mu kifaananyi kyaffe, mu ngeri yaffe…” (Olubereberye 1:26). Katonda ayogera ne ani? lwaki agamba nti “kifaananyi kyaffe” (basukka mu omu)? Isaaya bweyafuna okwolesebwa kwa Katonda mu Yeekaalu, yawulira bamalayika nga boogerera waggulu nti “Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu…” (Isaaya 6:3), Mukama n'agamaba nti, “…Ani anaagenda ku lwaffe?” (Isaaya 6:8). In Zabbuli 110:1, Yawe ayogera n’omulala amanyiddwa nga Mukama wa Dawudi. Ngeri ki MUKAMA gyasobola okwogeramu ne Mukama?
Ekyokuddamu ekisingako ekyebibuuzo bino kisangibwa mu Ndagaano Empya. Baibul luli lugero lumu olukulu. Waliwo amazima agamu omuwandiisi geyasalawo obutayogerako okutuusa ku nkomerero y’olugero, wetujja okubeera nga twetegese bulungi okugafuna. Katonda yabikkula amazima agebuziba ennyo ku ye ani Katonda Kitaffe bwe yasindika Omwana we okufuuka omuntu mu mubiri n’oluvannyuma bwe yasindika Omwoyo Omutukuvu ku Pentekooti. Enjiri etulaga nti waliwo ddala mu mazima ekiri mu bisatu ekikwata ku Katonda omu. Obusatu kwe kubikkula okunene okwa Katonda okumukwatako kwe yakola eri abantu. Obusatu ye ntabiro y’okukkiriza kw’Obukristaayo.
Okufuuka Omuntu mu Mubiri: Okubikkulwa kw’Omwana wa Katonda
Katonda yebikkula ku ye, mu biro bwe byatuukirira, “…Katonda n'atuma Omwana we…” (Abaggalatiya 4:4).[1] “ Kubanga Katonda bwe yayagala ensi bw'ati, n'okuwaayo n'awaayo Omwana we…” (Yokaana 3:16). Oba Katonda yatuma Omwana we, awo Katonda omu ateekwa okubeera Taata alina Omwana. Omwana bwaba nga yatumibwa mu nsi, kitegeeza yali Mwana wa Katonda nga tannaba kutumibwa.
Yesu yeyogerako okuba Omwana wa Katonda mu ngeri ey’enjawulo eyamufuula okuba nga yenkanankana ne Katonda Kitaawe. Yokaana 5:18 agamba nti, “Awo Abayudaaya kyebaava beeyongera okusala amagezi okumutta kubanga tasobezza ssabbiiti yokka, era naye yayita Katonda kitaawe, nga yeefuula eyenkanankana ne Katonda.” Yesu bwe yagamba nti, “Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi” (Yokaana 8:58), yali yeyogerako okubeera Yawe (Okuva 3:14). Mu 1 Abakkolinso 8:6, Pawulo akkaatiriza Ekyamateeka Olwokubiri 6:4 (“Mukama… ali omu”), naye atwaliramu Mukama waffe Yesu Kristo mu kwogera ku Mutonzi omu Katonda.Mu 1 Abakkolinso 8:6, Pawulo akkaatiriza Ekyamateeka Olwokubiri 6:4 (“Mukama… ali omu”), naye atwaliramu Mukama waffe Yesu Kristo mu kwogera ku Mutonzi omu Katonda.
Mu Yokaana 14:28, Yesu agamba nti, “…Kitange ansinga obukulu.” Olunyiriri luno terusobola kuba nga lutegeeza nti Omwana tatuukiridde kubeera Katonda mu bujjuvu, okuva nga enjiri ya Yokaana yonna bwe kkaatiriza nga Omwana mu bujjuvu bwe yenkanankana ne Kitaaweentire.[1] Yokaana 14:28 wateekwa okusomebwa nga otunuulira ennyiriri endala zonna. Yesu yagamba abayigirizwa be, “…Singa munjagala, mwandisanyuse kubanga ŋŋenda eri Kitange: kubanga Kitange ansinga obukulu.” Yesu yegeraageranya nga omuntu ku nsi (n’okubonaabona kwe kwonna) ku Kitaawe ali muggulu (mu kitiibwa kye kyonna). Agamba abayigirizwa be nti bwe baba bamwagala, bajja kwagala Yesu okugulumizibwa mu maaso ga Kitaawe ne kitiibwa kye yalina ne Kitaawe nga ensi tennabeerawo. (Laba Yokaana 17:5.) Jjukira: Yesu Katonda ddala era mu kiseera kye kimu muntu ddala. Nga Katonda (okusinzira ku bwa katonda bwe), Omwana yenkanankana ne Kitaawe. Nga omuntu (okusinzira ku bwomuntu bwe), Omwana okufuuka omuntu abeera wa wansi era agondera Kitaawe. Augustine annyonnyola bwati, “Tulina okukkiriza Obutonde obwe mirundienkula eyemirundi ebiri obwaeya Kristo—eyobwa katonda, mwabeeredde nga yenkanankana ne Kitaawe, n’obwomuntu, Kitaawe mwabeerera nga amusinga.”
Okufuuka omuntu mu mubiri: Okubikkulwa kw’Omwana wa Katonda (Byongeddwako)
Nga Omwana wa Katonda Kitaawe, Yesu si ye Kitaawe. Omwana si ye muntu omu nga kitaawe. Mu Yokaana 1, Yesu ayitibwa “Katonda” (1:1) kyokka agambibwa okubeera “awali Katonda [Kitaawe]” (1:1) n’okubeera “eyazaalibwa omu yekka Kitaffe” (1:14). Omwana yatumibwa Kitaawe (Yokaana 5:23), yasaba Kitaawe (Matayo 26:39), nasaba Kitaawe okumugulumiza asobole naye okugulumiza Kitaawe (Yokaana 17:1). Singa Omwana yali nga ye Kitaawe, kyandibadde nti Omwana yetuma yekka, ayogera yekka, era n’okwesaba okwegulumiza yekka asobole okuba nga yegulumiza. Ekyo tekyandibadde kya makulu nakamu!
Waliwo enjawulo eya ddala wakati wa Taata n’Omwana, naye batuukiridde wamu ddala nga Katonda omu. Mu Yokaana 14:11, Yesu yagamba nti, “Munzikirize nga nze ndi mu Kitange, ne Kitange mu nze….” Taata n’Omwa buli omu abeerera ddala mu munne kubanga ali omu ataggwawo, omwoyo atalabika. Si myoyo ebiri egyenjawulo oba ba katonda babiri abenjawulo.
Enjigiriza y’Obusatu esibuka mu kkwefumiitiriza ennyo ku bintu Yesu bye yayigiriza, ne ku bye yayigiriza ku Mwoyo Omutukuvu.
Pentekooti: Omwoyo Omutukuvu abikkulwa
Yesu yayogeranga ku Kitaawe, naye era yayogera ne ku mulala: Omwoyo Omutukuvu. Yesu yasuubiza okusaba Kitaawe okusindika Omwoyo (Yokaana 14:16–17). Era yasuubiza okusindika Omwoyo okuva eri Kitaawe (Yokaana 15:26). Yesu yakakasa abayigirizwa nti Kitaawe yali wakusindika Omwoyo mu linnya lye (Yokaana 14:26). Oluvannyuma lwokuzuukira n’okulinnya kwe mu ggulu, Yesu yafuna ekisuubizo okuva eri Kitaawe eky’Omwoyo Omutukuvu, nafuka Omwoyo ku bayigirizwa be ku Pentekooti (Ebikolwa by’Abatume 2:33).
Mu kiseera kye kimu, Omwoyo Omutukuvu si ye Kitaffe oba Omwana. Omwoyo Omutukuvu muntu mulala, nga Omwana bwali omulala (si Kitaffe). Omwoyo yasindikibwa Kitaffe n’Omwana, ayogera ebyo byokka byawulira okuva eri Kitaffe n’Omwana (Yokaana 16:13), era ajja okugulumiza Omwana (Yokaana 16:14). Singa Omwoyo yali Kitaffe n’Omwana, awo kitegeeza Omwoyo aba yesindika yekka, ayogera byawulira okuva eri ye kennyini, era anoonya okwegulumiza yekka. Ekyo tekyandibadde kya makulu nakamu!
Ebyawandiikibwa Eby’enkizo
Matayo 3:13–17 nkulu eri enjigiriza ey’Obusatu kubanga ziraga enkwatagana ya Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Matayo 3:13–17 nkulu eri enjigiriza ey’Obusatu kubanga ziraga enkwatagana ya Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Yesu abatizibwa, Kitaffe ayogera okuva mu ggulu (“Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira ennyo”), n’Omwoyo Omutukuvueyaliwo nga talabika alabika nga afaanana ejjiba najja ku Yesu. Tekyandibadde na makulu okugamba nti Kitaffe ye Mwana oba nti Omwoyo Omutukuvu ye Mwana. Singa ebyo bye byali, Omwana yandibadde ayogera mu ddoboozi okugenda mu ggulu ngagamba nga bwe yeesanyukira yekka, era neyekkako yekka! Baali basatu mu kubatizibwa kwa Yesu.
Enkola ey’okubatiza mu Matayo 28:19 yentabiro y’okuyigigiriza kw’Obusatu mu Bukristaayo: “Kale mugende, mufuule abantu b'amawanga gonna abayigirizwa, nga mubabatiza okuyingira mu linnya lya Kitaffe n'Omwana n'Omwoyo Omutukuvu.” Mu Ndagaano Enkadde, Katonda yateeka erinnya lye (Yawe) ku bantu be, nabakowoola okwolesa erinnya lye eri amawanga (Okubala 6:27, Ekyamateeka Olwokubiri 28:10). Mu Ndagaano Empya, Katonda ateeka erinnya lya Kitaffe, n’Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu ku bantu be, nabatuma mu nsi olw’omulimu. Kino kiraga nti Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo buli omu Katonda, kyokka buli omu ayawukana ku balala. Enjigiriza ey’Obusatu eyamba abayigirizwa okutegeera kye kitegeeza okubatizibwa mu linnya ery’Obusatu. Ekituufu, okuyigiriza ku Katonda mu Bukristaayo kwonna kuzimbibwa kuva ku kintu kino eky’Obusatu.
► Ekifaananyi ekiri ku lupapula luno kiyitibwa “Engabo Ey’Obusatu.” Kiwa mu bufunze agamu ku mazima amakulu ge twakayigako. Kuba ekifaananyi kinoku lupapula; kino kijja kukuyamba okukijjukira.
Ebigambo Bikulu: Ebigambo Ebikulu mu Byafaayo Byekkanisa
Enjiri ebikkula nti waliwo omuwendo ogwe ssatu ku Katonda omu. Wabula, Katonda si basatu era omu mu kutegeera kwe kumu. Tewaliwo ba katonda basatu ne katonda omu. Ekyo kyandibadde kikontana (n’okugaana enjiriza ya Baibuli etegerekeka obulungi!). Twetaaga ebigambo okunnyonnyola okutegeera Katonda mwabeerera essatu, n’okutegeera mwabeerera “Mukama… ali omu” (Ekyamateeka Olwokubiri 6:4).
Abasinga mu kkanisa eyasooka baali boogera Luyonaani oba Lulattini, era baamala ebyasa bingi nga boogera ku bigambo ki ebyokukozesa. Tekirina kutwewuunyisa nti ebiseera ebimu kituzibuwalira okuzuula ebigambo eby’okukozesa okwogera ku Katonda. Olulimi olwogerwa abantu terusobola kunnyonnyolera ddala bulungi Katonda. Kyokka, tewali kyamugaso kusinga ekyo kye tukkiriza ku Katonda, olwekyo tuteekwa okulonda ebigambo bye tukozesa n’obwegendereza obutabuzabuza oba okukyamya abalala.
Ebigambo ousia (Luyonaani) ne substantia (Lulattini) byakkirizibwa n ga ebigambo ebisinga okulaga Katonda nga bwali omu—ekiri ku Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Mukama ali omu ousia oba substantia. Ebigambo bino bisonga ku kintu ki kye kiri (jjukira ekyokulabirako mu ekintu ekya ddala ekirirwo (ekiva mu kigambo ky’Olulattini substantia) kikozesebwa ku kiki ekiri ekimu ku Katonda. Ebigambo obutonde, ekiriwo, oba ekinyusi nabyo bikozesebwa. Waliwo Katonda omu owaddala oba abeerawo.
Th Ebigambo hypostasis (Oluyonaani) ne persona (Lulattini) byakozesebwa okusonga ku ku kiki ekiri mu busatu ku Katonda. Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu basatu abaddala era abetongodde hypostases oba personae. Ebigambo bino bisonga ku muntu yeani. Nate: Obusatu kye ky’okuddamu eri ekibuuzo “Katonda ye yani?” Mu Luzungu, ekigambo persons (abantu) (kiva mu Lulattini personae) kikozesebwa ku kiki ekiri mu busatu mu Katonda. Tetukozesa bigambo abantu oba ssekinoomu, okuva lwe kiri nti kiraga abantu ab’enjawulo oba abaddala.
Ne bigambo bino nabyo birina obunafu bwabyo nekkomo, era biteekwa okunnyonnyolwa n’obwegendereza okwewala okutegeerwa obubi. Mu buli Lulimi, abakenkufu mu Baibuli bateekwa okulowooza n’obwegendereza ku bigambo ki ebyokukozesa. Ebiseera ebimu olulimi terubeera nabigambo birungi eby’okukozesa. Naye okunoonya ebigambo ebikkirizibwa wonna era nga bitegeerwa kiyamba nnyo. Eky’okulabirako, ebigambo bino bituyambako okunnyonnyola obulungi kiki Yokaana 10:30 kyategeeza ne kyatategeeza. Yesu bwe yagamba nti, “Nze ne Kitange tuli omu,” yali ategeeza, “Nze ne Kitange tuli muntu omu oba owaddala”; yali tategeeza, “Nze ne Kitange tuli muntu omu.” Yokaana bwe yawandiika, “…Kigambo n'aba awali Katonda, Kigambo n'aba Katonda” (Yokaana 1:1), yali ategeeza, “Omwana yali n’omuntu Katonda ne Omwana yali kye kimu omuntu mu bwa Katonda (oba yennyini owaddala) nga Kitaawe.”
Lwaki Tuzibuwalirwa Okutegeera
Wadde nga enjawulo zino ziyamba, obusatu bukyatuzibuwalira okutegeera Mu bufunze, kino kiri bwe kityo olwokutegeera kwaffe okw’obuntu okukoma. Naye era kiri bwe kityo lwakuba nti tewali bantu balala mu bitonde byonna nga bali abantu basatu nga muntu omu bwati owaddala. Tutera okuyiga nga tugeraageranya ebintu ebipya nebyo byetumaze okumanya, naye tewaliiwo kisobola kugeraageranyizibwako: Tewali muntu mulala yenna nomu alimu abantu abasatu.
Lowooza ku bantu. Mu buli mubiri gwa muntu ne mmeeme oguliwo, waliwo omuntu omu yekka — “Yokaana” oba “Malyamu.” Singa omuntu yegamba okuba ngasukka okubeera Omuntu omu, tekyandikoze makulu, kubanga tumanyi nti eno si yengeri abantu gye babeerawo. Wabula, Katonda si muntu! Katonda abeerawo mu kikula kya njawulo nnyo okuva ku kintu kyonna ekiriwo ku bye tusobola okulaba. Katonda yatubikkulira nti mu kubeerawo kwa katonda omu, mu butuufu mulimu abantu Bastu. Tukkiriza bukkiriza olwokukkiriza ekyo Katonda kyatubikkulidde. Ebirowoozo byaffe tebisobola kutegeerera ddala Katonda, naye tusanyukira mu ekyo Katonda kyatubikkulidde ne tulindirira okumanya n’okunyumirwa Katonda okusingawo nga tuli mu ggulu.
Ensobi Ez’okwewala: Enjigiriza Ez’obulimba Ezikwata ku Busatu
Abantu abamu bagezaako okuteeka Obusatu mu ndowooza yaabwe, nga besigama kwebyo byebasobola okulaba mu bitonde. Abakkiririza mu Busatu beegendereza nnyo obuta: (1) tayawulayawula mu Katonda omu owaddala, (2) abutatabula abantu abasatu abali mu Katonda, oba (3) okuyisa omuntu yenna ow’obwa Katonda nga owawansi oba unequal to another oba atenkanankana mulala mu kubeera owaddala.
1. Toyawula mu kubeera owaddala. Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu si bitundu bisatu ebikola omu omulamba. Katonda tali mu bitundu. Katonda tali nga eggi erimu eririna ebitundu ebisatu (Ekyokungulu, enjuba, nekyeru). Katonda talinga ekimuli ekimu ekirina ebitundu ebisatu. These illustrations reflectEby’okulabirako bino enijigiriza eyawukanye ku kituufu eyitibwa partialism. (kyekubiira)
2. Totabulatabula (okulemwa okwawula) abantu. Abantu abamu bagamba nti Omewana ye Kitaffe nga ayambe akakookolo akalala, oba nti Omwoyo ye Mwana alabikira mu ngeri endala. Wabula, nga bwe tumaze okulaba, Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu bakolagana nga abantu abetongodde. Kitaffe si ye Mwana; Omwana si ye Mwoyo Omutukuvu. Katonda talinga ettondo lya mazzi erimu erisobola okubeeerawo mu ngeri ssatu (nga omuzira ogukutte, nga amazzi, oba omukka-olufu). Katonda talinga omuntu ayambla enkufiira ssatu ez’enjawulo oba obukookolo. Katonda talinga muntuu alina obuvunaanyizibwa obwe mirundi esatu (taata, omwami, era omukozi). Ebyokulabirako bino biraga enjigiriza eyawukanye ku kituufu eyitibwa modalism etakkiriza nti Omwana n’Omwoyo bantu abetongodde. Modalism era eyitibwa Sabellianism (ekyava ku linnya ly’omuyigiriza ow’obulimba mu kyasa ekyokusatu ayitibwa Sabellius).
3. Toyisanga muntu yenna nga owa wansi oba atenkanankana mu kubeerawo okwaddala. Okuygiriza okulalal okuzikiriza kuli nti Omwana ali wansi wa Kitaawe. Abantu abamu bagamba nti Omwana ye muntu eyasooka era omukulu eyatondebwa Kitaffe. Bayinza okusuuta Yesu n’okumuyita “katonda,” naye tebayigiriza nti yenkanankana ne Kitaawe oba nti yaliwo okuva edda nedda. Enjigiriza eno eyobulimba eyitibwa Arianism (eyayitibwa erinnya lyomusomesa ow’obulimba eyaliwo mu kyasa ekyokuna ayitibwa Arius). Abawolereza obulimba buno basomesa ntithe Son is merely of Omwana afaanana bufaananyi engeri nga eya Kitaawe, era ali wansi we. Wabula, Baibuli eyigiriza nti Omwana ye “omu mu kikula nga Kitaawe” (nga bwe kyogerwako mu bigobererwa ebye Nicene Creed). Omwana n’Omwoyo benkanankana ne Kitaawe mu buyinza, ekitiibwa, n’obutaggwawo. Basaanidde okusinzibwa era basobola okutulokola nga bakozesa amaanyi agasukkulumye.
► Wali owuliddeko ebyokulabirako ebiralala byonna eby’Obusatu? Lwaki bisobola okuba nga biwubisa oba ebiriko ekizibu?
Ensonga eya Buli Linnya
Okutegeerera ddala enjigiriza ey’Obusatu, twetaaga okwetegereza abantu Abasatu. Lwaki abantu asooka n’owokubiri bayitibwa “Kitaffe” ne “Omwana”? Lwaki omuntu owokusatu aytibwa “Omwoyo Omutukuvu”? Amannya sikuba nti tegalina kye gategeeza. Amannya galina kye gatubuulira ekyamazima era ekitaggwawo ku Katonda. Nga nensi tennatondebwa, Katonda yali Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu.
“Kitaffe” ne “Omwana”
Newankubadde nga Katonda ye Kitaffe ow’omu ggulu (Matayo 6:9), omuntu asooka mu Busatu tayitibwa “Kitaffe” lwa nsonga eno. Omuntu asooka ayitibwa “Kitaffe” kubanga ye Kitaffe ataggwawo Ow’Omwana! Mu ngeri yemu, Omuntu owokubiri ayitibwa “Omwana” kubanga ye Mwana ataggwawo owa Kitaawe. Amannya Kitaffen’Omwana galaga enkolagana yaabwe etaggwawo buli omu ne munne. Taata n’Omwana bombi balina mu bo obulamu obutaatondebwa obutaggwawo, obubeera ne Katonda yekka, naye obulamu buno Taata abuwa Omwana (Yokaana 5:26).
Okuva Kitaawe n’Omwana bwe bali nga bombi tebaggwawo, Kitaawe te “yawa” Mwana bulamu mu kaseera buseera. Kitaffe teyatonda Mwana. Kitaffe yazaala lubeerera “yazaala” oba okuleetawo Omwana mu ngeri emanyiddwa Katonda yekka. Eno yeyenjigiriza eyesigamiziddwako eya Nicene Creed: “Tukkiririza mu… Mukama omu Yesu Kristo, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka, eyazaalibwa Kitaawe nga emirembe gyonna teginnabaawo; Katonda wa Katonda, Omusana gw’Omusana, Katonda ddala wa Katonda ddala; yazaaalibwa, teyakolebwa.”
Kino kya magero kyamaanyi. Okuzaalibwa kw’omuntu tukutegeera bulungi! Tuyinza kwenkana wa obutategeera bulungi kye kitegeeza Katonda okubeera Taata okuleeta Omwana ataggwawo? Abatandikawo Ekkanisa baasonganga ku Abaebbulaniya 1:3, awagamba nti Omwana ye “…Oyo alaga ekitiibwa kya Katonda era n'ekifaananyi kye ddala bw'ali...” omusana bulijjo gubeera nokwaka kwagwo.[1] Ettabaaza bweba eyaka, emulisa omusana gwayo. Okuva ku Kitaffe nga bwali omusana ogutaggwawo, bulijjo ayakira Omwana we. Kitaffe teyatandika butandisi kwakira Mwana we. Era tagegenda kulekera awo kwakira Mwana we. Kitafffe n’Omwana babeerawo mu nkolagana etaggwawo mu ekyo ekisobola okuyitibwa “okumulisa” ne “okumulisibwa.” Yesu ye “Katonda owa Katonda [Kitaffe] Omusana gw’Omusana [Kitaffe]” (Nicene Creed).
“Omwoyo”
Erinnya Omwoyo nalyo lisonga ku kintu ekyo ekituufu ekiseera kyonna ku muntu owokusatu ow’Obusatu. Ebigambo Omwoyo wa Katonda tebifaanana bigambo omwoyo wa Musa oba emmeeme ya Ibulayimu, in which “omwoyo” oba “emmeeme” mwe bitegeereza ekitundu eky’omwoyo oba ekitalabika eky’omuntu. Katonda mwoyo gwokka era talina bitundu ku ye. Mu kifo kyekyo, ebigambo “Omwoyo wa Katonda” biraga nti omwoyo ava eri Kitaffe, nga era Omwana bwava eri Kitaawe. Ekigambo Baibuli kyekozesa ku Mwoyo kisobola n’okukyusibwa nga “Omukka.” Nga omuntu bwassa omukka gwe, Omwoyo “ava” eri Kitaffe (Yokaana 15:26). Abakristaayo bangi era bakkiriza nti Omwoyo lubeerera ava eri Omwana.[2]
Okuva Omwoyo nga bwataggwawo, Omwoyo taleetebwa mu kaseera buseera. Omwoyo tatondebwa Kitaffe. Kitaffe lubeerera assa Omwoyo. Tetumanyidde ddala kye kitegeeza Omwoyo olubeerera okuba nga “ava” eri Kitaffe, naye tukimanyi nti si kye kimu nga okubeera “eyazaalibwa.” Oba si ekyo, Kitaffe yandibadde n’Omwana owokubiri!
[1]“Omuntu yalaba ddi ekitagaala awatali lkwaka kwakyo, oyo asobola okwogera ku Mwana, ‘Waaliwo ekiseera lwataaliwo,’ oba nti ‘Nga omulembe gwe tegunnaabawo teyaliiwo’?” (Athanasius, Discourse I Against the Arians 14.12).
[2]Mu kyasa eky’omukaaga, Ekkanisa ye Bulaaya yagattako ebigambo “n’Omwana” (filioque mu Lulattin) to the Nicene Creed: “Omwoyo Omutukuvu… ava eri Kitaffe [n’Omwana]. ”Ebigambo ebimu ebitera okwogerwa nga biwagira filioque biri nti «Omwoyo wa Katonda» era ayitibwa “Omwoyo wa Kristo” in Abaruumi 8:9, n’okuba nti okusindika Omwana (Yokaana 15:26) n’okussa (Yokaana 20:22) of okw’Omwoyo mu kiseera biraga enkolagana etaggwawo eri Omwoyo, nga eri Kitaffe bwatuma Omwana bwe kiraga enkolagana etaggwawo n’Omwana.
Ensonga Enkulu mu Bufunze
Amazima amakulu agetaaga okumanyibwa abakkiriza bonna gafunziddwa mu Athanasian Creed:
1. Kitaffe teyava mu muntu yenna. Teyatondebwa oba kuzaalibwa. (Teyazaalibwa).
2. Omwana yava wa Kitaawe bwomu. Teyakolebwa oba okutondebwa. Yabeerawo kuva edda nedda.
3. Omwoyo omutukuvu yava wa Kitaffe [neri Omwana]. Teyakolebwa, okutondebwa, oba okuzaalibwa. yava kuva dda nadda.
4. Olwekyo, waliwo Kitaffe omu, si ba Kitaffe basatu. Waliwo Omwana omu, si Baana basatu. Waliwo Omwoyo Omutukuvu omu si Omwoyo Omutukuvu basatu.
Obuyinza Okunnyonnyola
Okuyigiriza kunnyonnyola lwaki twogera ku Kitaffe mu ngeri eya bulijjo, Omwana, n’Omwoyo (mu ntegeka bwetyo), mu kifo ky’omwoyo, Omwana, ne Kitaffe (oba engeri endala yonna). Abantu abasatu benkana mu maanyi ne mu buyinza kubanga bali Katonda omu; wabula, Kitaffe yensibuko etaggwawo ey’Omwana, era Kitaffe [n’Omwana] ye nsibuko etaggwawo ey’Omwoyo. Olwekyo, kisaana okubogerako mu ntegeka bweti Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo.
Okuyigiriza kuno era kunnyonnyola lwaki Baibuli egamba nti “Omwana wa Katonda” ne “Omwoyo wa Katonda” mu kifo kya “Katonda Omwana” oba “Katonda Omwoyo Omutukuvu.” Since Okuva Omwana n’Omwoyo Omutukuvu bombi lwe bali Katonda, tuyinza okubogerako mu ngeri eno. Wabula, kisaana okwogeraku Mwana n’Omwoyo Omutukuvu nga tubageraageranya ne Kitaffe. Ebigambo “Katonda Omwana” bikkaatiriza nti Yesu Katonda; ebigambo “Omwana wa Katonda” biraga nti Yesu “Katonda wa Katonda” (Nicene Creed).
Bwe tuyiga ku njigiriza ey’Obusatu, tutandika okutegeera obulungi Katonda ye ani, era kino kituyamba okutegeera lwaki Katonda akola ekyo kyakola. Mu kumaliriza, lowooza ku nsonga zino essatu enkulu.
1. Obusatu bunnyonnyola kiki kye kitegeeza okugamba nti. ”Katonda Kwagala.” Lowooza singa omuntu yali abeera yekka mu kisenge wakati mu ddungu era nga tayogeranga na muntu yenna. Awo, oluvannyuma lwemyaka 20, yafuluma mu kayumba ke nakugamba nti, “Nnina okwagala.” Wandimukkirizza? Oba olyawo nedda! Omuntu alina okwagala abeerawo mu nkolagana nabantu abalala. Teyeeyawula ku buli muntu yenna. Baibuli egamba nti, “…Katonda kwagala” (1 Yokaana 4:8). Singa Katonda abadde muntu omu, Katonda yali ayagala ani nga tannaba kutonda nsi? Naye Katonda bwabeera abantu basatu, awo kiba kikola amakulu okugamba nti Katonda kwagala. Yesu yasaba Kitaawe nagamba nti, “…wanjagala nze ng'ensi tennatondebwa” (Yokaana 17:24). Singa osobola okuddayo emabega mu butaggwao Olubereberye 1:1, tewandibaddewo kintu na kimu ekisigalawo: Katonda ayagala. Kitaffe nga ayagala Omwana n’Omwoyo; Omwana ayagala Kitaawe n’Omwoyo; and the n’Omwoyo ngayagala Kitaffe n’Omwana. Nga Kifaananyi kirungi! Mu kubeerawo okwa Katonda omu mulimu obumu obw’okwagala okwa bantu! Katonda kwagala!
3.Obusatu Bunnyonnyola Ekigendererwa ky’Ekkanisa and namagenda ag’Ekkanisa agenkomerero. Katonda yatonda abantu mu kifaananyi kye nengeri ye (Olubereberye 1:26), nagamba nti si kirungi omuntu okubeera yekka (Olubereberye 2:18). Tulaga okwagala okw’Obusatu bwe tubeerawo mu nkolagana ey’okwagala buli o mu munne. Abantu abamu benyumiriza mu kubeera bokka. Bagamba, “Setaaga muntu mulala yenna!” Kino ekyavaamu kyannaku ekyokugwa. Oba olyawo baakosebwa abantu abalala nga baagala okwekuuma. Katonda teyagenderera ffe okubeerawo mu ngeri eno. Olwokuba nga Katonda ali mu Busatu, tuteekwa okwewaayo okubeera mu bantu abaagalana nabalala. Mu kkanisa, Katonda atabaganya abantu, abaayawukanyizibwa ekibi. Mu Yokaana 17:22, Yesu yasaba nti Ekkanisa ebeere kimu nga Kitaffe bwali ekimu. nga era ye ne Kitaawe bwe bali ekimu. Kirabikirawo, bamemba abangi ab’Ekkanisa tebafuuka muntu omu. Naye bwetubeerawo mu bumu nokukwatagana, tulaga obumu obutuukiride obw’Obusatu. Mu ggulu, Ekkanisa ejja kubeerawo mu bumu obutuukiridde ne Kitaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu. Nga lujja kuba lunaku lwa njawulo!
Okufundikira
Maliriza essomo lino n’okutenderereza n’okusinza. Okusinza mu Bukristaayo kuli mu Busatu okuviira ddala mu ntandikwa okutuusa okumaliriza, kubanga Obusatu bwe tusinza!
► Musabire wamu essaala eno ey’okutendereza. Essaala eno eyeddda ey’okutendereza eri Obusatu ekyakozesebwa ne leero nabakkiriza mu kusaba okwa buli lunaku ne mu Kkanisa bangi.
Ekitiibwa kibe eri Kitaffe, neri Omwana, n’Omwoyo Omutukuvu, nga bwe kyali olubereberye, is now ne kaakano, and ever shall bena bulijjo, emirembe egitaggwawo. Amiina.
► Mwogerere wamu 2 Abakkolinso 13:14. Omukisa guno era gukozesebwa abgoberezi ba Kristo bangi mu kusaba okwa bulijjo ne mu kusaba kwabwe mu kkanisa.
Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo, n'okwagala kwa Katonda, n'okusseekimu okw'Omwoyo Omutukuvu, bibeerenga nammwe [ffe] mwenna
I Mu Katonda omu owamazima omulamu, waliwo basatu abateekwa okwawulibwa: Kiaffe, Omwana, n’Omwoyo Omutukuvua. Bali ekintu, kimu Amaanyi n’obutaggwawo, ebitateekwa kwawulwa. Omwana yaliwo kuva dda nadda owa Kitaawe, n’Omwoyo lubeerera ava wa Kitaffe [n’Omwana].
Ebigobererwa bya Athanasian
Omukulembeze wetegereze: Tekyetaagisa kusoma kino nga muli mu kibiina.
Ebigobererwa ebya Athanasia byatuumibwa bwe bityo okussaamu ekitiibwa Athanasius owa Alexandria, eyalwanirira enzikiriza y’Obukristaayo mu kyasa ekyokuna bwe yali erumbiddwa omusomesa ow’obulimba Arius. Kitandika n’okulabula eri abo “abatakuuma” kukkiriza —ekiri nti, eri abo abaafuna okukkiriza okwamazima naye ate nebalondawo okukugaana. Amakanisa mangi gasoma ebigobererwa bino mu kusinza okwawamu ku Busatu ku Ssande, Ssande ekulembera Pentekooti.
Buli yenna ayagala okulokolebwa alina okusinga byonna okuba nga alina okukkiriza okw’ensi yonna [okubunye mu nsi yonna].
Buli muntu yenna atakuuma kukkiriza kuno mu bujjuvu nga tekumenyeddwa tewali kubuusabuusa ajja kuzikirira emirembe gyonna.
Kati kuno kwe kukkiriza kwensi yonna [okubunye mu nsi yonna]
Tusinza Katonda omu mu busatu ne mu bumu mu busatu, awatali kutabulatabula [okulemwa okwawula wakati] waabwe nga [abantu wadde okwawula ekyo kye bali ekya ddala [ekinyusi, okubeerawo].
Kubanga omuntu Kitaffe muntu wa njawulo,
Omwana nga omuntu naye mulala [Omuntu eyeetongodde],
n’Omwoyo Omutukuvu naye mulala [omuntu, eyeetongodde]
Bwe kityo Kitaffe Katonda,
Omwana Katonda,
Omwoyo Omutukuvu Katonda.
Kyokka si ba katonda basatu;
waliwo Katonda omu yekka.
Bwe kityo Kitaffe ye Mukama,
Omwana Mukama,
Omwoyo Omutukuvu Mukama.
Kyokka si Bakama basatu;
waliwo Mukama omu yekka.
Nga amazima ge Kikristaayo bwe gatuwaliriza okwatula buli muntu kinnoomu nga Katonda era Mukama,
awo eddiini ebuna wonna [ebuna wonna] etugaana okugamba nti
waliwo ba katonda basatu oba abakama basatu.
Kitaffe teyakolebwa wadde okutondebwa oba okuzaalibwa okuva eri omuntu yenna.
Omwana teyakolebwa wadde okutondebwa; yazaalibwa okuva eri Kitaawe yekka
Omwoyo Omutukuvu teyakolebwa wadde okutondebwa oba okuzaalibwa;
yava wa Kitaffe n’omwna
Okusinziira kwekyo waliwo Kittaffe omu, si bakitaffe basatu;
waliwo Omwana omu, si baana basatu;
waliwo Omwoyo Omutukuvu omu, si myoyo emitukvu esatu.
Tewali mu busatu yaliwo okusooka oba oluvannyuma,
tewali asinga oba omutono;
mu kutuukirira kwabwe abasatu bano bonna tebaggwawo era benkana buli omu ne munne.
Kale mu buli kintu, nga bwekimaze okwogerwako,
tuteekwa okusinza obusatu bwabwe mu bumu bwabwe
ne mu bumu bwabwe mu busatu bwabwe.
Awo omuntu yenna ayagala okulokolebwa
alina kulowooza mu ngeri eno ku busatu.
Naye kyetaagisa obulokozi obutaggwawo
omuntu okuba nga kkiriza mu kufuuka omuntu okwa Mukama waffe Yesu Kristo mu bwesigwa.
Kati kuno kwe kukkiriza okwamazima:
Okukkiriza n’okwatula nti
Mukama waffe Yesu Kristo, Katonda Omwana,
ali byombi Katonda era Omuntu kyenkanyi.
Ye Katonda okuva [owa ddala owa Kitaffe,
eyazaalibwa ebiseera nga tebinnabaawo;
era muntu okuviira ddala [owa ddala] owa nnyina. eyazaalibwa mu ekiseera nga kituuse;
Katonda ddala, omuntu ddala,
alina emmeeme erowooza n’omubiri;
yenkana ne Kitaawe ku kikwatagana n’obwa katonda, teyenkana ne Kitaawe ku kikwata ku bw’omuntu.
Wadde nga Katonda ate omuntu,
kyokka Kristo si babiri, naye omu
Ali omu, wabula,
Si lwa bwa katonda bwe okufuuka omubiri,
naye lwa Katonda okutwala obw’omu muntu ku ye.
Ali omu, ekikakafu si kuba nti agattika ekyo kyali,
naye olw’obumu obw’omuntu bwe.
kuba nga era omuntu bwali byombi emmeeme n’omubiri,
ne Kristo omu bwali byombi Katonda era omuntu. Yabonaabona olw’obulokozi bwaffe;
nakka mu bafu;
nazuukira mu bafu;
nalinnya mu ggulu;
atudde ku Mukono gwa kitaawe ogwa ddyo;
ajja kudda okulamula abalamu nabafu.
Mu kudda kwe abantu bonna bajja kuzuukira mu mubiri [mu mubiri]
bawe embalirira ku bikolwa byabwe.
Abo abaakola obulungi bajja kuyingira mu bulamu obutaggwawo,
ate abo abaakola obubi bajja kuyingira mu muliro ogutazikira.
(1) Ebyawandiikibwa Ebiweereddwa Okusoma: Buli muyizi ajja kuweebwa ekimu ku byawandiikibwa bino wammanga. Nga okuyiga okuddako tekunnabaawo, oteekwa okusoma ebyawandiikibwa era owaandiike ku kyebyogera ku ky’okuyiga ku ssomo lino.
Free to print for ministry use. No changes to content, no profit sales.
SGC exists to equip rising Christian leaders around the world by providing free, high-quality theological resources. We gladly grant permission for you to print and distribute our courses under these simple guidelines:
No Changes – Course content must not be altered in any way.
No Profit Sales – Printed copies may not be sold for profit.
Free Use for Ministry – Churches, schools, and other training ministries may freely print and distribute copies—even if they charge tuition.
No Unauthorized Translations – Please contact us before translating any course into another language.
All materials remain the copyrighted property of Shepherds Global Classroom.