Ebigendererwa By’essomo
(1) Omuyizi ajja kuba asobola okunnyonnyola:
-
Kye kitegeeza Yesu okubeera Mesiya.
-
Ekiwandiiko eky’okukkiriza mu bigambo “Mukama waffe Yesu Kristo.”
-
Obukakafu n’omugaso ogw’obw’omuntu bwa Yesu.
-
Obukakafu n’omugaso ogw’obwa Katonda bwa Yesu.
-
Okufakwa Kristo okuba nga kumala okusonyiwa ebibi.
-
Omugaso gw’okuzuukira eri okukkiriza kw’Omukristaayo.
-
Ekiwandiiko ky’ebikkiririzibwamu mu Bukristaayo ku Kristo.
(2) Omuyizi ajja kuyiga abantu mu ddiini endala kye bagamba ku Kristo.